Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 138

Kristo ku Mukono gwa Katonda Ogwa Ddyo

Kristo ku Mukono gwa Katonda Ogwa Ddyo

EBIKOLWA 7:56

  • YESU ATUULA KU MUKONO GWA KATONDA OGWA DDYO

  • SAWULO AFUUKA OMUYIGIRIZWA

  • TUSAANIDDE OKUSANYUKA

Nga wayiseewo ennaku 10 oluvannyuma lwa Yesu okwambuka waggulu, abayigirizwa okufukibwako omwoyo omutukuvu ku Pentekooti kyakakasa nti Yesu yali atuuse mu ggulu. Ate era waliwo ekintu ekirala ekyabaawo ekyakakasa ensonga eyo. Ng’omuyigirizwa Siteefano tannakkubibwa mayinja olw’okubuulira amawulire amalungi, yagamba nti: “Laba! Ndaba eggulu nga libikkuse n’Omwana w’omuntu ng’ayimiridde ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo.”​—Ebikolwa 7:56.

Ng’ali ne Kitaawe mu ggulu, Yesu yandirindiridde ekiragiro ekyayogerwako mu Kigambo kya Katonda. Dawudi yaluŋŋamizibwa okuwandiika nti: “Yakuwa yagamba Mukama wange [Yesu] nti: ‘Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo okutuusa lwe ndifuula abalabe bo ng’entebe y’ebigere byo.’” Ekiseera eky’okulinda bwe kyandiweddeeko, Yesu ‘yandigenze ng’awangula wakati mu balabe be.’ (Zabbuli 110:1, 2) Naye kiki Yesu kye yandibadde akola mu ggulu nga bw’alindirira ekiseera lwe yanditandise okuwangula wakati mu balabe be?

Ku Pentekooti ey’omwaka 33 E.E., ekibiina Ekikristaayo kyatandikibwawo. Ng’asinziira mu ggulu, Yesu yatandika okufuga abayigirizwa be abaafukibwako omwoyo omutukuvu. (Abakkolosaayi 1:13) Yabawa obulagirizi obukwata ku kubuulira era n’abateekateeka okusobola okukola omulimu gwe bandiweereddwa. Mulimu ki ogwo? Abo abandisigadde nga beesigwa okutuusiza ddala okufa, oluvannyuma lw’ekiseera bandizuukiziddwa ne bafugira wamu ne Yesu mu Bwakabaka bwe.

Omu ku abo abandifuze ne Yesu nga bakabaka ye Sawulo, era ng’abasinga bamanyi linnya lye ery’Ekiruumi erya Pawulo. Yali Muyudaaya eyali anyiikirira ennyo Amateeka ga Katonda, naye nga yabuzaabuzibwa abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya n’atuuka n’okuwagira ekikolwa oky’okukuba Siteefano amayinja. Oluvannyuma Sawulo yayolekera Ddamasiko ng’awanda muliro, ng’anoonya “abayigirizwa ba Mukama waffe, era ng’ayagala okubatta.” Kayaafa Kabona Asinga Obukulu yamuwa obuyinza okukwata abayigirizwa ba Yesu abakomyewo e Yerusaalemi. (Ebikolwa 7:58; 9:1) Kyokka Sawulo bwe yali anaatera okutuuka e Ddamasiko, ekitangaala eky’amaanyi kyayaka okumwetooloola n’agwa wansi.

Yawulira eddoboozi nga ligamba nti: “Sawulo, Sawulo, lwaki onjigganya?” Sawulo n’amubuuza nti: “Ggwe ani, Mukama wange?” N’amuddamu nti: “Nze Yesu, gw’oyigganya.”​—Ebikolwa 9:4, 5.

