EKITUNDU 3
Yesu Abuulira n’Obunyiikivu e Ggaliraaya
‘Yesu yatandika okubuulira nti: “Obwakabaka busembedde.”’—Matayo 4:17
MU KITUNDU KINO
ESSUULA 20
Akola Ekyamagero eky’Okubiri e Kaana
Yesu awonya omwana w’omukungu, ng’omwana ali wala mayiro nga 16.
ESSUULA 21
Yesu mu Kkuŋŋaaniro e Nazaaleesi
Kiki Yesu kye yayogera ekyaleetera abantu b’omu kitundu ky’ewaabwe okwagala okumutta?
ESSUULA 22
Abayigirizwa Bana Ba Kufuuka Bavubi b’Abantu
Abagamba baleke omulimu gw’okuvuba eby’ennyanja batandike okuvuba abantu.
ESSUULA 23
Yesu Akola Ebyamagero Bingi e Kaperunawumu
Yesu bw’agoba dayimooni, azigaana okugamba abantu nti Mwana wa Katonda. Lwaki?
ESSUULA 24
Yeeyongera Okubuulira mu Ggaliraaya
Abantu bajja eri Yesu bawonyezebwe, naye Yesu abannyonnyola nti okukola ebyamagero si ye nsonga enkulu eyamuleeta ku nsi.
ESSUULA 25
Asaasira Omugenge era Amuwonya
Yesu akozesa ebigambo ebiraga nti afaayo nnyo ku abo b’awonya.
ESSUULA 28
Lwaki Abayigirizwa ba Yesu Tebasiiba?
Yesu abaddamu ng’akozesa ekyokulabirako ky’ensawo z’amaliba ezaateekebwangamu omwenge.
ESSUULA 29
Omuntu Asobola Okukola Ebirungi ku Ssabbiiti?
Lwaki Abayudaaya bayigganya Yesu olw’okuwonya omusajja eyali amaze emyaka 38 nga mulwadde?
ESSUULA 30
Enkolagana Yesu gy’Alina ne Kitaawe
Abayudaaya balowooza nti Yesu yeetwala okuba nti yenkanankana ne Katonda, naye Yesu abategeeza nti teyenkanankana ne Katonda.
ESSUULA 32
Kiki Ekikkirizibwa Okukolebwa ku Ssabbiiti?
Wadde ng’Abasaddukaayo n’Abafalisaayo tebakolagana, ku luno bassa kimu nga nkuyege.
ESSUULA 33
Atuukiriza Obunnabbi bwa Isaaya
Lwaki Yesu alagira abo b’awonyezza obutabuulirako balala ebimukwatako ne by’akoze?
ESSUULA 35
Okuyigiriza okw’Oku Lusozi Okumanyiddwa Ennyo
Laba ebintu ebikulu Yesu bye yayogerako ng’ayigiriza.
ESSUULA 36
Omukulu w’Ekibinja ky’Abasirikale Ayoleka Okukkiriza okw’Amaanyi
Kiki omukulu w’abasirikale ky’akola ekyewuunyisa Yesu?
ESSUULA 37
Yesu Azuukiza Mutabani wa Nnamwandu
Abo abalaba ekyamagero ekyo bategeera amakulu gaakyo.
ESSUULA 38
Yokaana Ayagala Yesu Amukakase Obanga Ye Masiya
Lwaki Yokaana Omubatiza abuuza obanga Yesu ye Masiya? Yokaana alimu okubuusabuusa?
ESSUULA 39
Zisanze Omulembe Omukakanyavu
Yesu agamba nti ku Lunaku olw’Okusalirako Omusango ekibonerezo kya Kaperunawumu, ekibuga gy’abadde okumala ekiseera, kijja kuba kinene nnyo okusinga ekya Sodomu.
ESSUULA 40
Ayigiriza Ebikwata ku Kusonyiwa
Yesu bw’agamba omukazi, oboolyawo eyali malaaya, nti ebibi bye bisonyiyiddwa, aba alaga nti si kikyamu kumenya mateeka ga Katonda?
