Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 108

Yesu Ategeera Obutego Bwe Bamutega

Yesu Ategeera Obutego Bwe Bamutega

MATAYO 22:15-40 MAKKO 12:13-34 LUKKA 20:20-40

  • EBYA KAYISAALI MUBIWE KAYISAALI

  • OKUWASA N’OKUFUMBIRWA MU KISEERA EKY’OKUZUUKIRA?

  • AMATEEKA AGASINGA OBUKULU

Abakulembeze b’eddiini, abalabe ba Yesu, banyiivu nnyo. Yaakamala okugera engero eziraga nti bantu babi nnyo. Kati Abafalisaayo bakola olukwe okumukwasa. Bagezaako okumutega obutego ayogere ebintu kwe bayinza okusinziira okumutwala ewa gavana Omuruumi, era basasula abamu ku bayigirizwa baabwe okugenda okumutega obutego.​—Lukka 6:7.

Bamugamba nti: “Omuyigiriza, tumanyi nti by’oyogera ne by’oyigiriza bya mazima era tososola, naye oyigiriza ekkubo lya Katonda mu ngeri etuukana n’amazima: Kiba kituufu okusasula Kayisaali omusolo oba nedda?” (Lukka 20:21, 22) Naye Yesu tabuzaabuzibwa ebyo bye boogera kubanga akimanyi nti bannanfuusi era ba nkwe. Singa agamba nti, ‘Si kituufu,’ asobola okuteekebwako omusango ogw’okusendasenda abantu okujeemera obufuzi bwa Rooma. Ate singa agamba nti, ‘Kituufu,’ abantu abatayagala bufuzi bwa Rooma bayinza okumutegeera obubi era ne bamukyawa. Kati olwo abaddamu atya?

Yesu abagamba nti: “Lwaki munkema mmwe bannanfuusi? Mundage essente y’omusolo.” Awo bamuleetera eddinaali n’ababuuza nti: “Ekifaananyi n’ebigambo ebigiriko by’ani?” Bamuddamu nti: “Bya Kayisaali.” Abagamba nti: “Ebya Kayisaali mubiwe Kayisaali, naye ebya Katonda mubiwe Katonda.”​—Matayo 22:18-21.

Ebyo Yesu by’addamu abasajja abo bibeewuunyisa. Yesu abazzeemu mu ngeri ey’amagezi era tebalina kya kwogera, bwe kityo basalawo okugenda. Naye olunaku terunnaggwako era tebannakoowa kumutega butego. Oluvannyuma lw’Abafalisaayo okulemererwa okukwasa Yesu, ekibinja ky’abakulembeze b’eddiini ekirala kijja eri Yesu.

Abasaddukaayo, abagamba nti teri kuzuukira, babuuza Yesu ekibuuzo ekikwata ku kuzuukira n’eky’omusajja okuwasa nnamwandu wa muganda we. Bamubuuza nti: “Omuyigiriza, Musa yagamba: ‘Singa omuntu afa nga talina baana, muganda we ateekwa okuwasa mukyala we amuzaalire abaana.’ Ewaffe waaliyo ab’oluganda musanvu. Ow’olubereberye yawasa naye n’afa nga talina mwana era muganda we n’awasa mukyala we. Bwe kityo bwe kyali ku w’okubiri ne ku w’okusatu, okutuukira ddala ku w’omusanvu. Oluvannyuma, n’omukazi n’afa. Kati olwo mu kiseera eky’okuzuukira, aliba mukyala w’ani ku abo omusanvu? Kubanga bonna baamuwasa.”​—Matayo 22:24-28.

Ng’ajuliza ebyo Musa bye yawandiika, Abasaddukaayo bye bakkiriza, Yesu abaddamu nti: “Mwabula, kubanga temumanyi Byawandiikibwa wadde amaanyi ga Katonda. Kubanga abantu bwe balizuukira, tebaliwasa era tebalifumbirwa naye baliba nga bamalayika mu ggulu. Naye ku bikwata ku kuzuukizibwa kw’abafu, temusomangako mu kitabo kya Musa ng’ayogera ku byaliwo ku kisaka, Katonda bwe yamugamba nti, ‘Nze Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo’? Si Katonda wa bafu naye wa balamu. Mwabulira ddala nnyo.” (Makko 12:24-27; Okuva 3:1-6) Ekibiina ky’abantu kyewuunya nnyo engeri Yesu gy’azzeemu.

Yesu asirisizza Abafalisaayo n’Abasaddukaayo, era kati beegatta wamu okwongera okumukema. Omu ku bawandiisi abuuza Yesu nti: “Omuyigiriza, tteeka ki erisinga obukulu mu Mateeka?”​—Matayo 22:36.

Yesu amuddamu nti: “Erisinga obukulu lye lino, ‘Wulira ggwe Isirayiri, Yakuwa Katonda waffe, ye Yakuwa omu, era oyagalanga Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna, era n’amaanyi go gonna.’ Eriddako lye lino, ‘Oyagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.’ Tewali tteeka lisinga gano bukulu.”​—Makko 12:29-31.

Bw’awulira ekyo Yesu ky’amuzzeemu, omuwandiisi oyo agamba nti: “Omuyigiriza, oyogedde mazima, ‘Katonda ali Omu, era teri mulala okuggyako ye’; era okumwagala n’omutima gwo gwonna, n’amagezi go gonna, n’amaanyi go gonna era n’okwagala muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka kisinga ebiweebwayo byonna ebyokebwa ne ssaddaaka.” Yesu bw’alaba ng’omuwandiisi oyo azzeemu mu ngeri ey’amagezi, amugamba nti: “Toli wala n’Obwakabaka bwa Katonda.”​—Makko 12:32-34.

Yesu amaze nnaku ssatu (Nisaani 9, 10, ne 11) ng’ayigiriza mu yeekaalu. Abantu abamu, gamba ng’omuwandiisi oyo, bamuwulirizza bulungi. Kyokka abakulembeze b’eddiini, kati abatakyalina ‘buvumu kubaako kirala kye bamubuuza,’ bo tebamuwulirizza bulungi.