Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 102

Kabaka Ayingira Yerusaalemi ng’Ali ku Mwana gw’Endogoyi

Kabaka Ayingira Yerusaalemi ng’Ali ku Mwana gw’Endogoyi

MATAYO 21:1-11, 14-17 MAKKO 11:1-11 LUKKA 19:29-44 YOKAANA 12:12-19

  • YESU AYINGIRA YERUSAALEMI MU KITIIBWA

  • AYOGERA KU KUZIKIRIZIBWA KWA YERUSAALEMI

Ku lunaku oluddako, Ssande Nisaani 9, Yesu n’abayigirizwa be bava e Bessaniya ne boolekera Yerusaalemi. Bwe baba banaatera okutuuka e Besufaage, ku Lusozi olw’Emizeyituuni, Yesu agamba babiri ku bayigirizwa be nti:

“Mugende mu kabuga kali ke mulengera, era amangu ddala nga mwakatuukayo, mujja kulaba endogoyi ng’esibiddwa ng’eri n’omwana gwayo. Muzisumulule muzindeetere. Singa omuntu yenna abaako ky’ababuuza, mumugambe nti, ‘Mukama waffe azeetaaga.’ Amangu ago ajja kubaleka muzitwale.”​—Matayo 21:2, 3.

Abayigirizwa tebakitegeera nti ekyo Yesu ky’abagambye kirina akakwate n’obunnabbi bwa Bayibuli. Naye, oluvannyuma bakitegeera nti kikwatagana n’obunnabbi bwa Zekkaliya. Nnabbi oyo yalagula nti Kabaka eyasuubizibwa Katonda yandiyingidde mu Yerusaalemi nga ‘mwetoowaze era nga yeebagadde endogoyi, omwana gw’endogoyi, akayana k’endogoyi enkazi’​—Zekkaliya 9:9.

Abayigirizwa bwe batuuka e Besufaage ne batandika okusumulula omwana gw’endogoyi ne nnyina waagwo, abantu abayimiridde awo bababuuza nti: “Lwaki musumulula omwana gw’endogoyi ogwo?” (Makko 11:5) Naye abayigirizwa bwe babagamba nti Mukama waabwe y’abatumye, babaleka ne bazitwala. Abayigirizwa bateeka ebyambalo byabwe ku ndogoyi ne ku mwana gwayo, naye Yesu atuula ku mwana gwa ndogoyi.

Yesu bw’ayolekera Yerusaalemi ng’ali ku mwana gw’endogoyi, abantu abamugoberera beeyongera obungi. Bangi baaliira ebyambalo byabwe mu luguudo. Abalala batema “amatabi ku miti egy’oku ttale” ne bagateeka mu luguudo. Boogerera waggulu nti: “Tukusaba, olokole! Aweereddwa omukisa oyo ajjira mu linnya lya Yakuwa! Buweereddwa omukisa Obwakabaka bwa kitaffe Dawudi obugenda okujja!” (Makko 11:8-10) Ebigambo ebyo binyiiza Abafalisaayo abali mu kibiina ekyo era bagamba Yesu nti: “Omuyigiriza, koma ku bayigirizwa bo.” Yesu abaddamu nti: “Mbagamba nti, singa bano basirika, amayinja gajja kwogerera waggulu.”​—Lukka 19:39, 40.

Yesu atunuulira ekibuga Yerusaalemi era akikaabira ng’agamba nti: “Singa ku lunaku luno wali otegedde ebintu ebireeta emirembe​—naye kati tosobola kubiraba na maaso go.” Yerusaalemi kijja kubonerezebwa olw’obujeemu bwakyo. Yesu alagula nti: “Abalabe bo . . . balikuzimbako ekigo eky’emiti emisongovu era ne bakwetooloola ne bakuzingiza ku buli luuyi. Balikuzikiriza ggwe n’abaana bo, era tebalikulekamu jjinja lizimbiddwa ku linnaalyo.” (Lukka 19:42-44) Ebigambo bya Yesu ebyo byatuukirira Yerusaalemi bwe kyazikirizibwa mu mwaka gwa 70 E.E.

Yesu bw’ayingira Yerusaalemi, ‘ekibuga kyonna kibaamu oluyoogaano,’ ng’abantu babuuza nti: “Ono y’ani?” Ekibiina ky’abantu kigamba nti: “Ono ye Yesu, nnabbi ava e Nazaaleesi eky’omu Ggaliraaya!” (Matayo 21:10, 11) Abamu ku abo abali mu kibiina ky’abantu baalaba Yesu ng’azuukiza Laazaalo era babuulira abalala ku kyamagero ekyo. Abafalisaayo bakiraba nti bateganira bwereere era bagambagana nti: “Ensi yonna emugoberedde.”​—Yokaana 12:18, 19.

Yesu agenda mu yeekaalu okuyigiriza nga bw’atera okukola buli lw’ajja mu Yerusaalemi. Ng’ali mu yeekaalu, awonya abazibe n’abalema. Bakabona abakulu n’abawandiisi bwe balaba ebyo by’akola era nga n’abalenzi abali mu yeekaalu boogerera waggulu nti, “Tukusaba olokole Omwana wa Dawudi!” basunguwala. Abakulembeze b’eddiini babuuza Yesu nti: “Owulira bano kye bagamba?” Abaddamu nti: “Temusomangako nti: ‘Oleetedde akamwa k’abaana abato n’abawere okukutendereza’?”​—Matayo 21:15, 16.

Yesu atunuulira ebintu ebiri mu yeekaalu. Obudde buyise era ye n’abatume be bava mu yeekaalu. Ng’olunaku olwa Nisaani 10 terunnatandika, addayo e Bessaniya n’asula eyo.