Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 80

Omusumba Omulungi n’Ebisibo

Omusumba Omulungi n’Ebisibo

YOKAANA 10:1-21

  • YESU AYOGERA KU MUSUMBA OMULUNGI N’EBISIBO

Yesu ayongera okuyigiriza mu Buyudaaya, era ayogera ku ndiga n’ebisibo, ebintu abamuwuliriza bye bategeera obulungi. Naye ku mulundi guno akozesa lulimi lwa kabonero. Abayudaaya bayinza okuba nga bajjukira ebigambo bya Dawudi bino: “Yakuwa ye musumba wange. Siijulenga kintu kyonna. Angalamiza awali omuddo omungi.” (Zabbuli 23:1, 2) Mu zabbuli endala, Dawudi yagamba abantu b’eggwanga lya Isirayiri nti: “Ka tufukamire mu maaso ga Yakuwa Omutonzi waffe. Kubanga ye Katonda waffe, era tuli bantu ab’omu ddundiro lye.” (Zabbuli 95:6, 7) Mu butuufu, wansi w’Amateeka, okumala ekiseera kiwanvu Abayisirayiri babadde bageraageranyizibwa ku kisibo ky’endiga.

“Endiga” zino zibadde mu “kisibo” mu ngeri nti, Abayisirayiri baazaalibwanga nga bali wansi w’endagaano y’Amateeka ga Musa. Amateeka ago gaalinga ekikomera ekibakuuma ne balema kwonoonebwa mpisa z’abantu abataali wansi w’Amateeka. Kyokka Abayisirayiri abamu baayisanga bubi endiga za Katonda. Yesu agamba nti: “Mazima ddala mbagamba nti, omuntu atayita mu mulyango ng’ayingira mu kisibo naye n’alinnya n’ayita awalala, oyo aba mubbi era munyazi. Naye oyo ayita mu mulyango ye musumba w’endiga.”​—Yokaana 10:1, 2.

Ebigambo ebyo biyinza okuba nga bireetera abantu okulowooza ku abo abazze nga beeyita Masiya, oba Kristo. Abantu abo abeefuula Masiya balinga ababbi era abanyazi era abantu tebasaanidde kubagoberera. Mu kifo ky’ekyo, abantu basaanidde okugoberera ‘omusumba w’endiga,’ Yesu gw’ayogerako ng’agamba nti:

“Omuggazi w’oluggi amuggulirawo, era endiga ziwulira eddoboozi lye. Endiga ze aziyita amannya era n’azifulumya mu kisibo. Bw’amala okuzifulumya zonna, azikulemberamu ne zimugoberera kubanga zimanyi eddoboozi lye. Teziyinza kugoberera muntu gwe zitamanyi wabula zimudduka kubanga tezimanyi ddoboozi lye.”​—Yokaana 10:3-5.

Emabegako, okufaananako omuggazi w’oluggi, Yokaana Omubatiza yakiraga nti Yesu ye musumba endiga ezo ez’akabonero eziri wansi w’Amateeka gwe zirina okugoberera. Mu butuufu, endiga ezimu, mu Ggaliraaya ne wano mu Buyudaaya, zitegedde eddoboozi lya Yesu. Naye Yesu ‘azikulembera’ azitwala wa? Era biki ebinaava mu kumugoberera? Abamu ku abo abawulira ebigambo bya Yesu ebyo bayinza okuba nga beebuuza ebibuuzo ebyo, kubanga ‘tebategeera bintu by’abagamba.’​—Yokaana 10:6.

Yesu agamba nti: “Mazima ddala mbagamba nti, Nze mulyango endiga mwe ziyita. Abo bonna abazze nga beeyita nze babbi era banyazi, era endiga tezibawulirizza. Nze mulyango; buli ayingirira mu nze alirokolebwa era omuntu oyo aliyingira era n’afuluma n’afuna omuddo ogw’okulya.”​—Yokaana 10:7-9.

Kya lwatu nti Yesu alina ekintu ekipya ky’ayogerako. Abo abamuwuliriza bakimanyi nti Yesu si gwe mulyango ogw’endagaano y’Amateeka ebaddewo okumala ebyasa bingi. N’olwekyo, Yesu ateekwa okuba ng’alaga nti endiga ‘z’akulembera’ za kuyingira mu kisibo ekirala. Biki ebyandivuddemu?

Yesu ayongera okutangaaza ku kifo ky’alina, ng’agamba nti: “Nze nnajja zisobole okufuna obulamu era zibufune mu bujjuvu. Nze musumba omulungi; omusumba omulungi awaayo obulamu bwe ku lw’endiga.” (Yokaana 10:10, 11) Emabegako Yesu yazzaamu nnyo amaanyi abayigirizwa be ng’agamba nti: “Temutya mmwe ekisibo ekitono, kubanga Kitammwe asazeewo okubawa Obwakabaka.” (Lukka 12:32) Mu butuufu, abo ‘ab’ekisibo ekitono’ beebo Yesu b’akulembera okubatwala mu kisibo ekipya, basobole ‘okufuna obulamu era babufune mu bujjuvu.’ Nga nkizo ya maanyi okuba mu kisibo ekyo!

Naye ensonga eyo Yesu tagikomya awo. Agamba nti: “Nnina endiga endala ezitali za mu kisibo kino; ezo nazo nnina okuzireeta; zijja kuwulira eddoboozi lyange era zonna zijja kufuuka ekisibo kimu, nga ziri wansi w’omusumba omu.” (Yokaana 10:16) ‘Endiga ezo endala’ zo ‘teziri mu kisibo kino.’ N’olwekyo, endiga endala ziteekwa okuba nga ziri mu kisibo kirala ekitali ‘kisibo ekitono’ ekigenda okusikira Obwakabaka. Ebisibo ebyo ebibiri birina essuubi lya njawulo. Wadde kiri kityo, endiga eziri mu bisibo ebyo byombi zijja kuganyulwa mu ssaddaaka ya Yesu. Yesu agamba nti: “Eno ye nsonga lwaki Kitange anjagala, olw’okuba mpaayo obulamu bwange.”​—Yokaana 10:17.

Bangi ku abo abaliwo bagamba nti: “Aliko dayimooni era agudde eddalu.” Kyokka abalala bakiraga nti baagala okuwuliriza Omusumba Omulungi era nti baagala okumugoberera. Bagamba nti: “Bino si bigambo bya muntu aliko dayimooni. Dayimooni esobola okuzibula amaaso ga bamuzibe?” (Yokaana 10:20, 21) Kya lwatu nti abantu abo boogera ku ekyo Yesu kye yakola bwe yazibula amaaso g’omusajja eyazaalibwa nga muzibe.