Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 90

‘Okuzuukira n’Obulamu’

‘Okuzuukira n’Obulamu’

YOKAANA 11:17-37

  • YESU ATUUKA OLUVANNYUMA LW’OKUFA KWA LAAZAALO

  • ‘OKUZUUKIRA N’OBULAMU’

Bw’ava mu Pereya, Yesu atuuka okumpi n’ekyalo Bessaniya, ekyesudde mayiro nga bbiri e buvanjuba w’ekibuga Yerusaalemi. Maliyamu ne Maliza, bakyakungubagira mwannyinaabwe Laazaalo eyali yaakafa, era abantu bangi bazze okubabudaabuda.

Wabaawo omuntu agamba Maliza nti Yesu ajja era Maliza ayanguwa n’agenda okumusisinkana. Agamba Yesu ekyo oboolyawo ye ne muganda we kye babadde balowooza okumala ennaku nnya: “Mukama wange, singa waliwo, mwannyinaze teyandifudde.” Naye ekyo tekitegeeza nti talina ssuubi. Agamba nti: “Naye ne kaakano mmanyi nti kyonna ky’osaba, Katonda ajja kukikuwa.” (Yokaana 11:21, 22) Muli awulira nti Yesu akyalina ky’ayinza okukolawo okuyamba mwannyina.

Yesu amuddamu nti: “Mwannyoko ajja kuzuukira.” Maliza alowooza nti Yesu ayogera ku ssuubi ery’okuzuukira okunaabaawo ku nsi mu biseera eby’omu maaso, essuubi Ibulayimu n’abalala lye baalina. Maliza akiraga nti akkiririza mu kuzuukira okwo ng’agamba nti: “Mmanyi nti alizuukira mu kuzuukira kw’oku lunaku olw’enkomerero.”​—Yokaana 11:23, 24.

Naye kyandiba nti mu kiseera kino kyennyini, Yesu ayinza okubaako ky’akolawo? Yesu ajjukiza Maliza nti Katonda yamuwa obuyinza ku kufa, ng’amugamba nti: “Oyo akkiririza mu nze ne bw’afa, aliba mulamu nate; era buli muntu omulamu anzikiririzaamu talifa.”​—Yokaana 11:25, 26.

Yesu tategeeza nti abayigirizwa be b’ali nabo tebalifa, kubanga ye kennyini yagamba abatume be nti ateekwa okufa. (Matayo 16:21; 17:22, 23) Yesu akiggumiza nti omuntu bw’amukkiririzaamu asobola okufuna obulamu obutaggwaawo. Abantu abasinga obungi obulamu obwo bajja kubufuna okuyitira mu kuzuukira. Kyokka abantu abeesigwa abanaabaawo ku nkomerero bayinza obutafa. Omuntu k’abe mu kiti ki, bw’akkiririza mu Yesu asobola okuba omukakafu nti ajja kufuna obulamu obutaggwaawo.

Naye Yesu eyaakamala okugamba nti, “Nze kuzuukira n’obulamu,” asobola okuzuukiza Laazaalo eyaakamala ennaku ennya nga mufu? Yesu abuuza Maliza nti: “Kino okikkiriza?” Maliza amuddamu nti: “Yee, Mukama wange; nkikkiriza nti ggwe Kristo Omwana wa Katonda, ajja mu nsi.” Ng’alina okukkiriza nti Yesu asobola okubaako ky’akolawo ku lunaku olwo, amangu ddala Maliza addayo eka n’agamba muganda we mu kyama nti: “Omuyigiriza azze era akuyita.” (Yokaana 11:25-28) Maliyamu bw’awulira ekyo, ayimuka mangu n’afuluma ennyumba era wabaawo abalala abaamugoberera nga balowooza nti agenda ku ntaana ya Laazaalo.

Naye Maliyamu agenda eri Yesu n’agwa ku bigere bye ng’akaaba era n’ayogera nti: “Mukama wange singa waliwo mwannyinaze teyandifudde.” Yesu bw’alaba Maliyamu n’abantu abalala bangi nga bakaaba, asinda, anyolwa nnyo, era akulukusa amaziga. Ekyo kyewuunyisa nnyo abantu abaliwo. Naye abamu beebuuza nti: ‘Yesu eyazibula amaaso g’omuzibe, yali tasobola kuziyiza ono kufa?’​—Yokaana 11:32, 37.