Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 61

Yesu Awonya Omulenzi Aliko Dayimooni

Yesu Awonya Omulenzi Aliko Dayimooni

MATAYO 17:14-20 MAKKO 9:14-29 LUKKA 9:37-43

  • KYETAAGISA OKUKKIRIZA OKW’AMAANYI OKUSOBOLA OKUWONYA OMULENZI ALIKO DAYIMOONI

Yesu, Peetero, Yakobo, ne Yokaana bwe bava ku lusozi, basanga ekibiina ky’abantu. Abawandiisi beetoolodde abayigirizwa ba Yesu, era babawakanya. Abantu bwe balaba Yesu, beewuunya nnyo era badduka okugenda gy’ali okumwaniriza. Yesu abuuza nti: “Kiki kye muwakana nabo?”​—Makko 9:16.

Omusajja ava mu kibiina n’afukamira awali Yesu n’amugamba nti: “Omuyigiriza, nnaleese omwana wange gy’oli kubanga aliko omwoyo omubi ogumulemesa okwogera. Buli lwe gumukwata gumukuba wansi, n’abimba ejjovu, n’aluma amannyo, era n’aggwaamu amaanyi. Nnasabye abayigirizwa bo okugugoba naye ne batasobola.”​—Makko 9:17, 18.

Kirabika abawandiisi bavumirira abayigirizwa ba Yesu olw’okuba tebasobodde kuwonya mulenzi aliko dayimooni. Mu kifo ky’okuddamu kitaawe w’omulenzi oyo, Yesu agamba ekibiina ky’abantu nti: “Mmwe ab’omulembe ogutalina kukkiriza era ogwakyama, ndibeera nammwe kutuusa ddi? Ndimala nammwe kiseera kyenkana wa nga mbagumiikiriza?” Ebigambo ebyo Yesu ateekwa okuba nga yali abigamba abawandiisi abaali batawaanya abayigirizwa be nga taliiwo. Oluvannyuma Yesu akyukira taata w’omulenzi, n’agamba nti: “Mumundeetere.”​—Matayo 17:17.

Omulenzi bw’aba asemberera Yesu, dayimooni emusuula wansi n’asansagala nnyo. Omulenzi yeevulungula era n’abimba ejjovu. Yesu abuuza kitaawe nti: “Amaze bbanga ki ng’ali bw’ati?” Amuddamu nti: “Okuviira ddala nga muto, era emirundi mingi gwamusuulanga mu muliro ne mu mazzi nga gwagala okumutta.” Kitaawe w’omulenzi yeegayirira Yesu ng’agamba nti: “Bw’oba osobola okubaako ky’okolawo, tusaasire otuyambe.”​—Makko 9:21, 22.

Kitaawe w’omulenzi mweraliikirivu nnyo, kubanga n’abayigirizwa ba Yesu balemeddwa okuwonya omwana we. Naye ebyo Yesu by’amugamba bimuzzaamu nnyo amaanyi. Amugamba nti: “Ogambye nti, ‘Bw’oba osobola’? Ebintu byonna bisoboka singa omuntu aba n’okukkiriza.” Amangu ago kitaawe w’omulenzi ayogerera waggulu nti: “Nnina okukkiriza! Naye nnyamba okukkiriza kwange kweyongereko!”​—Makko 9:23, 24.

Yesu alaba ekibiina ky’abantu nga kidduka okujja gy’ali. Ng’abantu abo bonna balaba, Yesu aboggolera dayimooni, ng’agamba nti: “Mwoyo ggwe oguziba omuntu omumwa n’amatu, nkulagira nti muveeko era tomuddangako!” Omwoyo ogwo omubi bwe guba guva ku mulenzi, gumuleetera okuwoggana ennyo n’okusansagala ennyo. Oluvannyuma omulenzi abeera awo nga teyeenyeenya. Abantu bwe balaba ekyo, bagamba nti: “Afudde!” (Makko 9:25, 26) Naye Yesu bw’amukwata ku mukono, asituka era “n’awona mu kiseera ekyo.” (Matayo 17:18) Tewali kubuusabuusa nti abantu beewuunya nnyo.

Emabegako, Yesu bwe yatuma abayigirizwa okubuulira, baasobola okugoba dayimooni. Eyo ye nsonga lwaki kati nga bali bokka bamubuuza nti: “Lwaki twalemereddwa okugugoba?” Yesu akiraga nti kubanga tebaabadde na kukkiriza. Abagamba nti: “Omwoyo ogw’ekika kino tegusobola kuva ku muntu awatali kusaba.” (Makko 9:28, 29) Okukkiriza okw’amaanyi awamu n’okusaba Katonda abayambe kyandibasobozesezza okugoba dayimooni eyo ey’amaanyi.

Yesu abagamba nti: “Mazima mbagamba nti, singa muba n’okukkiriza okwenkana akaweke ka kalidaali, mujja kugamba olusozi luno nti, ‘Va wano odde wali,’ era lujja kuvaawo, era tewali kijja kubalema.” (Matayo 17:20) Mu butuufu okukkiriza kintu kikulu nnyo!

Ebizibu eby’amaanyi abantu bye bayinza okufuna nga baweereza Yakuwa biyinza okulabika ng’ensozi ennene. Naye singa tuba n’okukkiriza okw’amaanyi, ebizibu ng’ebyo tusobola okubyaŋŋanga.