Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 85

Wabaawo Essanyu Lingi ng’Omwonoonyi Yeenenyezza

Wabaawo Essanyu Lingi ng’Omwonoonyi Yeenenyezza

LUKKA 15:1-10

  • OLUGERO OLW’ENDIGA EYABULA N’ESSENTE EZAABULA

  • BAMALAYIKA MU GGULU BASANYUKA

Emirundi mingi Yesu bw’abaddenga abuulira abadde akiraga nti kikulu nnyo okwoleka obwetoowaze. (Lukka 14:8-11) Yesu anoonya abasajja n’abakazi abeetoowaze era abaagala okuweereza Katonda. N’okutuusa leero, abasajja n’abakazi ng’abo bayinza okuba nga bakyenyigira mu bikolwa ebibi ennyo.

Abafalisaayo n’abawandiisi bakiraba nti abantu ng’abo, bo be banyooma, baagala nnyo Yesu n’ebyo by’ayigiriza. Bwe kityo, beemulugunya nga bagamba nti: “Omusajja ono asembeza aboonoonyi era alya nabo.” (Lukka 15:2) Abafalisaayo n’abawandiisi beetwala okuba ab’ekitalo era abantu aba bulijjo babatwala ng’ettaka eriri wansi w’ebigere byabwe. Bwe baba boogera ku bantu aba bulijjo, abakulembeze b’eddiini bakozesa ekigambo ky’Olwebbulaniya ‛am ha·’aʹrets, obutereevu ekitegeeza “abantu abali wansi ku ttaka.”

Ku luuyi olulala, abantu bonna Yesu abawa ekitiibwa era abalaga ekisa. Bangi ku bantu abatwalibwa okuba aba wansi nga mw’otwalidde n’abo abamanyiddwa okuba abakozi b’ebibi, baagala nnyo okuwuliriza Yesu. Yesu awulira atya nga bamunenya olw’okuyamba abantu ng’abo, era kiki ky’akolawo?

Eky’okuddamu kyeyolekera bulungi mu kyokulabirako Yesu ky’awa, ekifaananako ekyo kye yawa mu Kaperunawumu. (Matayo 18:12-14) Abafalisaayo Yesu aboogerako nga gy’obeera batuukirivu era ng’abalina obukuumi mu kisibo kya Katonda. Ate abantu abatwalibwa okuba aba wansi aboogerako ng’abaawaba era abaabula. Yesu agamba nti:

“Ani ku mmwe bw’aba n’endiga 100, emu n’ebula, ataleka 99 ku ttale n’agenda okunoonya eyo eba ebuze okutuusa lw’agizuula? Bw’agizuula agiteeka ku bibegaabega bye n’asanyuka. Bw’atuuka eka, ayita mikwano gye ne baliraanwa be n’abagamba nti, ‘Munsanyukireko, kubanga nzudde endiga yange eyali ebuze.’”​—Lukka 15:4-6.

Kya kuyiga ki ekiri mu lugero olwo? Yesu agamba nti: “Mbagamba nti, ne mu ggulu wabaawo essanyu lingi olw’omwonoonyi omu eyeenenya okusinga olw’abatuukirivu 99 abateetaaga kwenenya.”​—Lukka 15:7.

Yesu okwogera ku kwenenya, kiteekwa okuba nga kyewuunyisa nnyo Abafalisaayo. Beetwala okuba abatuukirivu era balowooza nti tebeetaaga kwenenya. Emabegako, abamu ku bo bwe baanenya Yesu olw’okulya n’abasolooza omusolo n’aboonoonyi, yabagamba nti: “Sajja kuyita batuukirivu wabula aboonoonyi.” (Makko 2:15-17) Abafalisaayo abeetwala okuba abatuukirivu balemererwa okukiraba nti beetaaga okwenenya, era bwe batyo tebaleeta ssanyu lyonna mu ggulu. Kyokka aboonoonyi bwe beenenya wabaawo essanyu lingi mu ggulu.

Okusobola okukikkaatiriza nti wabaawo essanyu lingi mu ggulu ng’omwonoonyi yeenenyezza, Yesu agera olugero olulala. Agamba nti: “Mukazi ki aba ne ssente eza ffeeza kkumi n’abuzaako emu, atakoleeza ttaala era n’ayera ennyumba ye, n’anoonya n’obwegendereza okutuusa lw’agizuula? Bw’agizuula, ayita mikwano gye ne baliraanwa be n’abagamba nti, ‘Munsanyukireko, kubanga nzudde ssente yange eya ffeeza eyali embuzeeko.’”​—Lukka 15:8, 9.

Eky’okuyiga Yesu ky’alaga mu lugero olwo kifaananako n’ekyo ky’alaga mu lugero olw’endiga eyabula. Agamba nti: “Mbagamba nti, ne bamalayika ba Katonda basanyuka nnyo olw’omwonoonyi omu eyeenenya.”​—Lukka 15:10.

Kirowoozeeko: Bamalayika ba Katonda basanyuka nnyo okulaba ng’aboonoonyi beenenyezza! Ekyo kikulu nnyo naddala bw’olowooza ku ky’okuba nti aboonoonyi ababa beenenyezza era ne baweebwa ekifo mu Bwakabaka obw’omu ggulu bajja kuba mu bifo ebya waggulu ku bya bamalayika! (1 Abakkolinso 6:2, 3) Wadde kiri kityo, bamalayika tebabakwatirwa buggya. Kati olwo tusaanidde kuwulira tutya ng’omwonoonyi yeenenyezza mu bwesimbu n’akomawo eri Katonda?