Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA EY’OMUNAANA

Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?

Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?

1. Ssaala ki emanyiddwa ennyo gye tugenda okwekenneenya?

ABANTU bukadde na bukadde bamanyi essaala eyitibwa eya Kitaffe Ali mu Ggulu. Yesu yakozesa essaala eyo okuyigiriza abayigirizwa be okusaba. Biki ebiri mu ssaala eyo, era lwaki essaala eyo ya makulu nnyo gye tuli leero?

2. Bintu ki ebisatu ebikulu ennyo Yesu bye yatuyigiriza okusaba?

2 Yesu yagamba nti: “Kale musabenga bwe muti: ‘Kitaffe ali mu ggulu, erinnya lyo litukuzibwe. Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.’” (Soma Matayo 6:9-13.) Lwaki Yesu yatuyigiriza okusaba ebintu ebyo ebisatu?—Laba Ekyongerezeddwako Na. 20.

3. Biki bye twetaaga okumanya ku Bwakabaka bwa Katonda?

3 Twayiga nti erinnya lya Katonda ye Yakuwa. Ate era twayiga ne ku kigendererwa kye yalina okutonda abantu n’ensi. Naye Yesu yali ategeeza ki bwe yagamba nti: “Obwakabaka bwo bujje”? Mu ssuula eno, tugenda kuyiga Obwakabaka bwa Katonda kye buli, kye bunaakola, era n’engeri gye bunaatukuzaamu erinnya lya Katonda.

OBWAKABAKA BWA KATONDA KYE KI?

4. Obwakabaka bwa Katonda kye ki, era Kabaka waabwo y’ani?

4 Yakuwa yassaawo gavumenti mu ggulu era n’alonda Yesu okuba Kabaka mu gavumenti eyo. Gavumenti eyo Bayibuli egiyita Obwakabaka bwa Katonda. Yesu ye “Kabaka w’abo abafuga nga bakabaka era Mukama w’abo abafuga ng’abaami.” (1 Timoseewo 6:15) Yesu asobola okukolera abantu ebintu ebirungi bingi okusinga omufuzi omulala yenna eyali abaddewo ku nsi, era wa maanyi okusinga abafuzi bonna ng’obagasse wamu.

5. Obwakabaka bwa Katonda bunaasinziira wa okufuga, era bunaafuga ki?

5 Nga wayise ennaku 40 ng’amaze okuzuukizibwa, Yesu yaddayo mu ggulu. Oluvannyuma lw’ekiseera, Yakuwa yamukwasa obuvunaanyizibwa obw’okufuga nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda. (Ebikolwa 2:33) Gavumenti ya Katonda eyo ejja kufuga ensi ng’esinziira mu ggulu. (Okubikkulirwa 11:15) Eyo ye nsonga lwaki Obwakabaka bwa Katonda Bayibuli ebuyita ‘Obwakabaka obw’omu ggulu.’—2 Timoseewo 4:18.

6, 7. Biki ebifuula Yesu okuba kabaka omulungi ennyo okusinga abalala bonna?

6 Bayibuli egamba nti Yesu asingira wala bakabaka abalala bonna kubanga ye “yekka atayinza kufa.” (1 Timoseewo 6:16) Abafuzi bonna bamala ne bafa, naye ye talifa. Ebirungi byonna Yesu by’anaakolera abantu bijja kuba bya lubeerera.

7 Obunnabbi bwa Bayibuli bulaga nti Yesu ajja kuba Kabaka mwenkanya era musaasizi. Bayibuli egamba nti: “Omwoyo gwa Yakuwa gulimubeerako, omwoyo gw’amagezi era ogw’okutegeera, omwoyo gw’okubuulirira era ogw’amaanyi, omwoyo gw’okumanya era ogw’okutya Yakuwa. Alifuna essanyu mu kutya Yakuwa. Talisala musango ng’asinziira ku ebyo amaaso ge bye galaba, so talinenya ng’asinziira ku ebyo amatu ge bye gawulira. Aliramula abanaku [oba, abaavu] mu bwenkanya.” (Isaaya 11:2-4) Tewandyagadde kufugibwa kabaka ng’oyo?

8. Tutegeerera ku ki nti Yesu tajja kufuga yekka?

8 Waliwo abantu Katonda b’alonze okufugira awamu ne Yesu mu gavumenti ey’omu ggulu. Ng’ekyokulabirako, omutume Pawulo yagamba Timoseewo nti: “Bwe tugumiikiriza, tujja kufugira wamu naye nga bakabaka.” (2 Timoseewo 2:12) Abo abanaafuga ne Yesu nga bakabaka bali bameka?

9. Abanaafuga ne Yesu bali bameka, era Katonda yatandika ddi okubalonda?

9 Nga bwe twayiga mu Ssuula ey’omusanvu, omutume Yokaana yafuna okwolesebwa n’alaba Yesu ng’afuga nga Kabaka mu ggulu ng’ali wamu ne bakabaka abalala 144,000. Bakabaka abo 144,000 be baani? Yokaana agamba nti ‘bawandiikiddwako erinnya lya Yesu n’erya Kitaawe ku byenyi byabwe.’ Ate era agattako nti: “Bano be bagoberera Omwana gw’Endiga [Yesu] buli gy’alaga. Baagulibwa mu bantu.” (Soma Okubikkulirwa 14:1, 4.) Abantu bano 144,000 Bakristaayo abeesigwa Katonda b’alonze ‘okufuga ensi nga bakabaka’ nga bali wamu ne Yesu. Bwe bafa, bazuukizibwa ne bagenda mu ggulu. (Okubikkulirwa 5:10) Okuviira ddala mu kiseera ky’abatume, Yakuwa azze alonda Abakristaayo abeesigwa abatali bamu okuweza omuwendo ogwo ogwa bakabaka 144,000.