Yesu yagamba Sawulo ayingire mu kibuga Ddamasiko alinde obulagirizi obulala, naye baalina kumutwalayo butwazi kubanga ekitangaala kyamuziba amaaso. Mu kwolesebwa okulala, Yesu yalabikira Ananiya, omu ku bayigirizwa ab’omu Ddamasiko. Yesu yagamba Ananiya okugenda mu kifo ekimu asisinkane Sawulo. Ananiya yasooka kutya, naye Yesu yamugumya ng’amugamba nti: “Omusajja oyo kibya kye nnonze okutwala erinnya lyange eri ab’amawanga, eri bakabaka, n’eri abaana ba Isirayiri.” Sawulo yazibulwa amaaso, era ng’akyali e Ddamasiko ‘yatandika okubuulira mu makuŋŋaaniro nti Yesu ye Mwana wa Katonda.’​—Ebikolwa 9:15, 20.

Nga bayambibwako Yesu, Pawulo n’ababuulizi abalala beeyongera okukola omulimu gw’okubuulira Yesu gwe yatandikawo. Katonda yabawa emikisa mingi. Nga wayiseewo emyaka nga 25 okuva Yesu lwe yamulabikira ng’agenda e Ddamasiko, Pawulo yawandiika nti amawulire amalungi gaali ‘gaabuuliddwa mu bitonde byonna ebiri wansi w’eggulu.’​—Abakkolosaayi 1:23.

Nga wayiseewo emyaka mingi, Yesu yawa omutume Yokaana gwe yali ayagala ennyo okwolesebwa okutali kumu okwawandiikibwa mu kitabo kya Bayibuli eky’Okubikkulirwa. Okuyitira mu kwolesebwa okwo, tuyinza okugamba nti Yokaana yabeerawo okutuusa lwe yalaba Yesu ng’akomyewo mu kitiibwa kye nga Kabaka. (Yokaana 21:22) ‘Omwoyo omutukuvu gwatwala [Yokaana] mu lunaku lwa Mukama waffe.’ (Okubikkulirwa 1:10) Olunaku olwo lwanditandise ddi?

Bwe weekenneenya obunnabbi bwa Bayibuli, okiraba nti ‘olunaku lwa Mukama waffe’ lwatandika mu kiseera ekitali kya wala nnyo. Mu 1914, waabalukawo Ssematalo I. Okuva olwo wazze wabaawo entalo nnyingi, endwadde ez’amaanyi, ebbula ly’emmere, musisi, n’ebintu ebirala ebiraga ku kigero ekinene okutuukirizibwa ‘kw’akabonero’ Yesu ke yawa abatume be, akandiraze “okubeerawo” kwe “n’amafundikira g’enteekateeka y’ebintu.” (Matayo 24:3, 7, 8, 14) Amawulire amalungi ag’Obwakabaka gabuulirwa, si mu bitundu ebyali bifugibwa Abaruumi byokka naye mu nsi yonna. Ebyo byonna biraga ki?

Yokaana yaluŋŋamizibwa okuwandiika nti: “Kaakano obulokozi, n’amaanyi, n’Obwakabaka bwa Katonda waffe, n’obuyinza bwa Kristo we bizze.” (Okubikkulirwa 12:10) Awatali kubuusabuusa, Obwakabaka bwa Katonda obw’omu ggulu Yesu bwe yabuuliranga bwatandika okufuga!

Ago mawulire malungi eri abayigirizwa ba Yesu bonna abeesigwa. Basaanidde okussaayo omwoyo eri ebigambo Yokaana by’azzaako: “N’olwekyo, musanyuke mmwe eggulu nammwe abalibeeramu! Zisanze ensi n’ennyanja, kubanga Omulyolyomi asse gye muli, ng’alina obusungu bungi ng’amanyi nti alina akaseera katono.”​—Okubikkulirwa 12:12.

Bwe kityo nno, Yesu takyatudde butuuzi ku mukono gwa Kitaawe ogwa ddyo ng’alindirira. Kati afuga nga Kabaka, era mu kiseera ekitali kya wala ajja kuzikiriza abalabe be bonna. (Abebbulaniya 10:12, 13) Bintu ki ebirungi ebinaatera okubaawo bye twesunga?