Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA EY’OKUNA

Yesu Kristo y’Ani?

Yesu Kristo y’Ani?

1, 2. (a) Lwaki okumanya obumanya erinnya ly’omuntu omwatiikirivu kiba tekitegeeza nti omumanyi bulungi? (b) Ndowooza ki ez’enjawulo abantu ze balina ku Yesu?

WALIWO abantu abaatiikirivu bangi mu nsi. Oyinza okuba ng’omanyiiyo erinnya ly’omuntu omwatiikirivu. Naye eky’okuba nti omanyi erinnya lye kiba tekitegeeza nti omumanyi bulungi. Kiba tekitegeeza nti omanyi buli kintu kyonna ekikwata ku bulamu bwe n’embeera ze.

2 Oyinza okuba wali owuliddeko ebikwata ku Yesu Kristo wadde nga yali ku nsi emyaka nga 2,000 emabega. Naye abantu abasinga obungi tebamanyi bulungi bikwata ku Yesu. Abamu bagamba nti yali bubeezi muntu mulungi, abalala bagamba nti yali nnabbi, ate abalala bagamba nti ye Katonda. Ggwe omutwala otya?—Laba Ekyongerezeddwako Na. 12.

3. Lwaki kikulu okumanya Yakuwa ne Yesu Kristo?

3 Kikulu nnyo okumanya amazima agakwata ku Yesu. Lwaki? Bayibuli egamba nti: “Okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo, kibeetaagisa okukumanya ggwe Katonda omu ow’amazima n’oyo gwe watuma Yesu Kristo.” (Yokaana 17:3) Bw’omanya amazima agakwata ku Yakuwa ne Yesu, ojja kusobola okufuna obulamu obutaggwaawo mu lusuku lwa Katonda ku nsi. (Yokaana 14:6) Era ojja kuganyulwa nnyo bw’onoomanya ebikwata ku Yesu, kubanga ye yatuteerawo ekyokulabirako ekisingayo obulungi ku ngeri gye tulina okutambuzaamu obulamu bwaffe n’engeri gye tulina okuyisaamu abantu abalala. (Yokaana 13:34, 35) Mu Ssuula esooka, twayiga amazima agakwata ku Katonda. Kati tugenda kuyiga ekyo Bayibuli ky’eyigiriza ku Yesu.

TUZUDDE MASIYA!

4. Ebigambo “Masiya” ne “Kristo” bitegeeza ki?

4 Emyaka mingi nga Yesu tannazaalibwa, Yakuwa ng’ayitira mu Bayibuli yasuubiza nti yanditumye Masiya oba Kristo ku nsi. Ekigambo “Masiya” kyava mu lulimi Lwebbulaniya, ate kyo, ekigambo “Kristo” kyava mu Luyonaani. Ebitiibwa ebyo byombi bitegeeza “Eyafukibwako Amafuta.” Eyasuubizibwa oyo yandifukiddwako amafuta, kwe kugamba, Katonda yandimulonze n’amuwa obuvunaanyizibwa obw’enjawulo. Okuyitira mu Masiya oyo ebisuubizo bya Katonda byonna bijja kutuukirira. Ate era Yesu asobola okukuyamba mu kiseera kino. Kyokka Yesu bwe yali nga tannazaalibwa, abantu bangi beebuuzanga nti, ‘Ani aliba Masiya?’

5. Abayigirizwa ba Yesu baali bakkiriza nti Yesu ye Masiya?

5 Abayigirizwa ba Yesu tebaalina kubuusabuusa kwonna nti Yesu ye yali Masiya eyasuubizibwa. (Yokaana 1:41) Ng’ekyokulabirako, Simoni Peetero yagamba Yesu nti: “Ggwe Kristo.” (Matayo 16:16) Tuyinza tutya okuba abakakafu nti Yesu ye Masiya?

6. Yakuwa yayamba atya abantu abeesimbu okutegeera Masiya?

6 Emyaka mingi nga Yesu tannazaalibwa, bannabbi ba Katonda baawandiika ebintu bingi ebyandiyambye abantu okutegeera Masiya. Byandibayambye mu ngeri ki? Okuwaayo ekyokulabirako, ka tugambe nti ogambiddwa okugenda awasimba bbaasi okukima omuntu gw’otomanyi. Singa oyo aba akutumye akunnyonnyola omuntu oyo bw’afaanana, kiba kijja kukwanguyira okumutegeera. Mu ngeri y’emu, Yakuwa yayitira mu bannabbi okutegeeza abantu ebikwata ku ebyo Masiya bye yandikoze n’ebyo ebyandimutuuseeko. Okutuukirizibwa kw’obunnabbi obwo bwonna kuyamba abantu abeesimbu okutegeera nti Yesu ye Masiya.

