Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 66

Mu Yerusaalemi ku Mbaga ey’Ensiisira

Mu Yerusaalemi ku Mbaga ey’Ensiisira

YOKAANA 7:11-32

  • YESU AYIGIRIZA MU YEEKAALU

Okuva lwe yabatizibwa, Yesu yafuuka mututumufu nnyo. Abayudaaya bangi balabye ku byamagero by’akola, era bangi babiwuliddeko. Kati ng’agenze ku Mbaga ey’Ensiisira mu Yerusaalemi, bangi bamunoonya nga baagala okumulabako.

Ebintu abantu bye boogera ku Yesu byawukana. Abamu bagamba nti: “Musajja mulungi.” Ate abalala bagamba nti: “Si mulungi, abuzaabuza abantu.” (Yokaana 7:12) Ebigambo ebyo abantu babyogera ku ntandikwa y’embaga. Wadde kiri kityo, tewali n’omu asobola kuwolereza Yesu olw’okuba batya ekyo abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya kye bayinza okukola.

Kyokka ng’embaga eyo etuuse mu makkati, Yesu agenda mu yeekaalu. Bangi beewuunya olw’engeri gy’ayigirizaamu. Yesu tagendangako mu masomero ga bya ddiini, bwe kityo Abayudaaya beewuunya ne bagamba nti: “Omusajja ono ayinza atya okuba ng’amanyi Ebyawandiikibwa ng’ate teyasomerako mu masomero ga bya ddiini?”​—Yokaana 7:15.

Yesu agamba nti: “Bye njigiriza si byange, naye by’oyo eyantuma. Oyo yenna ayagala okukola Katonda by’ayagala ajja kumanya obanga bye njigiriza biva eri Katonda, oba njogera byange ku bwange.” (Yokaana 7:16, 17) Ebyo Yesu by’ayigiriza bikwatagana n’Amateeka ga Katonda, ekiraga nti teyeenoonyeza kitiibwa, wabula ayagala Katonda y’aba aweebwa ekitiibwa.

Yesu agamba nti: “Musa teyabawa Amateeka? Naye tewali n’omu ku mmwe agagondera. Lwaki mwagala okunzita?” Abantu abamu, oboolyawo abavudde mu bitundu eby’ewala, tebamanyi nti Abayudaaya baagala okutta Yesu. Tebayinza kukkiriza nti waliwo omuntu yenna ayinza okwagala okutta omuyigiriza omulungi ng’oyo. Bwe kityo, balowooza nti Yesu aliko ekikyamu. Bamugamba nti: “Oliko dayimooni. Ani ayagala okukutta?”​—Yokaana 7:19, 20.

Ekituufu kiri nti, omwaka nga gumu emabega, abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya baali baagala kutta Yesu olw’okuba yawonya omusajja ku Ssabbiiti. Kati Yesu ayogera ebigambo ebyanika endowooza yaabwe enkyamu. Akiraga nti okusinziira ku Mateeka, omwana ow’obulenzi alina okukomolebwa ku lunaku olw’omunaana, ne bwe luba lwa Ssabbiiti. Oluvannyuma ababuuza nti: “Bwe kiba nti omuntu akomolebwa ku ssabbiiti etteeka lya Musa lireme okumenyebwa, lwaki munsunguwalira olw’okuba mponyezza omuntu ku ssabbiiti? Mulekere awo okusala omusango nga mutunuulira ndabika ya kungulu, naye musale omusango mu butuukirivu.”​—Yokaana 7:23, 24.

Abantu ab’omu Yerusaalemi abamanyi ebigenda mu maaso bagamba nti: “Ono si ye musajja [abafuzi] gwe baagala okutta? Naye laba! ayogera mu lujjudde, era tewali kye bamugamba. Kyandiba ng’abafuzi bategedde nti ono ye Kristo?” Kati olwo lwaki abantu tebakkiriza nti Yesu ye Kristo? Bagamba nti: “Tumanyi omusajja ono gy’ava; naye Kristo bw’alijja, tewali n’omu alimanya gy’avudde.”​—Yokaana 7:25-27.

Awo wennyini mu yeekaalu, Yesu abagamba nti: “Mummanyi era mumanyi ne gye nva. Sajja ku bwange, naye oyo eyantuma wa ddala, era temumumanyi. Mmumanyi, kubanga nnajja okumukiikirira, era Oyo ye yantuma.” (Yokaana 7:28, 29) Oluvannyuma lwa Yesu okwogera ebigambo ebyo, baagala okumukwata, oboolyawo bamusibe mu kkomera oba bamutte. Naye ekyo tekisoboka kubanga ekiseera kya Yesu okuttibwa tekinnatuuka.

Wadde kiri kityo, bangi bakkiririza mu Yesu. Yatambulira ku mazzi, yakkakkanya omuyaga, yaliisa abantu bangi mu ngeri ey’ekyamagero ng’akozesa emigaati mitono n’eby’ennyanja bitono, yawonya abalwadde, yawonya abalema, yawonya abazibe b’amaaso, yawonya abagenge, era yazuukiza n’abafu. N’olwekyo, tekyewuunyisa nti abantu bagamba nti: “Kristo bw’alijja alikola ebyamagero ebisinga ebyo omusajja ono by’akoze?”​—Yokaana 7:31.

Abafalisaayo bwe bawulira abantu nga boogera ebintu ebyo, bo awamu ne bakabona abakulu basindika abasirikale okugenda okukwata Yesu.