Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 83

Bayitibwa ku Kijjulo—Baani Katonda b’Ayita?

Bayitibwa ku Kijjulo—Baani Katonda b’Ayita?

LUKKA 14:7-24

  • AYIGIRIZA KU BWETOOWAZE

  • ABAGENYI ABAYITIDDWA BEEKWASA OBUSONGASONGA

Yesu amaze okuwonya omusajja eyalina obulwadde nga bwamuzimbya emikono n’amagulu, era akyali mu maka g’Omufalisaayo. Yesu yeetegereza abagenyi abalala nga balonda ebifo eby’oku mwanjo ku kijjulo, era akozesa akakisa ako okuyigiriza ku bwetoowaze.

Yesu agamba nti: “Omuntu bw’akuyitanga ku mbaga, totuulanga mu kifo eky’oku mwanjo. Oboolyawo wayinza okubaawo omuntu akusinga ekitiibwa gwe yayise. Kati awo eyabayise ajja kujja akugambe nti, ‘Leka ono atuule wano.’ Awo ojja kugenda otuule mu kifo ekisembayo ng’oswadde.”​—Lukka 14:8, 9.

Yesu yeeyongera n’agamba nti: “Bw’oyitibwanga, tuulanga mu kifo ekisembayo, oyo aba akuyise bw’ajja alyoke akugambe nti, ‘Mukwano gwange, weeyongere eno awasooka.’ Awo ojja kuba n’ekitiibwa mu maaso ga bagenyi banno.” Mu kwogera ebigambo ebyo, Yesu takubiriza bamuwuliriza kwoleka bwolesi mpisa nnungi. Agattako nti: “Kubanga buli eyeegulumiza alitoowazibwa, na buli eyeetoowaza aligulumizibwa.” (Lukka 14:10, 11) Yesu akubiriza abamuwuliriza okuba abeetoowaze.

Oluvannyuma Yesu abaako ky’ayigiriza Omufalisaayo amuyise ku kijjulo. Amulaga engeri gy’ayinza okutegekamu ekijjulo n’asiimibwa mu maaso ga Katonda. Amugamba nti: “Bw’ofumbanga ekyemisana oba ekyeggulo, toyitanga mikwano gyo, oba baganda bo, oba ab’eŋŋanda zo, oba baliraanwa bo abagagga. Kubanga bw’obayita, nabo bayinza okukuyita n’oba ng’osasulwa. Naye bw’ofumbanga ekijjulo, oyitanga abaavu, abalema, n’abazibe b’amaaso; era oliba musanyufu, kubanga tewali kye balikusasula.”​—Lukka 14:12-14.

Kya bulijjo omuntu okuyita mikwano gye, ab’eŋŋanda ze, oba baliraanwa ku kijjulo, era Yesu tagamba nti ekyo kikyamu. Naye Yesu akiraga nti singa omuntu awa emmere abo abali mu bwetaavu, gamba ng’abaavu, abalema, oba bamuzibe, Katonda amuwa emikisa. Yesu agamba oyo amukyazizza nti: “Olisasulwa mu kuzuukira kw’abatuukirivu.” Omu ku bagenyi agamba nti: “Alina essanyu oyo alirya ekijjulo mu Bwakabaka bwa Katonda.” (Lukka 14:15) Akiraba nti eyo nkizo ya maanyi. Kyokka, si bonna abaliwo nti bagitwala nga nkizo, nga Yesu bw’alaga. Agamba nti:

“Omuntu yafumba ekijjulo ekinene n’ayita abantu bangi . . . n’atuma omuddu we okugamba abo abayitiddwa nti: ‘Mujje, kubanga ebintu biwedde okutegekebwa.’ Naye bonna ne babaako kye beekwasa. Eyasooka n’amugamba nti: ‘Nnaguze ekibanja, nnina okugenda okukiraba. Nsonyiwa sijja kusobola.’ Omulala n’agamba nti, ‘Nnaguze emigogo gy’ente etaano, ŋŋenda kuzeekenneenya; nsonyiwa sijja kusobola.’ Ate omulala n’agamba nti, ‘Nnaakawasa; n’olw’ensonga eyo sisobola kujja.’”​—Lukka 14:16-20.

Ensonga ezo teziriimu ggumba! Omuntu bw’aba tannagula nnimiro oba nte asooka kubyekenneenya, n’olwekyo kati kiba tekimwetaagisa kupapa kugenda kubiraba. Omusajja ow’okusatu tateekateeka kuwasa. Yamaze okuwasa, n’olwekyo tewali kisaanidde kumulemesa kugenda ku kijjulo ekyo ekikulu. Oluvannyuma lw’okuwulira ebyo bye beekwasa, mukama w’omuddu anyiiga n’agamba omuddu we nti:

“Genda mangu mu nguudo ennene ne mu bukubo obutono obw’ekibuga, oleete abaavu, n’abalema, n’abazibe b’amaaso.” Oluvannyuma lw’omuddu okukola ekyo mukama we ky’amugambye, wasigala wakyaliwo ebifo. Mukama we amugamba nti: “Genda mu nguudo ne mu bukubo obutono obawalirize okujja, ennyumba yange ejjule. Mbagamba nti, tewali n’omu ku bantu abo abaayitibwa ajja okulya ku kijjulo kyange.”​—Lukka 14:21-24.

Olugero olwo lulaga bulungi engeri Yakuwa Katonda gye yakozesaamu Yesu Kristo okuyita abantu abandibadde mu Bwakabaka obw’omu ggulu. Abayudaaya, naddala abakulembeze b’eddiini, be baasooka okuyitibwa. Kyokka abasinga obungi ku bo baagaana okukkiriza okuyitibwa okwo mu kiseera kyonna Yesu kye yamala ng’abuulira. Naye abo si be bokka abandiyitiddwa. Yesu akiraga nti mu biseera eby’omu maaso n’Abayudaaya abatwalibwa okuba aba wansi awamu n’abakyufu nabo bandiyitiddwa. Oluvannyuma n’abantu Abayudaaya be batwala ng’abatasaana mu maaso ga Katonda nabo bandiyitiddwa.​—Ebikolwa 10:28-48.

Mu butuufu, ebyo Yesu by’ayogera bituukana bulungi n’ebigambo omu ku bagenyi by’ayogedde bw’agambye nti: “Alina essanyu oyo alirya ekijjulo mu Bwakabaka bwa Katonda.”