Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 134

Entaana Nkalu—Yesu Mulamu!

Entaana Nkalu—Yesu Mulamu!

MATAYO 28:3-15 MAKKO 16:5-8 LUKKA 24:4-12 YOKAANA 20:2-18

  • YESU AZUUKIZIBWA

  • EBIBAAWO KU NTAANA YA YESU

  • ALABIKIRA ABAKAZI BANGI

Abakyala abagenze ku ntaana batya nnyo bwe basanga ng’omulambo gwa Yesu teguliimu! Maliyamu Magudaleena adduka n’agenda eri “Simooni Peetero n’eri omuyigirizwa Yesu gwe yali ayagala ennyo”​—omutume Yokaana. (Yokaana 20:2) Kyokka, abakazi abalala abali ku ntaana balaba malayika. Ne munda mu ntaana mulimu malayika omulala, “ayambadde olugoye oluwanvu olweru.”​—Makko 16:5.

Omu ku bamalayika abagamba nti: “Temutya, kubanga mmanyi nti munoonya Yesu eyakomererwa ku muti. Taliiwo wano kubanga yazuukiziddwa nga bwe yagamba. Mujje mulabe ekifo we yabadde agalamiziddwa. Mugende mangu mutegeeze abayigirizwa be nti yazuukiziddwa okuva mu bafu era agenda Ggaliraaya. Eyo gye munaamulabira. Laba! Mbabuulidde.” (Matayo 28:5-7) Nga “bakwatiddwa ensisi era nga bawuniikiridde,” abakazi abo badduka ne bagenda okubuulira abayigirizwa.​—Makko 16:8.

Kirabika Maliyamu amaze okusisinkana Peetero ne Yokaana. Ng’aky’aweekeera, abagamba nti: “Mukama waffe bamuggye mu ntaana era tetumanyi gye bamutadde.” (Yokaana 20:2) Peetero ne Yokaana badduka okugenda ku ntaana. Yokaana adduka nnyo era y’asooka okutuuka ku ntaana. Atunula mu ntaana n’alaba engoye, naye asigala bweru.

Peetero ye bw’atuuka, ayingira butereevu mu ntaana. Alaba engoye za kitaani n’olugoye olwasibibwa ku mutwe gwa Yesu. Yokaana naye ayingira era akkiriza ebyo Maliyamu by’abagambye. Wadde nga Yesu yabagamba nti ajja kuzuukizibwa, bombi tebannategeera nti azuukiziddwa. (Matayo 16:21) Nga basobeddwa, baddayo eka. Kyokka Maliyamu akomyewo ku ntaana era asigala awo.

Mu kiseera kye kimu, abakazi abalala badduka ne bagenda okubuulira abayigirizwa nti Yesu azuukidde. Baba bakyali mu kkubo, Yesu abasisinkana n’abagamba nti: “Emirembe gibe nammwe!” Basembera w’ali ne “bamuvunnamira.” Yesu abagamba nti: “Temutya! Mugende mugambe baganda bange bagende e Ggaliraaya, era eyo gye banandabira.”​—Matayo 28:9, 10.

Emabegako, musisi bw’ayise era bamalayika ne balabika, abasirikale ababadde bakuuma entaana ‘bakankanye, era ne baba ng’abafudde.’ Bwe bazzeemu okutegeera, bayingidde mu kibuga ne ‘babuulira bakabona abakulu ebintu byonna ebibaddewo.’ Bakabona bateesezza n’abakadde ku ekyo ekiyinza okukolebwa. Bawadde abasirikale enguzi baleme kwogera ebibaddewo wabula bagambe nti: “Abayigirizwa be bazze ekiro nga twebase ne bamubba.”​—Matayo 28:4, 11, 13.

Abasirikale Abaruumi basobola okuttibwa singa beebakira mu kiseera eky’okukuuma, n’olwekyo bakabona babasuubiza nti: “Kino [eky’okulimba nti ekiro baabadde beebase] gavana bw’anaakiwulira, tujja kumunnyonnyola era mujja kuba temwetaaga kweraliikirira.” (Matayo 28:14) Abasirikale abo bakkiriza enguzi era ne bakola ekyo bakabona kye babagambye. Mu ngeri eyo, ebigambo eby’obulimba nti omulambo gwa Yesu gwabbibwa mu ntaana bibuna wonna mu Bayudaaya.

Maliyamu Magudaleena akyali ku ntaana akaaba. Bw’akutama n’atunula mu ntaana, alabamu bamalayika babiri nga bali mu ngoye njeru! Omu atudde mitwetwe ate omulala atudde mirannamiro mu kifo omulambo gwa Yesu we gwali gugalamiziddwa. Babuuza Maliyamu nti: “Okaabira ki?” Abaddamu nti: “Batutte Mukama wange era simanyi gye bamutadde.” Maliyamu bw’akyuka, alaba muntu mulala. Omuntu oyo naye abuuza Maliyamu ekibuuzo kye kimu era n’ayongerako nti: “Onoonya ani?” Maliyamu ng’alowooza nti oyo y’alabirira ennimiro, amugamba nti: “Ssebo, bw’oba nga gwe omuggyeemu, mbuulira gy’omutadde ŋŋende mmuggyeyo.”​—Yokaana 20:13-15.

Maliyamu ayogera ne Yesu eyazuukiziddwa, naye tannategeera nti ye Yesu. Kyokka, bw’amuyita nti “Maliyamu!” akimanya nti ye Yesu, ng’amutegeerera ku ngeri gye yateranga okwogeramu. Maliyamu ayogera n’essanyu nti: “Labooni!” (ekitegeeza nti “Omuyigiriza!”). Kyokka, olw’okuba atya nti Yesu anaatera okugenda mu ggulu, Maliyamu amwekwatako. Eyo ye nsonga lwaki Yesu amugamba nti: “Lekera awo okunneekwatako, kubanga sinnagenda eri Kitange. Naye genda eri baganda bange obagambe nti, ‘Ŋŋenda eri Kitange era Kitammwe, eri Katonda wange era Katonda wammwe.’”​—Yokaana 20:16, 17.

Maliyamu adduka n’agenda mu kifo abatume n’abayigirizwa abalala gye bakuŋŋaanidde. Abagamba nti: “Ndabye Mukama waffe!” Ekyo kikkaatiriza ebyo abakazi abalala bye boogedde. (Yokaana 20:18) Naye ebyo abakazi bye babagambye ‘bibawulikikira ng’ebitaliimu nsa.’​—Lukka 24:11.