Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 114

Kristo mu Buyinza Bwe Alamula Endiga n’Embuzi

Kristo mu Buyinza Bwe Alamula Endiga n’Embuzi

MATAYO 25:31-46

  • YESU AGERA OLUGERO LW’ENDIGA N’EMBUZI

Yesu yaakamala okugera olugero lw’abawala ekkumi embeerera n’olwa ttalanta, ng’ali ku Lusozi olw’Emizeyituuni. Naye, Yesu akomekkereza atya eky’okuddamu mu kibuuzo ky’abatume be ekikwata ku kabonero akandiraze okubeerawo kwe n’amafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu? Ekyo akikola ng’agera olugero olulala, nga luno lwe lugero olw’endiga n’embuzi.

Yesu atandika ng’agamba nti: “Omwana w’omuntu bw’alijjira mu kitiibwa kye ng’ali wamu ne bamalayika bonna, alituula ku ntebe ye ey’ekitiibwa.” (Matayo 25:31) Tewali kubuusabuusa nti Yesu ye Mwana w’omuntu ayogerwako mu lugero luno. Emirundi mingi Yesu yeeyogerangako ‘ng’Omwana w’omuntu.’​—Matayo 8:20; 9:6; 20:18, 28.

Olugero luno lutuukirizibwa ddi? Lutuukirizibwa mu kiseera Yesu ‘ng’ajjidde mu kitiibwa kye’ awamu ne bamalayika era n’atuula ku “ntebe ye ey’ekitiibwa.” Yesu yali yayogerako dda ku ky’okuba nti ‘Omwana w’omuntu yandijjidde mu bire eby’eggulu, n’amaanyi n’ekitiibwa kingi’ ng’ali wamu ne bamalayika be. Ekyo kyandibaddewo ddi? ‘Amangu ddala ng’ekibonyoobonyo kiwedde.’ (Matayo 24:29-31; Makko 13:26, 27; Lukka 21:27) N’olwekyo, ebyo ebiri mu lugero olwo bijja kutuukirizibwa mu kiseera eky’omu maaso, Yesu lw’alijjira mu kitiibwa. Kiki ky’anaakola?

Yesu agamba nti: “Omwana w’omuntu [bw’alijja] . . . , amawanga gonna galikuŋŋaanyizibwa mu maaso ge era alyawulamu abantu ng’omusumba bw’ayawula endiga okuva mu mbuzi. Aliteeka endiga ku mukono gwe ogwa ddyo, ate embuzi ku mukono gwe ogwa kkono.”​—Matayo 25:31-33.

Ng’ayogera ku ndiga, eziteekebwa ku mukono ogwa ddyo, Yesu agamba nti: “Awo Kabaka aligamba abo abali ku mukono gwe ogwa ddyo nti: ‘Mujje mmwe Kitange be yawa omukisa, musikire Obwakabaka obwabateekerwateekerwa okuva ku ntandikwa y’ensi.’” (Matayo 25:34) Lwaki endiga zisiimibwa mu maaso ga Kabaka?

Kabaka agamba nti: “Nnalumwa enjala ne mumpa eky’okulya; nnalumwa ennyonta ne mumpa eky’okunywa. Nnali mugenyi ne munsembeza; saalina kya kwambala ne mumpa eky’okwambala. Nnali mulwadde ne munzijanjaba. Nnali mu kkomera ne mujja okundaba.” Abantu “abatuukirivu,” aboogerwako ng’endiga, bwe babuuza ddi lwe baakola ebintu ebyo ebirungi, Kabaka abagamba nti: “Bwe mwabanga mukikolera omu ku baganda bange bano abasembayo okuba aba wansi, mwabanga mukikolera nze.” (Matayo 25:35, 36, 40, 46) Ebintu ebyo ebirungi tebabikolera mu ggulu, kubanga mu ggulu teri balwadde era teri balumwa njala. Ebintu ebyo balina okuba nga babikolera baganda ba Kristo abali ku nsi.

Ate embuzi, eziteekebwa ku mukono ogwa kkono? Yesu agamba nti: “Awo [Kabaka] aligamba abo abali ku mukono gwe ogwa kkono nti: ‘Muve we ndi mmwe abakolimiddwa; mugende mu muliro ogutazikira ogwategekerwa Omulyolyomi ne bamalayika be. Kubanga nnalumwa enjala ne mutampa kya kulya; nnalumwa ennyonta ne mutampa kya kunywa. Nnali mugenyi ne mutansembeza; saalina kya kwambala ne mutampa kya kwambala; nnali mulwadde era nnali mu kkomera ne mutajja kundaba.’” (Matayo 25:41-43) Abo abakiikirirwa embuzi balamulwa bwe batyo olw’okuba tebaayamba baganda ba Kristo ku nsi, nga bwe baalina okukola.

Abatume bakiraba nti omusango ogwo ogugenda okusalwa mu kiseera eky’omu maaso, ebinaavaamu bijja kuba bya lubeerera. Yesu abagamba nti: “Naye [Kabaka aligamba] nti: Mazima mbagamba nti, okuva ebyo bwe mutaabikolera omu ku bano abasembayo okuba aba wansi, nange temwabinkolera.’ Abo baligenda mu kufa okw’olubeerera, naye abatuukirivu baligenda mu bulamu obutaggwaawo.”​—Matayo 25:45, 46.

Ebyo Yesu by’ayogera ng’addamu ekibuuzo ky’abatume bireetera abagoberezi be okufumiitiriza, ekyo ne kibayamba okwekebera okulaba obanga endowooza zaabwe n’ebyo bye bakola bisanyusa Katonda.