Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 86

Omwana Eyali Azaaye Akomawo Eka

Omwana Eyali Azaaye Akomawo Eka

Lukka 15:11-32

  • Olugero Lw’omwana Eyali Azaaye

Yesu w’ayogerera ku kyokulabirako ky’endiga eyabula ne ku kyokulabirako ky’ekinusu ekya ffeeza ekyabula, kirabika aba akyali Pereya e buvanjuba w’Omugga Yoludaani. Ebyokulabirako byombi biraga nti tusaanidde okusanyuka omwonoonyi bwe yeenenya n’akomawo eri Katonda. Abafalisaayo n’abawandiisi bavumirira Yesu olw’okuba asanyukira abantu ng’abo ababa beenenyezza. Naye abo abavumirira Yesu balina kye bayiga mu byokulabirako ebyo? Bamanyi engeri Kitaffe ow’omu ggulu gy’awuliramu ng’aboonoonyi beenenyezza? Yesu agera olugero olubayamba okutegeera ensonga eyo enkulu ennyo.

Olugero olwo lukwata ku musajja alina abaana babiri ab’obulenzi. Omuto ku bo y’asinga okwogerwako mu lugero olwo. Abafalisaayo, abawandiisi, n’abantu abalala abawulira olugero olwo basaanidde okubaako kye bayiga ku ebyo Yesu by’ayogera ku mulenzi omuto. Ate era ebyo Yesu by’ayogera ku taata n’omulenzi omukulu nabyo birimu eby’okuyiga. N’olwekyo, nga Yesu agera ku lugero olwo, lowooza ku by’oyinza okuyigira ku musajja oyo n’abaana be.

Yesu agamba nti: “Omusajja omu yalina abaana babiri. Omuto n’agamba kitaawe nti, ‘Taata, mpa omugabo gwe nnina okufuna ku bintu byo.’ Awo ebintu bye n’abibagabanyizaamu.” (Lukka 15:11, 12) Weetegereze nti omulenzi omuto tasaba bya busika bye olw’okuba kitaawe afudde. Kitaawe akyali mulamu. Naye ayagala eby’obusika bye kati asobole okwetongola n’okubikozesa ky’ayagala. Ayagala kubikozesa ki?

Yesu annyonnyola nti: “Nga wayiseewo ennaku ntono, omulenzi omuto yakuŋŋaanya ebintu bye byonna n’agenda mu nsi ey’ewala, era ebintu bye n’abyonoonera eyo nga yeenyigira mu mpisa embi.” (Lukka 15:13) Mu kifo ky’omulenzi oyo okusigala ewa kitaawe eyali alabirira bulungi abaana be, yasalawo kugenda mu nsi ndala. Ng’ali eyo, yayonoona eby’obusika bye byonna nga yeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Kiki ekyaddirira?

Yesu agamba nti: “Bwe yali amaze okusaasaanya ebintu bye byonna, enjala ey’amaanyi n’egwa mu nsi eyo, era n’atandika okubeera mu bwetaavu. Yatuuka n’okwesiba ku omu ku batuuze b’omu nsi eyo, era omutuuze oyo n’amusindika ku ttale okulunda embizzi. Ne yeegombanga okulya emmere embizzi gye zaalyanga naye nga tewali amuwa kintu kyonna.”​—Lukka 15:14-16.

Amateeka ga Katonda gaali gagamba nti embizzi tezaali nnongoofu, kyokka omwana ono kati z’alunda. Atandise okukoozimba olw’enjala, era kati yeegomba okulya emmere y’embizzi z’alunda. Mu mbeera eyo enzibu omulenzi oyo “yeekuba mu kifuba n’agamba nti, ‘Bapakasi bameka kitange b’alina abafuna emmere mu bungi, nga nze nfiira wano enjala! Nja kugenda ewa kitange mmugambe nti: “Taata, nnayonoona eri Katonda ne mu maaso go. Sikyasaana kuyitibwa mwana wo. Nfuula ng’omu ku bapakasi bo.”’” Awo n’ayimuka n’agenda ewa kitaawe.​—Lukka 15:17-20.

Kiki kitaawe ky’anaakola? Anaakaayuukira mutabani we era n’amuyombesa olw’okuva awaka? Kitaawe anaagaana okumusanyukira? Watya singa abadde mwana wo, wandikoze ki?

OMWANA EYALI AZAAYE AZAAWUKA

Yesu annyonnyola engeri kitaawe w’omwana oyo gy’awuliramu era n’ekyo ky’akola: “[Omwana] bwe yali akyali wala, kitaawe n’amulengera n’amukwatirwa ekisa, n’adduka n’amugwa mu kifuba n’amunywegera.” (Lukka 15:20) Wadde nga kitaawe yakiwulirako nti mutabani we yali yeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, amusanyukira ng’akomyewo awaka. Abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya abagamba nti bamanyi Yakuwa era nti bamusinza, banaategeera nti olugero olwo lulaga engeri Kitaffe ow’omu ggulu gy’awuliramu ng’abantu aboonoonyi beenenyezza? Era banaategeera nti ne Yesu abadde akiraga nti asanyukira aboonoonyi abeenenya?

