Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 119

Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu

Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu

YOKAANA 14:1-31

  • YESU AGENDA OKUTEEKATEEKA EKIFO

  • ASUUBIZA ABAGOBEREZI BE OMUYAMBI

  • KATONDA ASINGA YESU OBUYINZA

Oluvannyuma lw’ekijjulo, Yesu akyali mu kisenge ekya waggulu n’abatume be era abazzaamu amaanyi ng’abagamba nti: “Emitima gyammwe gireme okweraliikiriranga. Mukkiririze mu Katonda; nange munzikiririzeemu.”​—Yokaana 13:36; 14:1.

Yesu abuulira abatume be abeesigwa ensonga lwaki okugenda kwe tekusaanidde kubeeraliikiriza. Abagamba nti: “Mu nnyumba ya Kitange mulimu ebifo bingi. . . . Bwe nnaagenda ne mbateekerateekera ekifo, nja kukomawo mbatwale gye ndi, nammwe mubeere eyo gye ndi.” Kyokka abatume tebakitegeera nti ayogera ku kugenda mu ggulu. Tomasi amubuuza nti: “Mukama waffe, tetumanyi gy’ogenda. Tuyinza tutya okuba nti ekkubo tulimanyi?”​—Yokaana 14:2-5.

Yesu agamba nti: “Nze kkubo, n’amazima, n’obulamu.” Omuntu alina okukkiririza mu ebyo Yesu by’ayigiriza, n’okutambulira mu bigere bye okusobola okuyingira mu nnyumba ya Kitaawe mu ggulu. Yesu agamba nti: “Tewali ajja eri Kitange okuggyako ng’ayitidde mu nze.”​—Yokaana 14:6.

Firipo amugamba nti: “Mukama waffe, tulage Kitaawo ekyo kinaatumala.” Firipo alabika ayagala bafune okwolesebwa okukwata ku Katonda, nga Musa, Eriya, ne Isaaya kwe baafuna. Naye abatume tebeetaaga kwolesebwa ng’okwo. Lwaki? Yesu agamba Firipo nti: “Ebbanga lino lyonna lye mbadde nammwe tommanyi? Buli andabye aba alabye ne Kitange.” Yesu ayoleka engeri za Kitaawe mu ngeri etuukiridde; n’olwekyo, okubeera ne Yesu n’okulaba ebyo by’akola kuba nga kulaba Kitaawe. Kya lwatu Kitaawe amusinga obuyinza. Eyo ye nsonga lwaki Yesu agamba nti: “Ebintu bye mbagamba sibyogera ku bwange.” (Yokaana 14:8-10) Abatume bakiraba nti ebyo Yesu by’ayogedde biraga nti agulumiza Kitaawe.

Abatume ba Yesu bamulabye enfunda n’enfunda ng’akola eby’amagero era ng’abuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda. Kati abagamba nti: “Oyo akkiririza mu nze alikola emirimu gye nkola; era alikola egisinga na gino.” (Yokaana 14:12) Yesu tategeeza nti bajja kukola eby’amagero ebisinga ku ebyo by’akola. Wabula ategeeza nti bajja kubuulira okumala ekiseera ekisinga ku ky’amaze ng’abuulira, bajja kubuulira mu bitundu ebisinga ku ebyo by’abuuliddemu, era bajja kubuulira abantu bangi nnyo.

Yesu bw’anaagenda, tebajja kusigala bokka kubanga abasuubiza nti: “Bwe munaasabanga ekintu kyonna mu linnya lyange nja kukikola.” Era agattako nti: “Nja kusaba Kitange era ajja kubawa omuyambi omulala abeere nammwe emirembe gyonna, omwoyo ogw’amazima.” (Yokaana 14:14, 16, 17) Abakakasa nti bajja kufuna mwoyo omutukuvu, nga ye muyambi gw’ayogerako. Ekyo kibaawo ku lunaku lwa Pentekooti.

Yesu abagamba nti: “Mu kaseera katono ensi ejja kuba tekyandaba, naye mmwe mujja kundaba kubanga ndi mulamu era nnammwe mujja kuba balamu.” (Yokaana 14:19) Ng’oggyeeko okuba nti Yesu ajja kubalabikira ng’ayambadde omubiri ogw’ennyama oluvannyuma lw’okuzuukira, mu kiseera eky’omu maaso ajja kubazuukiza babeere naye mu ggulu ng’ebitonde eby’omwoyo.

Oluvannyuma Yesu abagamba ensonga eno enkulu ennyo: “Oyo akkiriza ebiragiro byange n’abikwata, y’oyo anjagala. Era oyo anjagala Kitange ajja kumwagala, era nange nja kumwagala era nneeyoleke gy’ali.” Awo omutume Yuda, era ayitibwa Saddayo, amubuuza nti: “Mukama waffe, kijja kitya okuba nti oyagala okweyoleka gye tuli so si eri ensi?” Yesu amuddamu nti: “Omuntu yenna bw’aba ng’anjagala, ajja kukwata ekigambo kyange, era Kitange ajja kumwagala . . . Oyo atanjagala takwata bigambo byange.” (Yokaana 14:21-24) Ng’oggyeeko abagoberezi be, ensi tekkiriza nti Yesu lye kkubo, n’amazima, n’obulamu.

Yesu agenda, naye abayigirizwa be bannajjukira batya ebintu byonna by’abayigirizza? Yesu abagamba nti: “Omuyambi, omwoyo omutukuvu, Kitange gw’ajja okusindika mu linnya lyange, oyo ajja kubayigiriza ebintu byonna era abajjukize ebintu byonna bye nnabagamba.” Abatume beerabiddeko n’agaabwe ku bintu eby’amaanyi omwoyo omutukuvu bye gukoze, era ebigambo ebyo bibabudaabuda nnyo. Yesu agattako nti: “Mbalekera emirembe; mbawa emirembe gyange. . . . Emitima gyammwe gireme kweraliikirira oba kutya.” (Yokaana 14:26, 27) Abayigirizwa tebalina kweraliikirira kubanga Kitaawe wa Yesu ajja kubawa obulagirizi n’obukuumi.

Obukakafu obulaga nti Katonda ajja kubakuuma bunaatera okweyoleka. Yesu agamba nti: “Omufuzi w’ensi ajja, era tanninaako buyinza.” (Yokaana 14:30) Omulyolyomi yasobola okuyingira mu Yuda n’amuleetera okukola ebintu ebikyamu. Naye Yesu talina kibi oba bunafu bwonna Sitaani bw’ayinza kukozesa kumuleetera kujeemera Katonda. Ate era Yesu bw’anaafa, Sitaani tajja kumulemesa kuzuukira. Lwaki? Yesu agamba nti: “Nkola nga Kitange bwe yandagira.” Yesu mukakafu nnyo nti Kitaawe ajja kumuzuukiza.​—Yokaana 14:31.