7. Bunnabbi ki obw’emirundi ebiri obulaga nti Yesu ye Masiya?

7 Ka twetegereze obunnabbi bwa mirundi ebiri. Obusooka: Ng’ebulayo emyaka 700 Yesu azaalibwe, nnabbi Mikka yagamba nti Masiya yandizaaliddwa mu kabuga akayitibwa Besirekemu. (Mikka 5:2) Era eyo Yesu gye yazaalibwa! (Matayo 2:1, 3-9) Obw’okubiri: Danyeri yalagula nti Masiya yandirabise mu mwaka gwa 29 E.E. (Danyeri 9:25) Obwo bwe bumu ku bunnabbi obungi obulaga nti Yesu ye Masiya eyasuubizibwa.—Laba Ekyongerezeddwako Na. 13.

Yesu bwe yamala okubatizibwa, yafuuka Masiya oba Kristo

8, 9. Biki ebyaliwo nga Yesu yakabatizibwa ebikakasa nti ye Masiya?

8 Yakuwa yakiraga bulungi nti Yesu ye Masiya. Yasuubiza okuwa Yokaana Omubatiza akabonero akandimuyambye okutegeera Masiya. Yesu bwe yagenda eri Yokaana okubatizibwa mu Mugga Yoludaani mu mwaka ogwa 29 E.E., Yokaana yalaba akabonero ako. Bayibuli etubuulira ekyaliwo. Egamba nti: “Yesu bwe yamala okubatizibwa, amangu ago n’ava mu mazzi, era laba! eggulu ne libikkuka, n’alaba omwoyo gwa Katonda nga gumukkako nga gulinga ejjiba. Era eddoboozi okuva mu ggulu ne ligamba nti: ‘Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe nsiima.’” (Matayo 3:16, 17) Yokaana bwe yalaba akabonero ako era n’awulira ebigambo ebyo, yakitegeera nti Yesu ye yali Masiya. (Yokaana 1:32-34) Yakuwa bwe yafuka omwoyo gwe ku Yesu ku lunaku olwo, Yesu yafuuka Masiya. Y’oyo Katonda gwe yali alonze okubeera Omukulembeze era Kabaka.—Isaaya 55:4.

9 Obunnabbi bwa Bayibuli, ebigambo Yakuwa bye yayogera, n’akabonero ke yawa nga Yesu yaakabatizibwa, bikakasa nti Yesu ye Masiya. Naye Yesu yava wa, era yali muntu wa ngeri ki? Ka tulabe Bayibuli ky’egamba.

YESU YAVA WA?

10. Kiki Bayibuli ky’eyogera ku bulamu bwa Yesu nga tannajja ku nsi?

10 Bayibuli egamba nti Yesu yali mu ggulu okumala ekiseera kiwanvu nga tannajja ku nsi. Nnabbi Mikka yagamba nti Masiya yaliwo okuva “mu biseera eby’edda.” (Mikka 5:2) Emirundi mingi Yesu kennyini yagamba nti yali abeera mu ggulu nga tannaba kuzaalibwa ng’omuntu. (Soma Yokaana 3:13; 6:38, 62; 17:4, 5.) Ne bwe yali nga tannajja ku nsi, Yesu yalina enkolagana ey’enjawulo ne Katonda.

11. Lwaki Yesu wa muwendo nnyo eri Yakuwa?

11 Yesu wa muwendo nnyo eri Yakuwa. Lwaki? Kubanga Yakuwa yasooka kutonda Yesu nga tannatonda kintu kirala kyonna. Eyo ye nsonga lwaki Yesu ayitibwa “omubereberye w’ebitonde byonna.” * (Abakkolosaayi 1:15) Era Yesu wa muwendo nnyo eri Yakuwa olw’okuba ye yekka Yakuwa gwe yeetondera kennyini. Eyo ye nsonga lwaki ayitibwa ‘Omwana eyazaalibwa omu yekka.’ (Yokaana 3:16) Ate era Yesu ye yekka Yakuwa gwe yakozesa okutonda ebintu ebirala byonna. (Abakkolosaayi 1:16) Era Yesu ye yekka ayitibwa “Kigambo,” olw’okuba Yakuwa yamutuma okutwalira bamalayika n’abantu obubaka n’ebiragiro okuva gy’ali.—Yokaana 1:14.

12. Tumanya tutya nti Yesu si ye Katonda?

12 Abantu abamu balowooza nti Yesu ye Katonda, naye Bayibuli si bw’egamba. Bayibuli egamba nti Yesu yatondebwa, ekitegeeza nti alina entandikwa. Kyokka Yakuwa eyatonda ebintu byonna, talina ntandikwa. (Zabbuli 90:2) Yesu, Omwana wa Katonda, teyeetwalangako kuba Katonda. Bayibuli ekyoleka kaati nti Kitaffe asinga Omwana. (Soma Yokaana 14:28; 1 Abakkolinso 11:3.) Yakuwa yekka ye “Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna.” (Olubereberye 17:1) Yakuwa y’asingayo okuba ow’amaanyi era yasinga obuyinza.—Laba Ekyongerezeddwako Na. 14.