ESSUULA 43
Engero Ezikwata ku Bwakabaka
Yesu agera engero munaana okunnyonnyola ebintu ebitali bimu ebikwata ku Bwakabaka obw’omu ggulu.
ESSUULA 44
Yesu Akkakkanya Omuyaga ku Nnyanja
Yesu bwe yakkakkanya omuyaga, yalaga engeri obulamu gye bunaaba mu Bwakabaka bwe.
ESSUULA 46
Akwata ku Kyambalo kya Yesu n’Awona
Yesu kye ky’akola kiraga nti alina amaanyi era nti wa kisa nnyo.
ESSUULA 47
Omuwala Addamu Okuba Omulamu!
Yesu bw’agamba nti omuwala afudde yeebase, abantu bamusekerera. Kiki ky’amanyi abantu abo kye batamanyi?
ESSUULA 48
Akola Ebyamagero, Naye ne mu Nazaaleesi Bagaana Okumukkiriza
Abantu b’omu Nazaaleesi bagaana okukkiriza Yesu, si lwa byamagero by’akola oba olw’ebintu by’ayigiriza, naye lwa nsonga ndala.
ESSUULA 49
Abuulira mu Ggaliraaya era Atendeka Abatume
Ebigambo ‘Obwakabaaka obw’omu ggulu busembedde’ birina makulu ki?
ESSUULA 50
Beetegefu Okubuulira ne Bwe Bandibadde Bayigganyizibwa
Bwe kiba nti tebalina kutya kufa, lwaki ate abagamba okuva mu kitundu ekimu okudda mu kirala nga bayigganyizibwa?
ESSUULA 51
Yokaana Omubatiza Attibwa ku Mukolo gw’Amazaalibwa
Saalome azina n’asanyusa nnyo Kerode era Kerode amugamba asabe kyonna ky’ayagala. Kiki ky’asaba?
ESSUULA 52
Aliisa Nkumi na Nkumi ng’Akozesa Emigaati n’Ebyennyanja Bitono
Ekyamagero Yesu kye yakola ekyogerwako mu Njiri zonna ennya.
ESSUULA 53
Omufuzi Alina Obuyinza ku Maanyi g’Obutonde
Yesu okutambulira ku mazzi n’okukkakkanya omuyaga kiyigiriza ki abatume?
ESSUULA 55
Ebigambo bya Yesu Byewuunyisa Bangi
Yesu ayigiriza ekintu ekiviirako n’abamu ku bayigirizwa be okumwabulira.
ESSUULA 57
Yesu Awonya Omuwala n’Omusajja Kiggala
Lwaki omukazi tanyiiga Yesu bw’ageraageranya abantu b’eggwanga lye ku bubwa obuto?
ESSUULA 58
Addamu Okuliisa Abantu Emigaati era Alabula ku Kizimbulukusa
Kya ddaaki abayigirizwa ba Yesu bategeera ekyo ky’ategeeza.
ESSUULA 59
Omwana w’Omuntu y’Ani?
Ebisumuluzo by’Obwakabaka kye ki? Ani abikozesa, era abikozesa atya?
ESSUULA 61
Yesu Awonya Omulenzi Aliko Dayimooni
Yesu agamba nti omwana teyawonyezeddwa kubanga tebaabadde na kukkiriza, naye ani ataalina kukkiriza? Omulenzi, taata w’omulenzi, oba abayigirizwa ba Yesu?
ESSUULA 63
Yesu Ayogera ku Kwesittala ne ku Kwonoona
Alaga emitendera esatu egisobola okugobererwa okugonjoola obutategeeragana obw’amaanyi wakati w’ab’oluganda.
ESSUULA 64
Kikulu Okusonyiwa Abalala
Ng’akozesa olugero olukwata ku muddu ataasonyiwa, Yesu akiraga nti Katonda ayagala tusonyiwe abalala.
ESSUULA 65
Ayigiriza ng’Agenda e Yerusaalemi
Yesu ayogera n’abantu basatu, n’alaga ebintu ebisobola okulemesa omuntu okuba omugoberezi we.