Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 128

Piraato ne Kerode Tebalaba Musango gw’Azizza

Piraato ne Kerode Tebalaba Musango gw’Azizza

Yesu tagezaako kukweka Piraato nti ye kabaka. Wadde kiri kityo, Obwakabaka bwe tebuvuganya bwa Rooma. Yesu agamba nti: “Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno. Singa Obwakabaka bwange bubadde bwa mu nsi muno, abantu bange bandirwanye ne siweebwayo eri Abayudaaya. Naye bwo Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno.” (Yokaana 18:36) Ekituufu kiri nti Yesu alina Obwakabaka, naye si bwa mu nsi muno.

Naye Piraato takoma awo. Amubuuza nti: “Kati olwo oli kabaka?” Okulaga nti ekyo Piraato ky’alowooza kituufu, Yesu amuddamu nti: “Ggwe kennyini ggwe ogamba nti ndi kabaka. Kino kye nnazaalirwa era kino kye kyandeeta mu nsi nsobole okuwa obujulirwa ku mazima. Buli muntu yenna ali ku ludda lw’amazima awulira eddoboozi lyange.”​—Yokaana 18:37.

Emabegako, Yesu yagamba Tomasi nti: “Nze kkubo, n’amazima, n’obulamu.” Kati ne Piraato akimanya nti ekyaleeta Yesu ku nsi kwe kuwa obujulirwa ku “mazima,” naddala ago agakwata ku Bwakabaka bwe. Yesu mumalirivu okunywerera ku mazima ago, wadde ng’ekyo kiyinza okumuviirako okufiirwa obulamu bwe. Piraato abuuza Yesu nti: “Amazima kye ki?” naye talinda kumuddamu. Akitwala nti ebyo by’awulidde bimumala okusala omusango ogwo.​—Yokaana 14:6; 18:38.

Piraato addayo eri abantu abali ebweru w’olubiri lwe. Kirabika nga Yesu ali kumpi awo, Piraato agamba bakabona abakulu n’abo be bali nabo nti: “Siraba musango muntu ono gw’azzizza.” Ekyo kinyiiza nnyo abantu era bagamba nti: “Ajagalaza abantu olw’ebyo by’ayigiriza mu Buyudaaya yonna; yatandikira Ggaliraaya n’atuuka wano.”​—Lukka 23:4, 5.

Kirabika Piraato yeewuunya nnyo olw’obukakanyavu bw’Abayudaaya. Nga bakabona abakulu n’abakadde beeyongera okuleekaana, Piraato abuuza Yesu nti: “Ebyo byonna bye bakulumiriza tobiwulira?” (Matayo 27:13) Yesu tamuddamu kigambo na kimu. Piraato yeewuunya nnyo okulaba nti Yesu asigadde mukkakkamu, wadde nga bamulumiriza ebintu by’ataakola.

Abayudaaya bagambye nti Yesu “yatandikira Ggaliraaya.” Nga Piraato alina ekyo mu birowoozo, abuuza era n’akitegeera nti Yesu Mugaliraaya. Kino kiwa Piraato akakisa okwewala okusalira Yesu omusango. Olw’okuba Kerode Antipasi (mutabani wa Kerode Omukulu) y’atwala essaza ly’e Ggaliraaya, era nga kati ali Yerusaalemi mu kiseera ky’embaga ey’Okuyitako, Piraato aweereza Yesu eri Kerode. Kerode Antipasi ye yalagira ne batemako Yokaana Omubatiza omutwe. Oluvannyuma, bwe yawulira nti Yesu akola ebyamagero, Kerode yatya ng’alowooza nti Yokaana azuukiziddwa mu bafu.​—Lukka 9:7-9.

Kerode yeesunze okulaba Yesu. Naye teyeesunze olw’okuba ayagala okuyamba Yesu oba okumanya obanga ddala ebyo bye bamuvunaana bituufu. Kerode “asuubira okulaba ebimu ku byamagero by’akola.” (Lukka 23:8) Wadde kiri kityo, Yesu takola ekyo Kerode ky’asuubira. Mu butuufu, Kerode amubuuza ebibuuzo bingi naye Yesu tamuddamu kigambo kyonna. Nga musunguwavu, Kerode n’abasirikale be ‘baweebuula’ Yesu. (Lukka 23:11) Bamwambaza ekyambalo ekimasamasa ne bamukudaalira, era oluvannyuma Kerode amuzzaayo ewa Piraato. Kerode ne Piraato babadde tebakolagana, naye kati bafuuse ba mukwano nnyo.

Yesu bw’azzibwayo, Piraato ayita bakabona abakulu, abafuzi b’Abayudaaya, n’abantu era n’abagamba nti: “Mmuwozesezza mu maaso gammwe naye tewali na kimu ku ebyo bye mumulumiriza kye nzudde. Mu butuufu ne Kerode naye talina ky’azudde, kubanga amukomezzaawo gye tuli, era laba! talina kye yakola kimugwanyiza kufa. N’olwekyo, ŋŋenda kumubonereza, n’oluvannyuma mmute.”​—Lukka 23:14-16.

Piraato ayagala kuta Yesu kubanga akirabye nti bakabona bamuleese gy’ali olw’okuba bamukwatirwa obuggya. Kyokka ng’akyali ku ntebe ye kw’asalira emisango, wabaawo ekintu ekirala ekimuleetera okwagala okuta Yesu. Mukyala we amuweereza obubaka obugamba nti: “Omuntu oyo omutuukirivu tomukolako kabi, kubanga leero ntawaanyiziddwa nnyo mu kirooto [kirabika kyavudde eri Katonda] ku lulwe.”​—Matayo 27:19.

Kiki Piraato ky’anaakola okununula omusajja oyo atalina musango?