Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 70

Yesu Azibula Amaaso g’Omusajja Eyazaalibwa nga Muzibe

Yesu Azibula Amaaso g’Omusajja Eyazaalibwa nga Muzibe

YOKAANA 9:1-18

  • OMUSAJJA ASABIRIZA EYAZAALIBWA NGA MUZIBE AWONYEZEBWA

Yesu akyali mu Yerusaalemi ku Ssabbiiti. Bw’aba atambula mu kibuga ng’ali wamu n’abayigirizwa be, balaba omusajja asabiriza eyazaalibwa nga muzibe. Abayigirizwa babuuza Yesu nti: “Labbi, omusajja ono okuzaalibwa nga muzibe ani yayonoona, ye kennyini oba bazadde be?”​—Yokaana 9:2.

Abayigirizwa bakimanyi nti omusajja oyo bwe yali tannazaalibwa, teyaliiwo. Naye baagala okumanya obanga omuntu asobola okwonoona ng’akyali mu lubuto lwa nnyina. Yesu abagamba nti: “Omusajja ono teyayonoona, ne bazadde be tebaayonoona, wabula yazaalibwa bw’atyo emirimu gya Katonda gisobole okweyolekera mu ye.” (Yokaana 9:3) N’olwekyo, omusajja oyo oba bazadde be tebalina kibi kye baakola kyamuviirako kuba muzibe. Mu butuufu, olw’ekibi kya Adamu, abantu bonna bazaalibwa nga tebatuukiridde era nga basobola okubaako obulemu, gamba ng’okuba abazibe b’amaaso. Naye eky’okuba nti omusajja oyo muzibe wa maaso, kiwadde Yesu akakisa okwoleka emirimu gya Katonda nga bw’abaddenga akola ku mirundi emirala ng’awonya abantu.

Yesu akiraga nti ebikolwa ebyo byetaaga okukolebwa mu bwangu. Agamba nti: “Tuteekwa okukola emirimu gy’Oyo eyantuma ng’obudde bukyali bwa misana; ekiro kijja omuntu yenna mw’atasobolera kukola. Nga nkyali mu nsi, nze kitangaala ky’ensi.” (Yokaana 9:4, 5) Mu butuufu, ekiseera kinaatera okutuuka Yesu agende mu kizikiza, kwe kugamba mu ntaana, gy’ajja okuba nga talina ky’asobola kukola. Naye ng’ekyo tekinnabaawo, Yesu ayamba ensi okufuna ekitangaala.

Naye ddala Yesu anaawonya omusajja ono, era bw’aba ow’okumuwonya, anaamuwonya atya? Yesu awanda amalusu ku ttaka, n’atabula amalusu n’ettaka, n’asiiga erimu ku ttaka eryo ku maaso g’omusajja, n’amugamba nti: “Genda onaabe mu kidiba ky’e Sirowamu.” (Yokaana 9:7) Omusajja oyo akola Yesu ky’amugambye era n’azibuka amaaso! Lowooza ku ssanyu omusajja oyo ly’afuna ng’atandise okulaba!

Baliraanwa n’abantu abalala ababadde bamanyi omusajja oyo ng’akyali muzibe beewuunya nnyo. Beebuuza nti: “Ono si ye musajja eyatuulanga n’asabiriza?” Abamu baddamu nti: “Ye ye.” Naye abalala tebakikkiriza era bagamba nti: “Nedda, naye amufaanana.” Omusajja oyo kennyini abagamba nti: “Ye nze.”​—Yokaana 9:8, 9.

Bwe kityo bamubuuza nti: “Kati olwo amaaso go gaazibuka gatya?” Abaddamu nti: “Omusajja ayitibwa Yesu yaddira ettaka n’alitabulamu amalusu, n’alisiiga ku maaso gange, n’aŋŋamba nti: ‘Genda ku Sirowamu onaabe.’ Ne ŋŋenda ne nnaaba era ne ntandika okulaba.” Bamubuuza nti: “Omusajja oyo ali ludda wa?” Abaddamu nti: “Simanyi.”​—Yokaana 9:10-12.

Abantu batwala omusajja oyo eri Abafalisaayo era nabo baagala okumanya engeri gye yasobodde okuzibuka amaaso. Abagamba nti: “Yasiiga ku maaso gange ettaka lye yali atabuddemu amalusu, ne nnaaba, ne gazibuka.” Wandisuubidde nti Abafalisaayo bandisanyuse okulaba ng’omusajja oyo awonyezeddwa. Mu kifo ky’ekyo, abamu boogera bubi ku Yesu. Bagamba nti: “Omusajja ono tava wa Katonda kubanga takwata Ssabbiiti.” Kyokka abalala bagamba nti: “Omuntu omwonoonyi ayinza atya okukola ebyamagero eby’engeri eyo?” (Yokaana 9:15, 16) Bwe kityo beeyawulamu.

Abafalisaayo bakyukira omusajja eyazibuse amaaso ne bamubuuza nti: “Oyo eyakuzibula amaaso omwogerako ki?” Omusajja oyo tabuusabuusa ekyo Yesu ky’ali, era addamu nti: “Nnabbi.”​—Yokaana 9:17.

Abayudaaya tebakkiriza nti omusajja oyo yali muzibe w’amaaso. Bayinza okuba nga balowooza nti Yesu yeekobaanye n’omusajja oyo okubuzaabuza abantu. Bwe kityo basalawo okubuuza bazadde b’omusajja oyo obanga ddala mutabani waabwe oyo abadde muzibe w’amaaso.