Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 57

Yesu Awonya Omuwala n’Omusajja Kiggala

Yesu Awonya Omuwala n’Omusajja Kiggala

MATAYO 15:21-31 MAKKO 7:24-37

  • YESU AWONYA MUWALA W’OMUKAZI OMUFOYINIIKIYA

  • AWONYA OMUSAJJA KIGGALA ERA ATAYOGERA

Oluvannyuma lw’okwanika obulombolombo bw’Abafalisaayo, Yesu n’abayigirizwa be bava mu kitundu ekyo. Batindigga olugendo ne bagenda mu bitundu by’e Ttuulo n’e Sidoni mu Foyiniikiya.

Yesu afuna ennyumba omw’okusula naye nga tayagala bantu bakimanye nti ali mu kitundu ekyo. Wadde kiri kityo, abantu bamanya. Omukazi Omuyonaani eyazaalibwa mu kitundu ekyo agenda eri Yesu n’amwegayirira ng’agamba nti: “Nsaasira Mukama wange, Omwana wa Dawudi. Muwala wange atawaanyizibwa dayimooni.”​—Matayo 15:22; Makko 7:26.

Oluvannyuma lw’ekiseera, abayigirizwa ba Yesu bamugamba nti: “Mugambe agende kubanga atuleekaanira.” Mu kubaddamu, Yesu alaga ensonga lwaki tafuddeeyo ku mukazi oyo. Agamba nti: “Saatumibwa walala wonna wabula eri endiga ezaabula ez’ennyumba ya Isirayiri.” Naye omukazi oyo talekulira. Asemberera Yesu n’avunnama, era n’amugamba nti: “Mukama wange, nnyamba!”​—Matayo 15:23-25.

Oboolyawo ng’ayagala okugezesa okukkiriza kw’omukazi oyo, Yesu akozesa ebigambo ebiraga endowooza eteri ntuufu Abayudaaya gye baalina eri abantu ab’amawanga amalala. Agamba nti: “Tekiba kituufu okuddira emmere y’abaana n’ogisuulira obubwa obuto.” (Matayo 15:26) Mu kukozesa ebigambo “obubwa obuto,” Yesu akiraga nti afaayo nnyo ku bantu abatali Bayudaaya. Endabika ye ey’oku maaso n’eddoboozi ly’akozesa nabyo bikiraga.

Mu kifo ky’okunyiiga, omukazi oyo agamba Yesu nti: “Yee ssebo, naye obubwa bulya obukunkumuka obugwa okuva ku mmeeza ya bakama baabwo.” Yesu akiraba nti omukazi oyo alina omutima omulungi era amugamba nti: “Mukazi ggwe, okukkiriza kwo kwa maanyi nnyo; ka kibeere nga bw’oyagala.” (Matayo 15:27, 28) Mu butuufu, muwala w’omukazi oyo awona wadde nga tali awo! Omukazi oyo bw’addayo eka, asanga muwala we ng’agalamidde ku kitanda nga “dayimooni emuvuddeko”!​—Makko 7:30.

Bwe bava e Foyiniikiya, Yesu n’abayigirizwa be batambula ne basomoka Omugga Yoludaani. Kirabika omugga ogwo bagusomokera mu bukiikaddyo bw’Ennyanja y’e Ggaliraaya ne batuuka mu bitundu by’e Dekapoli. Nga bali eyo, bagenda ku lusozi, naye era abantu babasangayo. Yesu bamuleetera abantu abaliko obulemu, abazibe, n’abatayogera. Abantu bateeka abalwadde baabwe ku bigere bya Yesu era abawonya. Ekyo kyewuunyisa nnyo abantu ne bagulumiza Katonda wa Isirayiri.

Waliwo omusajja kiggala era atasobola kwogera bulungi, Yesu gw’afaako mu ngeri ey’enjawulo. Lowooza ku ngeri omusajja oyo gy’awuliramu ng’ali mu kibiina ky’abantu ekinene. Oboolyawo oluvannyuma lw’okukiraba nti omusajja oyo atidde, Yesu amuggya mu bantu n’amuzza ebbali. Awo, nga bali bokka, Yesu amuyamba okutegeera ekyo ky’agenda okumukolera. Yesu ateeka engalo ze mu matu g’omusajja oyo era oluvannyuma lw’okuwanda amalusu, akwata ku lulimi lw’omusajja oyo. Oluvannyuma Yesu atunula waggulu n’ayogera ekigambo ky’Olwebbulaniya ekitegeeza “Zibuka.” Awo omusajja oyo atandika okuwulira, era atandika okwogera obulungi. Ekyo Yesu tayagala abo abaliwo bakibuulireko abalala, kubanga ayagala abantu bamukkiririzeemu okusinziira ku ebyo bye beerabiddeko n’agaabwe ne bye bawulidde okuva mu kamwa ke.​—Makko 7:32-36.

Ebyamagero Yesu by’akola bireetera abo bonna abamulaba ‘okuwuniikirira ennyo.’ Bagamba nti: “Byonna by’akola byewuunyisa. Asobozesa ne bakiggala okuwulira, n’abatayogera okwogera.”​—Makko 7:37.