Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 82

Obuweereza bwa Yesu mu Pereya

Obuweereza bwa Yesu mu Pereya

LUKKA 13:22–14:6

  • OKUFUBA OKUYINGIRA MU MULYANGO OMUFUNDA

  • YESU ALINA OKUFIIRA MU YERUSAALEMI

Yesu abadde ayigiriza era ng’awonya bantu mu Buyudaaya ne mu Yerusaalemi. Kati asomoka Omugga Yoludaani n’agenda okubuulira mu bitundu by’e Pereya. Kyokka oluvannyuma lw’ekiseera kitono, ajja kuddayo e Yerusaalemi.

Yesu bw’aba mu Pereya, wabaawo omusajja amubuuza nti: “Mukama waffe, abalokolebwa batono?” Omusajja oyo ayinza okuba ng’amanyi ku ebyo abakulembeze b’amadiini bye boogera nga beebuuza obanga abanaalokolebwa bangi oba batono. Yesu akyusa emboozi n’agiggya ku kwogera ku bantu bameka abanaalokolebwa n’agizza ku ekyo abantu kye balina okukola okusobola okulokolebwa. Agamba nti: “Mufube nnyo okuyingira mu mulyango omufunda.” Mu butuufu, kyetaagisa okufuba ennyo okusobola okulokolebwa. Lwaki? Yesu agamba nti: “Bangi abalyagala okuyingira naye tebalisobola.”​—Lukka 13:23, 24.

Okusobola okulaga nti kyetaagisa okufuba ennyo, Yesu agamba nti: “Nnyini nnyumba bw’alisituka n’aggalawo oluggi, muliyimirira wabweru ne mukonkona ku luggi nga mugamba nti: ‘Mukama waffe, tuggulirewo.’ . . . Naye ajja kubagamba nti: ‘Simanyi gye muva. Muve we ndi mmwe mmwenna abakola ebitali bya butuukirivu!’”​—Lukka 13:25-27.

Ekyo kiraga ekituuka ku muntu ajja ng’obudde buyise, oboolyawo mu kiseera ye mw’awulirira nga mw’ayagalira okujja, naye n’asanga ng’oluggi luggaddwa. Omuntu oyo yandibadde ajja bukyali, ne bwe kitandibadde kyangu gy’ali. Bwe kityo bwe kiri n’eri abantu bangi abandiganyuddwa mu ebyo Yesu by’abayigiriza. Balemererwa okukozesa akakisa ako okuyiga amazima n’okugakolerako. Abasinga obungi ku abo Yesu be yatumibwa okuyamba bagaanye okukkiriza enteekateeka Katonda gy’ataddewo okubayamba okulokolebwa. Yesu agamba nti bajja kusuulibwa ebweru, ‘bakaabe era balume obujiji.’ Ku luuyi olulala, abantu “baliva ebuvanjuba n’ebugwanjuba, ne mu bukiikakkono, ne mu bukiikaddyo,” kwe kugamba, okuva mu mawanga gonna, ne “batuula ku mmeeza mu Bwakabaka bwa Katonda.”​—Lukka 13:28, 29.

Yesu agamba nti: “Waliwo ab’oluvannyuma [gamba ng’abantu abatali Bayudaaya n’Abayudaaya abanyigirizibwa] abaliba ab’olubereberye, n’ab’olubereberye [Abayudaaya abeenyumiririza mu kuba bazzukulu ba Ibulayimu] abaliba ab’oluvannyuma.” (Lukka 13:30) Okuba nti bajja kuba ‘ba luvannyuma’ kitegeeza nti abantu ng’abo abatasiima tebajja kuba mu Bwakabaka bwa Katonda.

Wabaawo Abafalisaayo abajja eri Yesu ne bamugamba nti: “Va wano ogende, kubanga Kerode [Antipa] ayagala kukutta.” Kiyinzika okuba nti Kabaka Kerode y’atandiseewo oluvuuvuumo olwo ng’ayagala Yesu ave mu kitundu ekyo. Kerode ayinza okuba ng’ayagala kwewala kwenyigira mu kuttibwa kwa nnabbi omulala, nga bwe yeesanga nga yeenyigidde mu kuttibwa kwa Yokaana Omubatiza. Naye Yesu agamba Abafalisaayo nti: “Mugende mugambe ekibe ekyo nti, ‘Laba! Leero n’enkya ngoba dayimooni era mponya abalwadde; ku lunaku olw’okusatu nja kuba mmalirizza.’” (Lukka 13:31, 32) Mu kuyita Kerode “ekibe,” Yesu ayinza okuba ng’agezaako okulaga nti Kerode mukujjukujju ng’ekibe. Kyokka, Yesu tajja kukkiriza Kerode oba omuntu omulala yenna kumutiisatiisa oba kumupapya. Agenda kukola ekyo Kitaawe ky’ayagala akole, ng’atambulira ku nteekateeka ya Katonda, so si ey’abantu.

Yesu agenda e Yerusaalemi. Lwaki? Agamba nti: “Nnabbi talina kuttirwa bweru wa Yerusaalemi.” (Lukka 13:33) Tewali bunnabbi bwa Bayibuli bulaga nti Masiya alina kuttirwa mu kibuga ekyo. Kati olwo lwaki Yesu agamba nti alina kuttirwa eyo? Ekyo kiri kityo kubanga Yerusaalemi kye kibuga ekikulu, era eyo y’etuula olukiiko lw’Abayudaaya olukulu oluliko abantu 71 era eyo abantu ababa bavunaanibwa okuba bannabbi ab’obulimba gye bawozeserezebwa. Ate era eyo ssaddaaka z’ensolo gye ziweerwayo. Bwe kityo, Yesu akiraba nti talina kuttirwa wantu walala wonna okuggyako eyo.

Yesu agamba nti: “Yerusaalemi, Yerusaalemi, atta bannabbi, era akuba amayinja abatumiddwa gy’ali.” Agattako nti: “Nga nnayagala nnyo okukuŋŋaanya abaana bo ng’enkoko bw’ekuŋŋaanya obwana bwayo mu biwaawaatiro byayo! Naye temwakyagala. Laba! ennyumba yammwe ebalekeddwa nga kifulukwa.” (Lukka 13:34, 35) Eggwanga eryo ligaanye okukkiriza Omwana wa Katonda era lirina okubonerezebwa!

Yesu bw’aba tannatuuka Yerusaalemi, omu ku bakulembeze b’Abafalisaayo amuyita ewuwe okulya naye emmere ku Ssabbiiti. Abo bonna abayitiddwa ku kijjulo bateekwa okuba nga baagala okulaba kiki Yesu ky’anaakolera omusajja alina obulwadde nga bwamuzimbya emikono n’amagulu (obulwadde obuleetera omuntu okujjula amazzi, naddala mu magulu ne mu bigere). Yesu abuuza Abafalisaayo n’abo abakenkufu mu Mateeka nti: “Kikkirizibwa okuwonya omuntu ku Ssabbiiti oba nedda?”​—Lukka 14:3.

Tewali n’omu addamu. Yesu awonya omusajja oyo era n’ababuuza nti: “Ani ku mmwe, ente ye oba mutabani we bw’agwa mu luzzi ku Ssabbiiti, atamuggyamu mangu ago?” (Lukka 14:5) Era tewabaawo n’omu addamu.