Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 72

Yesu Atuma Abayigirizwa 70 Okugenda Okubuulira

Yesu Atuma Abayigirizwa 70 Okugenda Okubuulira

LUKKA 10:1-24

  • YESU ALONDA ABAYIGIRIZWA 70 ERA N’ABATUMA OKUGENDA OKUBUULIRA

Omwaka gwa 32 E.E. gunaatera okuggwaako, era kati Yesu amaze emyaka ng’esatu bukya abatizibwa. Gye buvuddeko awo, Yesu n’abayigirizwa be babadde ku Mbaga ey’Ensiisira mu Yerusaalemi. Kirabika bakyali kumpi ne Yerusaalemi. (Lukka 10:38; Yokaana 11:1) Mu butuufu, emyezi omukaaga Yesu gy’asigazzaayo asinga kugimala ng’abuulira mu Buyudaaya oba emitala w’Omugga Yoludaani mu bitundu by’e Pereya. Ebitundu ebyo nabyo byetaaga okubuulirwamu.

Emabegako, oluvannyuma lw’Embaga ey’Okuyitako ey’omwaka gwa 30 E.E., Yesu yamala emyezi egiwerako ng’abuulira mu Buyudaaya era ng’ayita mu bitundu by’e Samaliya. Ate awo nga mu kiseera ky’Embaga ey’Okuyitako ey’omwaka gwa 31 E.E., Abayudaaya mu Yerusaalemi baagezaako okumutta. Omwaka nga gumu n’ekitundu ogwaddirira, Yesu okusingira ddala yagumala abuulira mu bitundu eby’omu bukiikakkono, mu Ggaliraaya. Mu kiseera ekyo, abantu bangi baafuuka abagoberezi be. Mu Ggaliraaya, Yesu yatendeka abatume be era n’abatuma okugenda okubuulira ng’abawa obulagirizi buno: “Mubuulire nga mugamba nti: ‘Obwakabaka obw’omu ggulu busembedde.’” (Matayo 10:5-7) Kati Yesu ateekateeka kaweefube ow’okubuulira mu bitundu bya Buyudaaya.

Okusobola okutandika kaweefube oyo, Yesu alonda abayigirizwa 70 n’abatuma babiri babiri okugenda okubuulira mu kitundu ekyo omuli ‘eby’okukungula ebingi naye ng’abakozi batono.’ (Lukka 10:2) Abayigirizwa abo 70 ba kugenda mu bitundu Yesu by’ayinza okugendamu oluvannyuma. Ba kuwonya abalwadde era ba kubuulira obubaka bwe bumu nga Yesu bw’abuulira.

Abayigirizwa tebalina kwemalira ku kuyigiriza mu makuŋŋaaniro. Yesu abalagira okugenda mu maka g’abantu. Abagamba nti: “Buli nnyumba gye munaayingirangamu musookenga kugamba nti, ‘Emirembe gibeere mu nnyumba eno.’ Bw’eneebangamu omuntu ayagala emirembe, emirembe gyammwe ginaabeeranga naye.” Bubaka ki bwe balina okubuulira? Yesu agamba nti: “Mubagambenga nti, ‘Obwakabaka bwa Katonda bubasemberedde.’”​—Lukka 10:5-9.

Obulagirizi Yesu bw’awa abayigirizwa 70 bufaananako n’obwo bwe yawa abatume 12 omwaka nga gumu emabega. Abagamba nti si buli muntu nti ajja kubawuliriza. Wadde kiri kityo, bwe bagenda okubuulira kijja kuteekateeka abantu ab’emitima emirungi, kibe nti Yesu bw’ajja oluvannyuma abasanga beetegefu okumulaba n’okumuwuliriza.

Oluvannyuma, ababuulizi b’Obwakabaka abo 70 bakomawo eri Yesu. Nga bonna basanyufu, bamugamba nti: “Mukama waffe, ne dayimooni zituwulira bwe tukozesa erinnya lyo.” Alipoota eyo ennungi gye bawa, esanyusa nnyo Yesu era n’agamba nti: “Ndaba Sitaani ng’agudde nga laddu okuva mu ggulu. Laba! Mbawadde obuyinza okulinnyirira emisota n’enjaba.”​—Lukka 10:17-19.

Mu ngeri eyo, Yesu akakasa abagoberezi be nti bajja kusobola okwaŋŋanga embeera enzibu ennyo, babe ng’abalinnyirira emisota n’enjaba. Era basaanidde okuba abakakafu nti mu kiseera eky’omu maaso, Sitaani ajja kusuulibwa okuva mu ggulu. Ate era Yesu ayamba abayigirizwa abo 70 okulaba ekintu ekisinga obukulu. Abagamba nti: “Temusanyuka olw’okuba emyoyo emibi gibawulira, naye musanyuke olw’okuba amannya gammwe gawandiikiddwa mu ggulu.”​—Lukka 10:20.

Yesu musanyufu nnyo era atendereza Kitaawe mu lujjudde olw’okukozesa abaweereza be bano abeetoowaze mu ngeri ey’ekitalo bw’etyo. Yesu akyukira abayigirizwa be, n’abagamba nti: “Balina essanyu abo abalaba ebintu bye mulaba. Mbagamba nti, bannabbi bangi ne bakabaka baayagala okulaba ebintu bye mulaba, naye tebaabiraba, era baayagala okuwulira ebintu bye muwulira naye tebaabiwulira.”​—Lukka 10:23, 24.