13. Lwaki Bayibuli eyita Yesu ‘ekifaananyi kya Katonda atalabika’?

13 Yakuwa n’Omwana we Yesu baakolera wamu okumala obuwumbi n’obuwumbi bw’emyaka ng’eggulu n’ensi tebinnatondebwa. Bateekwa okuba nga baali baagalana nnyo! (Yokaana 3:35; 14:31) Yesu yakoppera ddala engeri za Kitaawe. Eyo ye nsonga lwaki Bayibuli emuyita ‘ekifaananyi kya Katonda atalabika.’—Abakkolosaayi 1:15.

14. Omwana Yakuwa gw’ayagala ennyo, yatuuka atya okuzaalibwa ng’omuntu?

14 Omwana oyo Yakuwa gw’ayagala ennyo yakkiriza okuva mu ggulu azaalibwe ku nsi ng’omuntu. Ekyo kyasoboka kitya? Yakuwa yakola ekyamagero; yaddira obulamu bw’Omwana we oyo n’abuteeka mu lubuto lw’omuwala embeerera ayitibwa Maliyamu. N’olwekyo, Yesu teyalina kitaawe muntu. Bw’atyo Maliyamu yazaala omwana atuukiridde era n’amutuuma Yesu.—Lukka 1:30-35.

YESU YALI MUNTU WA NGERI KI?

15. Oyinza otya okutegeera obulungi Yakuwa?

15 Osobola okumanya ebintu bingi ebikwata ku Yesu ng’osoma ebyo ebiri mu kitabo kya Matayo, ekya Makko, ekya Lukka, n’ekya Yokaana. Ebitabo ebyo biyitibwa Enjiri. Olw’okuba Yesu alinga Kitaawe, ebyo by’onoosoma ku Yesu bijja kukuyamba okutegeera obulungi Yakuwa. Eyo ye nsonga lwaki Yesu yagamba nti: “Buli aba andabye aba alabye ne Kitange.”—Yokaana 14:9.

16. Ekimu ku bintu ebikulu ennyo Yesu bye yayigiriza kye kiruwa, era bye yayigiriza byava eri ani?

16 Abantu bangi baayitanga Yesu “Omuyigiriza.” (Yokaana 1:38; 13:13) Ekimu ku bintu ebikulu ennyo bye yayigiriza ge ‘mawulire amalungi ag’Obwakabaka.’ Obwakabaka obwo kye ki? Ye gavumenti ya Katonda ejja okufuga ensi yonna ng’esinziira mu ggulu, era ejja okukolera abantu abagondera Katonda ebintu ebirungi. (Matayo 4:23) Ebintu byonna Yesu bye yayigiriza byava eri Yakuwa. Yesu yagamba nti: “Bye njigiriza si byange, naye by’oyo eyantuma.” (Yokaana 7:16) Yesu yali akimanyi nti Yakuwa ayagala abantu bawulire amawulire amalungi nti Obwakabaka bwa Katonda bujja kufuga ensi yonna.

17. Yesu yayigiririzanga mu bifo ki, era lwaki yali munyiikivu nnyo mu kuyigiriza abantu?

17 Yesu yayigiririzanga mu bifo ki? Yayigiririzanga mu bifo byonna we yasanganga abantu. Yayigiririzanga mu byalo, mu bibuga, mu butale, mu bifo ebisinzizibwamu, ne mu maka g’abantu. Teyalindanga bantu kujja gy’ali, wabula emirundi egisinga obungi ye yagendanga gye bali. (Makko 6:56; Lukka 19:5, 6) Yesu yali munyiikivu nnyo era yamalanga ebiseera bingi ng’ayigiriza abantu. Lwaki? Olw’okuba yali akimanyi nti ekyo Katonda kye yali ayagala akole, era olw’okuba yali muwulize eri Kitaawe. (Yokaana 8:28, 29) Ate era Yesu yali munyiikivu mu kubuulira olw’okuba yasaasiranga abantu. (Soma Matayo 9:35, 36.) Yali akiraba nti abakulembeze b’amadiini baali tebayigiriza bantu mazima agakwata ku Katonda n’Obwakabaka bwe. N’olwekyo, Yesu yali ayagala okuyamba abantu bangi nga bwe kisoboka okuwulira amawulire amalungi.

