Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Katonda Atwagaliza Bulamu bwa Ngeri Ki?

Katonda Atwagaliza Bulamu bwa Ngeri Ki?

BW’OSOMA empapula z’amawulire, bw’olaba ttivi, oba bw’owuliriza rediyo, olaba era owulira ebintu bingi ebikwata ku bikolwa eby’ettemu, entalo, n’ebikolwa eby’obutujju! Oboolyawo naawe olina ebizibu gamba ng’obulwadde, oba oyinza okuba ng’olina ennaku olw’okufiirwa omuntu wo.

Oyinza okuba nga weebuuza nti:

  • Kino Katonda kye yanjagaliza nze n’ab’omu maka gange?

  • Kiki ekiyinza okunnyamba okwaŋŋanga ebizibu bye nnina?

  • Ekiseera kirituuka ne wabaawo emirembe egya nnamaddala ku nsi?

Bayibuli eddamu ebibuuzo ebyo mu ngeri ematiza.

BAYIBULI EYIGIRIZA NTI KATONDA AJJA KUKOLA EBINTU BINO:

GANYULWA MU EBYO BAYIBULI BY’EYIGIRIZA

Kyangu okulowooza nti ebintu by’osomye ku mpapula ezivuddeko ez’akatabo kano birooto bulooto. Naye Katonda asuubizza okukola ebintu ebyo mu kiseera ekitali kya wala, era Bayibuli etunnyonnyola engeri gy’ajja okukikolamu.

Ate era Bayibuli etubuulira ekisobola okutuyamba okuba abasanyufu n’okuba n’obulamu obulungi mu kiseera kino. Kati lowooza ku bintu ebikweraliikiriza. Biyinza okuba nga bizingiramu obwavu, ebizibu by’omu maka, obulwadde, oba okufiirwa omuntu wo. Bayibuli esobola okukuyamba okwaŋŋanga ebizibu ebyo, era esobola okuddamu ebibuuzo nga bino:

Eky’okuba nti osoma akatabo kano kiraga nti oyagala okumanya ekyo Bayibuli ky’eyigiriza. Akatabo kano kajja kukuyamba. Weetegereze nti wansi ku buli lupapula waliwo ebibuuzo ebikwata ku buli katundu, era ebibuuzo ebyo bijja kukuyamba okutegeera obulungi Bayibuli. Abantu bukadde na bukadde banyumirwa okukubaganya ebirowoozo ku Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Tusuubira nti naawe ojja kunyumirwa. Tukwagaliza emikisa gya Katonda ng’oyiga ebyo ebiri mu Bayibuli!