Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 74

Ayigiriza Ebikwata ku Kusembeza Abagenyi n’Okusaba

Ayigiriza Ebikwata ku Kusembeza Abagenyi n’Okusaba

LUKKA 10:38–11:13

  • YESU AKYALIRA MALIZA NE MALIYAMU

  • KIKULU OBUTAKOOWA KUSABA

Ekyalo Bessaniya kisangibwa ku luuyi olw’ebuvanjuba bw’Olusozi olw’Emizeyituuni, mayiro nga bbiri okuva e Yerusaalemi. (Yokaana 11:18) Yesu agenda ku kyalo ekyo n’ayingira mu nnyumba y’ab’oluganda ababiri, Maliza ne Maliyamu. Abakyala abo ne mwannyinaabwe, Lazaalo, mikwano gya Yesu, era bamwaniriza.

Nkizo ya maanyi okukyaza Masiya. Maliza ayagala okulabirira obulungi Yesu, era bw’atyo atandika okuteekateeka ekijjulo eky’amaanyi. Maliza bw’aba ateekateeka eby’okulya, muganda we, Maliyamu, ye atuula okumpi n’ebigere bya Yesu n’amuwuliriza. Oluvannyuma lw’ekiseera, Maliza agamba Yesu nti: “Mukama wange, tofaayo ng’olaba muganda wange andese okukola ebintu bino byonna nzekka? Mugambe ajje annyambeko.”​—Lukka 10:40.

Mu kifo ky’okunenya Maliyamu, Yesu awabula Maliza olw’okwemalira ennyo ku bintu eby’omubiri. Amugamba nti: “Maliza, Maliza, weeraliikirira era otawaana n’ebintu bingi. Naye ebintu bitono bye byetaagibwa oba kimu kyokka. Ye Maliyamu alonze ekisinga obulungi era tekijja kumuggibwako.” (Lukka 10:41, 42) Yesu akiraga nti tekyetaagisa kumalira biseera bingi mu kutegeka eby’okulya ebingi. Ekijjulo ekitonotono kimala.

Maliza ky’akola akikola mu mutima mulungi. Ayagala okuwa omugenyi waabwe ekyo ekisingayo obulungi. Kyokka okwemalira ku kutegeka eby’okulya kimuleetera okufiirwa ebintu eby’omuwendo ennyo Omwana wa Katonda by’ayigiriza! Yesu akiraga nti Maliyamu asazeewo mu ngeri ey’amagezi, ekintu ekijja okumuviiramu emiganyulo egy’olubeerera era naffe tubeeko kye tukiyigirako.

Ku mulundi omulala, Yesu ayigiriza ku kintu ekirala, naye nga nakyo kikulu nnyo. Omuyigirizwa omu amugamba nti: “Mukama waffe tuyigirize okusaba nga ne Yokaana bwe yayigiriza abayigirizwa be.” (Lukka 11:1) Ekyo Yesu yali yakikola dda, omwaka nga gumu n’ekitundu emabega, bwe yali ayigiriza ku Lusozi. (Matayo 6:9-13) Kyokka, omuyigirizwa oyo ayinza okuba nga teyaliiwo ku olwo, bwe kityo Yesu addamu essaala gye yayigiriza ng’anokolayo ensonga enkulu. Oluvannyuma awa ekyokulabirako ekiraga obukulu bw’okusaba awatali kukoowa.

Agamba nti: “Ka tugambe nti omu ku mmwe alina mukwano gwe n’agenda ewuwe ekiro mu ttumbi, n’amugamba nti, ‘Mukwano gwange, mpolaayo emigaati esatu, kubanga mukwano gwange ankyalidde ng’ava ku lugendo naye sirina kya kumuwa.’ Naye oyo ali munda n’amuddamu nti, ‘Lekera awo okuntawaanya. Oluggi lwaggaddwawo dda era nze n’abaana bange tuli mu buliri. Sisobola kusituka kubaako kye nkuwa.’ Mbagamba nti, wadde nga taasituke kumuwa kintu olw’okuba mukwano gwe, naye olw’okuba aba takooye kumusaba ky’ayagala, ajja kusituka amuwe kyonna kye yeetaaga.”​—Lukka 11:5-8.

Yesu tagamba nti Yakuwa si mwetegefu kuddamu kusaba kw’abantu, ng’omusajja oyo bwe yali. Mu kifo ky’ekyo, alaga nti bwe kiba nti omusajja oyo eyali tayagala kuyamba munne ataakoowa kumusaba oluvannyuma yamala n’amuyamba, tewali kubuusabuusa nti Kitaffe ow’omu ggulu ajja kuddamu okusaba kw’abaweereza be abeesigwa! Yesu agattako nti: “Mbagamba nti, musabenga, muliweebwa; munoonyenga, mulizuula; mukonkonenga, muliggulirwawo. Kubanga buli asaba aweebwa, buli anoonya azuula, na buli akonkona aliggulirwawo.”​—Lukka 11:9, 10.

Oluvannyuma Yesu akkaatiriza ensonga eyo ng’ageraageranya Katonda ku taata. Agamba nti: “Taata ki mu mmwe omwana we bw’amusaba ekyennyanja amuwaamu omusota? Oba bw’amusaba eggi amuwaamu enjaba? Kale obanga mmwe ababi mumanyi okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, Kitammwe ow’omu ggulu talisingawo nnyo okuwa omwoyo omutukuvu abo abamusaba!” (Lukka 11:11-13) Ekyo kiraga bulungi nti Kitaffe ow’omu ggulu mwetegefu okutuwuliriza n’okukola ku byetaago byaffe.