18. Ngeri ki eza Yesu z’osinga okwagala?

18 Yesu yali ayagala nnyo abantu era ng’abafaako. Yali wa kisa era ng’atuukirikika. N’abaana abato baayagalanga nnyo okubeera w’ali. (Makko 10:13-16) Yesu yali tasosola. Yali tayagala bulyi bwa nguzi n’obutali bwenkanya. (Matayo 21:12, 13) Mu kiseera kye, abakazi baalinga banyigirizibwa era nga tebaweebwa kitiibwa. Naye Yesu yawanga abakazi ekitiibwa era yabayisanga bulungi. (Yokaana 4:9, 27) Ate era Yesu yali mwetoowaze nnyo. Ng’ekyokulabirako, lumu yanaaza ebigere by’abatume be, ekintu ekyakolebwanga abaweereza.—Yokaana 13:2-5, 12-17.

Yesu yabuuliranga abantu wonna we yabasanganga

19. Kyakulabirako ki ekiraga nti Yesu yali amanyi bulungi abantu bye baali beetaaga era nti yali ayagala okubayamba?

19 Yesu yali amanyi bulungi abantu bye baali beetaaga, era yali ayagala okubayamba. Ekyo kyeyolekanga bulungi bwe yakozesanga amaanyi ga Katonda okuwonya abantu. (Matayo 14:14) Ng’ekyokulabirako, omusajja eyalina ebigenge yajja eri Yesu n’amugamba nti: “Bw’oba oyagala, osobola okunfuula omulongoofu.” Yesu yakwatibwako nnyo olw’okuba omusajja oyo yali mu bulumi era ng’abonaabona. Yamusaasira era yayagala okumuyamba, kyeyava agolola omukono gwe n’akwata ku musajja oyo, n’amugamba nti: “Njagala! Fuuka mulongoofu.” Awo omusajja oyo n’awona! (Makko 1:40-42) Oyinza okuteebereza essanyu omusajja oyo lye yawulira?

YASIGALA MWESIGWA ERI KITAAWE

20, 21. Yesu yatuteerawo atya ekyokulabirako ekisingayo obulungi mu kwoleka obuwulize eri Katonda?

20 Yesu yatuteerawo ekyokulabirako ekisingayo obulungi mu kwoleka obuwulize eri Katonda. Embeera ne bwe yabanga etya oba abantu ne bwe baamuyisanga batya, yasigala mwesigwa eri Kitaawe. Ng’ekyokulabirako, Yesu teyayonoona ne bwe yakemebwa Sitaani. (Matayo 4:1-11) Abamu ku b’eŋŋanda za Yesu baali tebakkiriza nti ye Masiya era baagamba nti yali “atabuse omutwe,” naye Yesu yeeyongera okukola omulimu gwa Katonda. (Makko 3:21) Abalabe be bwe baamubonyaabonya, Yesu yasigala mwesigwa eri Katonda era teyagezaako kubeesasuza.—1 Peetero 2:21-23.

21 Yesu yasigala mwesigwa eri Yakuwa ne bwe yabonyaabonyezebwa ennyo era n’attibwa mu ngeri ey’obukambwe. (Soma Abafiripi 2:8.) Tebeerezaamu ebyo bye yayolekagana nabyo ku lunaku lwe yattibwa. Yakwatibwa, abajulizi ab’obulimba baamulumiriza nti yavvoola, abalamuzi abaalimu kyekubiira baamusingisa omusango, abantu baamusekerera, era abasirikale baamutulugunya ne bamukomerera ku muti. Bwe yali afa yagamba nti: “Kiwedde!” (Yokaana 19:30) Nga wayiseewo ennaku ssatu, Yakuwa yazuukiza Yesu n’amuwa omubiri ogw’omwoyo. (1 Peetero 3:18) Oluvannyuma lwa wiiki ntono, Yesu yaddayo mu ggulu, ‘n’atuula ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo,’ era n’alinda Katonda amufuule Kabaka.—Abebbulaniya 10:12, 13.

22. Ssuubi ki lye tulina olw’okuba Yesu yasigala nga mwesigwa eri Kitaawe?

22 Olw’okuba Yesu yasigala nga mwesigwa eri Kitaawe, kati tulina essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo mu lusuku lwa Katonda ku nsi, ng’ekigendererwa kya Yakuwa bwe kyali okuva ku lubereberye. Mu ssuula eddako, tujja kulaba engeri okufa kwa Yesu gye kutusobozesa okuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo.

^ lup. 11 Yakuwa ayitibwa Kitaffe olw’okuba ye yatutonda. (Isaaya 64:8) Yesu ayitibwa Mwana wa Katonda olw’okuba Yakuwa ye yamutonda. Bamalayika ne Adamu, nabo bayitibwa baana ba Katonda.Yobu 1:6; Lukka 3:38.