Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 81

Yesu ne Kitaawe Bali Omu, Naye Yesu Si Katonda

Yesu ne Kitaawe Bali Omu, Naye Yesu Si Katonda

YOKAANA 10:22-42

  • “NZE NE KITANGE TULI OMU”

  • YESU AWAKANYA ABO ABAGAMBA NTI YEEYITA KATONDA

Yesu agenze e Yerusaalemi ku Mbaga ey’Okuzza Obuggya (oba, Kanukka). Embaga eyo ekwatibwa okujjukira olunaku yeekaalu lwe yaddamu okuweebwayo. Ekyasa nga kimu emabega, kabaka wa Busuuli ayitibwa Epifane Antiyokasi IV yazimba ekyoto kungulu ku kyoto ekinene ekya yeekaalu ya Katonda. Oluvannyuma lw’ekiseera, abaana ba kabona Omuyudaaya baawamba Yerusaalemi era ne baddamu okuwaayo yeekaalu eri Yakuwa. Okuva olwo, wabaawo embaga eya buli mwaka nga 25 mu mwezi gwa Kisulevu. Omwezi ogwo gugwa wakati wa Noovemba ne Ddesemba.

Ekiseera kya butiti, era obudde bunnyogovu. Yesu atambula mu yeekaalu mu lukuubo lwa Sulemaani. Abayudaaya bamwetooloola ne bamugamba nti: “Olituusa wa okutuleka mu kubuusabuusa? Bw’oba nga ggwe Kristo, tubuulire.” (Yokaana 10:22-24) Yesu abaddamu atya? Abagamba nti: “Nnababuulira naye era temukkiriza.” Yesu tababuulirangako butereevu nti ye Kristo, nga bwe yabuulira omukazi Omusamaliya ku luzzi. (Yokaana 4:25, 26) Naye yalaga ekyo ky’ali bwe yagamba nti: “Ibulayimu nga tannabaawo, nze nnaliwo.”​—Yokaana 8:58.

Yesu ayagala abantu bageraageranye ebyo by’akola n’ebyo obunnabbi bye bwogera ku Kristo basobole okukitegeera ku lwabwe nti ye Kristo. Eyo ye nsonga lwaki emirundi egimu yagaana abayigirizwa be okubuulirako omuntu yenna nti ye Masiya. Naye kati agamba Abayudaaya bano abakakanyavu nti: “Ebyo bye nkola mu linnya lya Kitange bye bimpaako obujulirwa. Naye temukkiriza.”​—Yokaana 10:25, 26.

Lwaki tebakkiriza nti Yesu ye Kristo? Yesu agamba nti: “Temukkiriza kubanga temuli ndiga zange. Endiga zange ziwulira eddoboozi lyange; nzimanyi, era zingoberera. Nziwa obulamu obutaggwaawo; tezirizikirizibwa era tewali n’omu alizikwakkula mu mukono gwange. Endiga Kitange z’ampadde zisinga ebintu ebirala byonna.” Oluvannyuma, Yesu ababuulira ku nkolagana ey’oku lusegere gy’alina ne Kitaawe. Abagamba nti: “Nze ne Kitange tuli omu.” (Yokaana 10:26-30) Yesu ali ku nsi ate nga Kitaawe ali mu ggulu, bwe kityo tayinza kuba ng’ategeeza nti ye ne Kitaawe be bamu. Mu kifo ky’ekyo, alaga nti ye ne Kitaawe balina ebigendererwa bye bimu era nti bali bumu.

Ebigambo bya Yesu ebyo binyiiza nnyo Abayudaaya era ne ku luno bakwata amayinja nga baagala okumutta. Naye ekyo tekitiisa Yesu. Agamba nti: “Nnabalaga emirimu emirungi mingi okuva eri Kitange. Ku egyo guluwa gwe munkubira amayinja?” Bamuddamu nti: “Tewali mulimu mulungi gwe wakola gwe tukukubira mayinja, wabula tugakukuba lwa kuvvoola; kubanga . . . weefuula katonda.” (Yokaana 10:31-33) Yesu tannagambako nti katonda, naye kati lwaki abantu bano bagamba nti yeefuula katonda?

Ensonga eri nti, Yesu agamba nti alina amaanyi, Abayudaaya ge balowooza nti Katonda yekka y’ateekwa okuba nago. Ng’ekyokulabirako, Yesu bwe yabadde ayogera ku ‘ndiga’ yagambye nti: “Nziwa obulamu obutaggwaawo,” ekintu abantu kye batasobola kukola. (Yokaana 10:28) Abayudaaya babuusizza amaaso eky’okuba nti Yesu kennyini akiraze nti Kitaawe ye yamuwa obuyinza.

Ng’awakanya ebintu ebikyamu bye bamwogerako, Yesu agamba nti: “Tekyawandiikibwa mu Mateeka gammwe [mu Zabbuli 82:6] nti, ‘Nnagamba nti: “Muli bakatonda”’? Bwe kiba nti abo ekigambo kya Katonda be kyavumirira yabayita ‘bakatonda’ . . . kati nze Kitange gwe yatukuza era n’atuma mu nsi muŋŋamba nti, ‘Ovvoola,’ olw’okuba ŋŋambye nti ‘ndi Mwana wa Katonda’?”​—Yokaana 10:34-36.

Mu butuufu, olaba n’abalamuzi abatatuukiridde Ebyawandiikibwa biboogerako nga “bakatonda,” kati olwo Abayudaaya bano bayinza batya okunenya Yesu olw’okugamba nti “Mwana wa Katonda”? Yesu ayogera ku kintu ekiyinza okubakakasa nti Mwana wa Katonda. Agamba nti: “Bwe mba nga sikola mirimu gya Kitange, temunzikiriza. Naye bwe mba nga ngikola, ne bwe muba nga temunzikiriza, mukkirize emirimu egyo, musobole okumanya era mweyongere okumanya nti Kitange ali bumu nange, era nange ndi bumu ne Kitange.”​—Yokaana 10:37, 38.

Abayudaaya bagezaako nate okukwata Yesu naye era abeemululako. Ava e Yerusaalemi n’agenda emitala w’Omugga Yoludaani, Yokaana gye yatandikira okubatiza emyaka ng’ena emabega. Kirabika kati Yesu ali mu kitundu ekisangibwa mu bukiikaddyo bw’Ennyanja y’e Ggaliraaya.

Abantu bangi bajja eri Yesu ne bagamba nti: “Yokaana teyakola kyamagero na kimu, naye ebintu byonna bye yayogera ku musajja ono byali bituufu.” (Yokaana 10:41) Mu butuufu, waliwo Abayudaaya bangi abakkiririza mu Yesu.