Kitaawe w’omwana oyo bw’alaba engeri mutabani we gy’anakuwaddemu akiraba nti yeenenyezza. Ate era, engeri gy’ayanirizaamu mutabani we emuleetera okwatula ebibi bye. ‘Omwana agamba nti, “Taata, nnayonoona eri Katonda ne mu maaso go. Sikyasaana kuyitibwa mwana wo.”’​—Lukka 15:21.

Kitaawe alagira abaddu be nti: “Mwanguwe! muleete olugoye olusingayo obulungi mulumwambaze, mumunaanike empeta era mumwambaze n’engatto. Muleete ennyana eya ssava, mugitte, era ka tulye tusanyuke, kubanga omwana wange ono yali afudde, azuukidde; yali azaaye, azaawuse. Ne batandika okusanyuka.”​—Lukka 15:22-24.

Ebyo byonna bigenda okubaawo, nga mutabani we omukulu ali mu nnimiro. Ng’ayogera ku mwana omukulu, Yesu agamba nti: “Bwe yali akomawo n’atuuka okumpi n’ennyumba, n’awulira abayimba n’abazina. Awo n’ayita omu ku baweereza n’amubuuza ekyali kigenda mu maaso. N’amugamba nti, ‘Muganda wo azze, era kitaawo amuttidde ennyana eya ssava, kubanga akomyewo nga mulamu bulungi.’ Naye n’anyiiga era n’agaana okuyingira. Awo kitaawe n’afuluma n’amwegayirira. N’addamu kitaawe nti, ‘Laba! Nkuweerezza emyaka mingi era tewali mulundi na gumu lwe nnali njeemedde ebiragiro byo, naye nze tompangayo wadde akabuzi okusanyukirako awamu ne mikwano gyange. Naye mutabani wo ono eyamalira eby’obugagga byo mu bamalaaya bw’atuuse n’omuttira ennyana eya ssava.’”​—Lukka 15:25-30.

Okufaananako omulenzi omukulu, baani abakwatibwa obuggya olw’engeri Yesu gy’afaayo ku bantu ba bulijjo n’olw’engeri gy’abalagamu ekisa? Be bawandiisi n’Abafalisaayo. Yesu aleese olugero olwo olw’okuba babadde bamuvumirira olw’okulaga aboonoonyi ekisa. Buli muntu yenna akwatibwa obuggya olw’engeri Katonda gy’alagamu ekisa asaanidde okufumiitiriza ku lugero olwo.

Yesu afundikira olugero olwo ng’ayogera ekyo omusajja ky’agamba mutabani we omukulu: “Mwana wange, bulijjo obaddenga nange era ebintu byange byonna bibyo. Naye tubadde tulina okujaguza n’okusanyuka kubanga muganda wo yali afudde naye azuukidde; yali azaaye naye azaawuse.”​—Lukka 15:31, 32.

Yesu tayogera ekyo omwana omukulu ky’akola oluvannyuma. Naye oluvannyuma lwa Yesu okufa n’okuzuukira, ‘bakabona bangi baafuuka abakkiriza.’ (Ebikolwa 6:7) Abamu ku bo bayinza okuba nga beebo abaaliwo nga Yesu ayogera ku lugero lw’omwana eyazaawuka. Nabo beekuba mu kifuba ne beenenya, ne bakomawo eri Katonda.

Okuva ku olwo, abayigirizwa ba Yesu baalina okufumiitiriza ku ebyo bye baayiga mu lugero olwo. Ekimu ku by’okuyiga kiri nti kya magezi okusigala mu kibiina ky’abantu ba Katonda, Kitaffe atwagala ennyo mw’atuweera bye twetaaga, mu kifo ky’okutwalirizibwa eby’amasanyu ebiri mu “nsi ey’ewala.”

Eky’okuyiga ekirala kiri nti, singa tuwaba ne tuva ku makubo ga Katonda, tusaanidde okudda eri Kitaffe tusobole okuddamu okusiimibwa.

Ate era waliwo kye tuyigira ku ky’okuba nti Kitaawe w’omwana oyo yamusanyukira era n’amusonyiwa, kyokka nga muganda we omukulu yasiba ekiruyi, era teyamwaniriza. Ng’abaweereza ba Katonda, ffenna tusaanidde okusonyiwa n’okusanyukira oyo yenna aba yeenenyezza mu bwesimbu n’akomawo mu ‘nnyumba ya Kitaffe.’ Tusaanidde okujaguza kubanga muganda waffe “yali afudde naye azuukidde; yali azaaye naye azaawuse.”