Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 69

Kitaabwe y’Ani—Ibulayimu oba Omulyolyomi?

Kitaabwe y’Ani—Ibulayimu oba Omulyolyomi?

YOKAANA 8:37-59

  • ABAYUDAAYA BAGAMBA NTI IBULAYIMU KITAABWE

  • YESU YALIWO NGA IBULAYIMU TANNABAAWO

Ng’akyali mu Yerusaalemi ku Mbaga ey’Ensiisira, Yesu ayigiriza ebintu ebikulu ennyo. Abamu ku Bayudaaya abali ku mbaga eyo baakamala okugamba Yesu nti: “Tuli bazzukulu ba Ibulayimu era tetubeerangako baddu.” Yesu abaddamu nti: “Nkimanyi nti muli bazzukulu ba Ibulayimu. Naye mwagala kunzita, kubanga temukkiriza bye njigiriza. Njogera ebintu bye nnalaba nga ndi ne Kitange, naye mmwe mukola ebintu bye mwawulira okuva eri kitammwe.”​—Yokaana 8:33, 37, 38.

Yesu ky’ategeeza kiri nti: Kitaawe wa njawulo ku kitaabwe. Olw’okuba tebategeera ekyo Yesu ky’agamba, Abayudaaya baddamu okugamba nti: “Kitaffe ye Ibulayimu.” (Yokaana 8:39; Isaaya 41:8) Okusinziira ku lunyiriri lw’obuzaale, Abayudaaya bazzukulu ba Ibulayimu. Eyo ye nsonga lwaki balowooza nti enzikiriza yaabwe y’emu n’eya Ibulayimu, mukwano gwa Katonda.

Kyokka, ebyo Yesu by’abaddamu byewuunyisa nnyo. Agamba nti: “Singa mubadde baana ba Ibulayimu, mwandibadde mukola ebyo bye yakolanga.” Mu mbeera eya bulijjo, omwana akoppa kitaawe. Yesu abagamba nti: “Naye kati mwagala kunzita, nze omuntu ababuulidde amazima ge nnawulira okuva eri Katonda. Kino Ibulayimu teyakikola.” Oluvannyuma Yesu agamba nti: “Mukola ebyo kitammwe by’akola.”​—Yokaana 8:39-41.

Era Abayudaaya balemererwa okutegeera ani Yesu gw’ayogerako. Bamugamba nti: “Tetwazaalibwa mu bwenzi; tulina Kitaffe omu, Katonda.” Naye ddala Katonda ye Kitaabwe? Yesu agamba nti: “Singa Katonda ye Kitammwe mwandibadde munjagala, kubanga nnava eri Katonda era ndi wano. Sajja ku bwange, naye Oyo ye yantuma.” Yesu abuuza ekibuuzo era n’akiddamu. Agamba nti: “Lwaki temutegeera bye njogera? Kubanga temusobola kukkiriza kigambo kyange.”​—Yokaana 8:41-43.

Yesu agezezaako okubalaga akabi akali mu kugaana okumukkiriza. Naye kati abagamba kaati nti: “Mmwe muva eri kitammwe Omulyolyomi, era mwagala okukola ebyo by’ayagala.” Kitaabwe oyo wa ngeri ki? Yesu agamba nti: “Oyo okuva ku lubereberye mussi era teyanywerera mu mazima.” Yesu agattako nti: “Oyo ava eri Katonda, awuliriza Katonda by’agamba. Olw’okuba temuva eri Katonda, eyo ye nsonga lwaki temuwuliriza.”​—Yokaana 8:44, 47.

Ebigambo bya Yesu ebyo binyiiza nnyo Abayudaaya. Bamugamba nti: “Tetuba batuufu bwe tugamba nti, ‘Oli Musamaliya era nti oliko dayimooni’?” Mu kugamba nti Yesu “Musamaliya,” Abayudaaya bakiraga nti bamwetamiddwa. Naye ekyo Yesu takifaako, naye abagamba nti: “Siriiko dayimooni, wabula mpa Kitange ekitiibwa, kyokka mmwe temumpa kitiibwa.” Olw’okuba ensonga eyo nkulu nnyo, Yesu agamba nti: “Omuntu yenna bw’akwata ekigambo kyange taliraba kufa n’akatono.” Yesu tategeeza nti abatume n’abalala abamukkiririzaamu tebajja kulega ku kufa. Wabula ky’ategeeza kiri nti tebajja kuzikirizibwa, kwe kugamba, tebajja kulega ku ‘kufa okw’okubiri,’ omutali ssuubi lya kuzuukira.​—Yokaana 8:48-51; Okubikkulirwa 21:8.

Naye ebigambo bya Yesu ebyo, Abayudaaya babitwala nga bwe biri, era bamugamba nti: “Kati tutegedde nti oliko dayimooni. Ibulayimu yafa era ne bannabbi, naye ggwe ogamba nti, ‘Omuntu yenna bw’akwata ekigambo kyange talirega ku kufa n’akatono.’ Osinga jjajjaffe Ibulayimu eyafa? . . . Ggwe weeyita ani?”​—Yokaana 8:52, 53.

Mu butuufu, Yesu agezaako okulaga nti ye Masiya. Naye mu kifo ky’okuddamu ekibuuzo kyabwe obutereevu, agamba nti: “Bwe mba nga nneegulumiza, ekitiibwa kyange tekigasa. Kitange y’angulumiza, oyo gwe mugamba nti ye Katonda wammwe. Kyokka mmwe temumumanyi, naye nze mmumanyi. Era bwe ŋŋamba nti simumanyi, mba mulimba nga mmwe.”​—Yokaana 8:54, 55.

Kati Yesu addamu okwogera ku jjajjaabwe Ibulayimu, omusajja eyali omwesigwa. Abagamba nti: “Ibulayimu kitammwe yasanyuka nnyo olw’essuubi ery’okulaba olunaku lwange era yalulaba n’asanyuka.” Olw’okuba yali akkiririza mu kisuubizo kya Katonda, Ibulayimu yali yeesunga okujja kwa Masiya. Abayudaaya tebakkiriza Yesu by’agamba era bamugamba nti: “Ggwe atannaweza myaka 50 n’ogamba nti walaba Ibulayimu?” Yesu abaddamu nti: “Mazima ddala mbagamba nti, Ibulayimu nga tannabaawo, nze nnaliwo.” Yesu ayogera ku kiseera bwe yali ng’akyali mu ggulu ng’ekitonde eky’omwoyo nga tannajja ku nsi.​—Yokaana 8:56-58.

Abayudaaya banyiiga nnyo olw’okuba Yesu agambye nti yaliwo nga Ibulayimu tannabaawo, era bakwata amayinja okumukuba. Naye Yesu abaviira nga tebannamutuusaako kabi konna.