Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 133

Omulambo gwa Yesu Guteekebwateekebwa era Gussibwa mu Ntaana

Omulambo gwa Yesu Guteekebwateekebwa era Gussibwa mu Ntaana

MATAYO 27:57–28:2 MAKKO 15:42–16:4 LUKKA 23:50–24:3 YOKAANA 19:31–20:1

  • OMULAMBO GWA YESU GUGGIBWA KU MUTI

  • GUTEEKEBWATEEKEBWA NGA TEGUNNASSIBWA MU NTAANA

  • ABAKAZI BASANGA ENTAANA NKALU

Lukyali Lwakutaano Nisaani 14, obudde bwa lwaggulo. Enjuba bw’eneegwa, Ssabbiiti eya Nisaani 15 ejja kutandika. Yesu amaze okufa, naye abanyazi abawanikiddwa okumpi naye bakyali balamu. Okusinziira ku Mateeka ga Katonda, emirambo tegisaanidde ‘kusigala ku muti ekiro kyonna,’ wabula gisaanidde okuziikibwa “ku lunaku olwo.”​—Ekyamateeka 21:22, 23.

Ate era ekiseera eky’Olwokutaano olweggulo kiyitibwa Okuteekateeka kubanga abantu bateekateeka eby’okulya era bakola emirimu emirala egitasobola kulinda okutuusa nga Ssabbiiti ewedde. Enjuba bw’eneegwa, Ssabbiiti ey’emirundi ebiri oba ‘enkulu,’ ejja kutandika. (Yokaana 19:31) Kiri bwe kityo kubanga Nisaani 15 lwe lugenda okuba olunaku olusooka olw’Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse, emala ennaku omusanvu. Olunaku lw’Embaga eyo olusooka eba Ssabbiiti. (Eby’Abaleevi 23:5, 6) Ku mulundi guno olunaku olwo olusooka lukwataganye ne Ssabbiiti eya buli wiiki, olunaku olw’omusanvu.

N’olwekyo Abayudaaya basaba Piraato abakkirize bamenye amagulu ga Yesu n’ag’abanyazi abakomereddwa okumpi naye. Lwaki? Ekyo kijja kubaviirako okufa amangu. Amagulu gajja kuba tegakyasobola kuwanirira mibiri gyabwe okubasobozesa okussa obulungi. Abasirikale bagenda ne bamenya amagulu g’abanyazi ababiri. Naye olw’okuba ye Yesu afudde, tebamenya magulu ge. Ekyo kituukiriza Zabbuli 34:20 awagamba nti: “Akuuma amagumba ge gonna; tewali na limu ku go limenyeddwa.”

Okusobola okukakasiza ddala nti Yesu afudde, omu ku basirikale amufumita effumu mu mbiriizi okumpi n’omutima, “amangu ago ne muvaamu omusaayi n’amazzi.” (Yokaana 19:34) Ekyo kituukiriza obunnabbi obulala obugamba nti: “Balitunuulira oyo gwe baafumita.”​—Zekkaliya 12:10.

Yusufu ow’omu kibuga Alimasaya, ‘omusajja omugagga’ era omukiise mu Lukiiko Olukulu assibwamu ekitiibwa, naye abaddewo nga Yesu attibwa. (Matayo 27:57) Ayogerwako ‘ng’omusajja omulungi era omutuukirivu,’ era “alindirira Obwakabaka bwa Katonda.” Mu butuufu, olw’okuba ‘muyigirizwa wa Yesu naye mu kyama, olw’okuba yali atya Abayudaaya,’ teyakkiriziganyizza na nsalawo ya Lukiiko Lukulu nga luwozesa Yesu. (Lukka 23:50; Makko 15:43; Yokaana 19:38) Yusufu afuna obuvumu n’asaba Piraato omulambo gwa Yesu. Piraato ayita omukulu w’ekibinja ky’abasirikale n’amubuuza obanga ddala Yesu afudde. Oluvannyuma lw’okukakasa nti afudde, Piraato akkiriza Yusufu okutwala omulambo.

Yusufu agula olugoye oluyonjo olwa kitaani, n’aggyayo omulambo gwa Yesu ku muti kw’akomereddwa. Azinga omulambo mu lugoye olwo gusobole okuteekebwateekebwa nga tegunnassibwa mu ntaana. Nikodemu, “emabegako eyagenda eri Yesu ekiro,” naye azze okuyambako mu kuteekateeka omulambo. (Yokaana 19:39) Aleese eby’akaloosa eby’ebbeeyi ebiyitibwa miira ne alowe ebiweza kilo nga 33. Omulambo gwa Yesu guzingibwa mu ngoye eziteekeddwamu eby’akaloosa ebyo, ng’empisa y’Abayudaaya ey’okuziika bw’eri.

Yusufu alina entaana okumpi awo eyasimibwa mu lwazi era eteteekebwangamu mufu yenna. Omulambo gwa Yesu guteekebwa mu ntaana eyo, era oluvannyuma ejjinja eddene liyiringisibwa ne liteekebwa ku mulyango gwayo. Ekyo kikolebwa mu bwangu, nga Ssabbiiti tennatandika. Maliyamu Magudaleena ne Maliyamu maama wa Yakobo Omuto bayinza okuba nga nabo babadde bayambako mu kuteekateeka omulambo gwa Yesu. Banguwa okuddayo eka ‘bateeketeeke eby’akaloosa n’amafuta agawunya obulungi’ eby’okusiiga omulambo gwa Yesu nga Ssabbiiti ewedde.​—Lukka 23:56.

Ku lunaku oluddako, ku Ssabbiiti, bakabona abakulu n’Abafalisaayo bagenda eri Piraato ne bamugamba nti: “Tujjukidde nti omulimba oyo bwe yali akyali mulamu yagamba nti, ‘Oluvannyuma lw’ennaku ssatu nja kuzuukizibwa.’ Kale, lagira bakuumire ddala entaana ye okutuusa ku lunaku olw’okusatu, abayigirizwa be baleme kujja kumubbamu era bagambe abantu nti, ‘Yazuukiziddwa okuva mu bafu!’ Awo obulimba buno obw’oluvannyuma bujja kusinga obw’olubereberye.” Piraato abagamba nti: “Mutwale abakuumi. Mugende mugikuumire ddala.”​—Matayo 27:63-65.

Ku Ssande ku makya ennyo, Maliyamu Magudaleena, Maliyamu maama wa Yakobo, n’abakazi abalala batwala ku ntaana eby’akaloosa eby’okusiiga omulambo gwa Yesu. Beebuuzaganya nti: “Ani anaatuyiringisiza ejjinja okuliggya ku mulyango gw’entaana?” (Makko 16:3) Naye bwe batuuka ku ntaana basanga musisi yayise. Ng’oggyeeko ekyo, malayika wa Katonda ayigiringisizza ejjinja okuva ku ntaana, abakuumi tebaliiwo, n’entaana nkalu!