Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 139

Yesu Afuula Ensi Olusuku era Amaliriza Omulimu Gwe

Yesu Afuula Ensi Olusuku era Amaliriza Omulimu Gwe

1 ABAKKOLINSO 15:24-28

  • ENDIGA N’EMBUZI ZIRAMULWA

  • BANGI BAJJA KUBEERA MU LUSUKU LWA KATONDA KU NSI

  • YESU AKIRAGA NTI YE KKUBO N’AMAZIMA N’OBULAMU

Yesu bwe yali yaakabatizibwa, yayolekagana n’omulabe ow’amaanyi eyali ayagala okumulemesa nga tannatandika na buweereza bwe. Mu butuufu, Omulyolyomi yagezaako okukema Yesu emirundi egiwerako. Oluvannyuma, Yesu bwe yali ayogera ku mubi oyo yagamba nti: “Omufuzi w’ensi ajja, era tanninaako buyinza.”​—Yokaana 14:30.

Mu kwolesebwa, omutume Yokaana yalaba ekigenda okutuuka ku ‘gusota ogunene, omusota ogw’edda oguyitibwa Omulyolyomi era Sitaani.’ Omulabe oyo lukulwe yandisuuliddwa okuva mu ggulu, “ng’alina obusungu bungi ng’amanyi nti alina akaseera katono.” (Okubikkulirwa 12:9, 12) Abakristaayo ab’amazima bakakafu nti bali mu ‘kaseera ako akatono’ era nti “ogusota, omusota ogw’edda” gujja kusuulibwa mu bunnya gubeeremu nga tegulina kye gusobola kukola okumala emyaka 1,000, nga Yesu afuga nga Kabaka mu Bwakabaka bwa Katonda.​—Okubikkulirwa 20:1, 2.

Mu kiseera ekyo, kiki ekinaatuuka ku nsi eno kwe tubeera? Baani abanaagibeerako era banaabeera mu mbeera ki? Yesu yawa eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo. Mu lugero lwe olukwata ku ndiga n’embuzi, Yesu yalaga empeera abantu abatuukirivu abalinga endiga gye bajja okufuna olw’okukolagana obulungi ne baganda ba Yesu n’okubakolera ebirungi. Ate era yalaga ekyo ekijja okutuuka ku bajeemu, abo abalinga embuzi. Yagamba nti: “Abo [abalinga embuzi] baligenda mu kufa okw’olubeerera, naye abatuukirivu [abalinga endiga] baligenda mu bulamu obutaggwaawo.”​—Matayo 25:46.

Kino kituyamba okutegeera ebigambo Yesu bye yagamba omumenyi w’amateeka eyakomererwa ku muti okumpi naye. Yesu teyagamba musajja oyo nti yandifunye empeera y’emu ng’abatume gye baali bagenda okufuna; ey’okufugira awamu naye mu Bwakabaka obw’omu ggulu. Mu kifo ky’ekyo, omumenyi w’amateeka oyo eyali yeenenyeza Yesu yamusuubiza nti: “Mazima nkugamba leero nti oliba nange mu Lusuku lwa Katonda.” (Lukka 23:43) N’olwekyo, omusajja oyo yafuna essuubi ery’okubeera mu Lusuku lwa Katonda​—ekifo ekirabika obulungi. Mu ngeri y’emu, abo bonna abalinga endiga era abajja okugenda “mu bulamu obutaggwaawo” nabo bajja kubeera mu Lusuku lwa Katonda.

Ekyo kikwatagana bulungi n’embeera eyandibadde ku nsi omutume Yokaana gye yayogerako. Yagamba nti: “Weema ya Katonda eri wamu n’abantu, era anaabeeranga wamu nabo, era banaabeeranga bantu be. Katonda kennyini anaabeeranga wamu nabo. Alisangula buli zziga mu maaso gaabwe era okufa tekulibaawo nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba, newakubadde obulumi. Ebintu eby’olubereberye biriba biweddewo.”​—Okubikkulirwa 21:3, 4.

Omumenyi w’amateeka oyo okusobola okubeera mu Lusuku lwa Katonda, alina okuzuukizibwa okuva mu bafu. Ate era si ye yekka ajja okuzuukizibwa. Yesu yagamba nti: “Ekiseera kijja bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye ne bavaamu, abo abaakolanga ebintu ebirungi balizuukirira obulamu, n’abo abaakolanga ebintu ebibi balizuukirira omusango.”​—Yokaana 5:28, 29.

Ate bo abatume abeesigwa n’abalala abatonotono abanaabeera ne Yesu mu ggulu? Bayibuli egamba nti: “Baliba bakabona ba Katonda era ba Kristo, era balifugira wamu naye nga bakabaka okumala emyaka 1,000.” (Okubikkulirwa 20:6) Abo abajja okufuga ne Yesu basajja n’abakazi abalondebwa okuva ku nsi. N’olwekyo, bajja kuba bafuzi ba kisa era abategeera obulungi abo be banaafuga wano ku nsi.​—Okubikkulirwa 5:10.

Ng’asinziira ku ssaddaaka y’ekinunulo gye yawaayo, Yesu ajja kuggyawo ekibi abantu kye baasikira. Yesu n’abo b’anaafuga nabo bajja kuyamba abantu okufuuka abatuukiridde. Abantu bajja kunyumirwa obulamu Katonda bwe yali ayagala babeeremu bwe yagamba Adamu ne Kaawa okuzaala bajjuze ensi. N’okufa okwava ku kibi kya Adamu nakwo kujja kuggibwawo!

Mu ngeri eyo, Yesu ajja kuba atuukirizza omulimu Yakuwa gwe yamuwa okukola. Ku nkomerero y’Obufuzi bwe obw’Emyaka Olukumi, Yesu ajja kuwaayo Obwakabaka n’abantu abatuukiridde eri Kitaawe. Ng’ayogera ku kikolwa ekyo ekiraga nti Yesu muwombeefu, omutume Pawulo yagamba nti: “Ebintu byonna bwe birimala okussibwa wansi we, Omwana naye alyessa wansi w’Oyo eyassa ebintu byonna wansi we, Katonda alyoke abeere byonna eri buli omu.”​—1 Abakkolinso 15:28.

Awatali kubuusabuusa, Yesu alina ekifo kikulu nnyo mu kutuukirizibwa kw’ebigendererwa bya Katonda eby’ekitiibwa. Nga tweyongera okutegeera ebigendererwa ebyo emirembe gyonna, Yesu ajja kweyongera okubeera ekyo ye kennyini kye yagamba: “Nze kkubo, n’amazima, n’obulamu.”​—Yokaana 14:6.