10. Lwaki abantu okuba nti bagenda kufugibwa Yesu ng’ali wamu ne 144,000 kiraga nti Yakuwa atwagala nnyo?

10 Olw’okuba Yakuwa atwagala nnyo, abo abagenda okufuga ne Yesu abalonze mu bantu wano ku nsi. Yesu ajja kuba mufuzi mulungi nnyo olw’okuba atutegeera bulungi. Yali abaddeko omuntu era yabonaabonako. Pawulo yagamba nti Yesu asobola ‘okutulumirirwa mu bunafu bwaffe,’ era “agezeseddwa mu byonna nga ffe.” (Abebbulaniya 4:15; 5:8) N’abo 144,000 abagenda okufuga naye, nabo bayise mu mbeera abantu gye bayitamu. Nabo baaliko abantu abatatuukiridde era baalwalako endwadde ezitali zimu. N’olwekyo, tusobola okuba abakakafu nti Yesu n’abo 144,000 abagenda okufuga naye bajja kuba bategeera bulungi embeera yaffe n’ebizibu byaffe.

OBWAKABAKA BWA KATONDA BUNAAKOLA KI?

11. Katonda by’ayagala bibaddenga bikolebwa mu ggulu ekiseera kyonna?

11 Yesu bwe yagamba abayigirizwa be okusaba Obwakabaka bwa Katonda bujje, era yabagamba n’okusaba nti Katonda by’ayagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu. Katonda by’ayagala bibaddenga bikolebwa mu ggulu ekiseera kyonna? Nedda. Twayiga mu Ssuula ey’okusatu nti Sitaani Omulyolyomi yajeemera Yakuwa. Sitaani bwe yajeema, Yakuwa yaleka Sitaani ne bamalayika abataali beesigwa, oba badayimooni, okubeera mu ggulu okumala ekiseera. N’olwekyo, si bonna abaali mu ggulu mu kiseera ekyo nti baali bakola Katonda by’ayagala. Mu Ssuula ey’ekkumi tujja kuyiga ebisingawo ebikwata ku Sitaani ne badayimooni.

12. Bintu ki ebibiri ebikulu ennyo ebyali eby’okubaawo ebyogerwako mu Okubikkulirwa 12:10?

12 Bayibuli eraga nti Yesu olwandifuuliddwa Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda yandirwanyisizza Sitaani. (Soma Okubikkulirwa 12:7-10.) Olunyiriri 10 lwogera ku bintu bibiri ebikulu ennyo ebyandibaddewo. Obwakabaka bwa Katonda bwali bwa kutandika okufuga nga Yesu Kristo ye Kabaka waabwo, ne Sitaani yali wa kugobebwa mu ggulu asuulibwe ku nsi. Nga bwe tunaalaba, ebintu bino byamala dda okubaawo.

13. Kiki ekyaliwo mu ggulu oluvannyuma lwa Sitaani okugobebwayo?

13 Bayibuli eyogera ku ssanyu bamalayika abeesigwa lye baafuna oluvannyuma lwa Sitaani ne badayimooni okugobebwa mu ggulu. Egamba nti: “Musanyuke mmwe eggulu nammwe abalibeeramu!” (Okubikkulirwa 12:12) Kati mu ggulu waliyo emirembe n’obumu mu bujjuvu olw’okuba bonna abaliyo bakola Katonda by’ayagala.

Okuva Sitaani ne badayimooni lwe baagobebwa mu ggulu, wabaddewo okubonaabona ku nsi, naye kunaatera okuggwaawo

14. Mbeera ki eziriwo ku nsi olw’okuba Sitaani yagobebwa mu ggulu?

14 Naye embeera eri ku nsi ya njawulo nnyo. Ebintu ebibi ennyo bitutuukako ‘kubanga Omulyolyomi yakka gye tuli ng’alina obusungu bungi, ng’amanyi nti alina akaseera katono.’ (Okubikkulirwa 12:12) Sitaani musunguwavu nnyo. Yagobebwa mu ggulu, era akimanyi nti anaatera okuzikirizibwa. Kati akola kyonna ky’asobola okuleetera abantu mu nsi yonna ennaku, obulumi, n’okubonaabona.

15. Ekigendererwa Katonda kye yalina okutonda ensi kye kiruwa?

15 Naye ekigendererwa Katonda kye yalina okutonda ensi tekikyukanga. Ayagala ensi ebeereko abantu abatuukiridde emirembe gyonna. (Zabbuli 37:29) Kati olwo Obwakabaka bwa Katonda bunaasobozesa butya ekyo okubaawo?

16, 17. Obunnabbi obuli mu Danyeri 2:44 bututegeeza ki ku Bwakabaka bwa Katonda?

16 Obunnabbi obuli mu Danyeri 2:44 bugamba nti: “Mu biseera bya bakabaka abo, Katonda w’eggulu alissaawo obwakabaka obutalizikirizibwa. Obwakabaka buno tebuliweebwa ggwanga ddala lyonna. Bulibetenta era bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna, era bwo bwokka bwe bulibeerawo emirembe n’emirembe.” Obunnabbi buno butulaga ki ku Bwakabaka bwa Katonda?

17 Okusookera ddala, butulaga nti Obwakabaka bwa Katonda bwanditandise okufuga “mu biseera bya bakabaka abo.” Kino kitegeeza nti Obwakabaka bwa Katonda bwanditandise okufuga nga gavumenti z’abantu zikyaliwo ku nsi. Eky’okubiri, butulaga nti Obwakabaka bwa Katonda bwa kubeerawo emirembe gyonna era nti tewajja kubaawo gavumenti edda mu kifo kyabwo. N’eky’okusatu, wajja kubaawo olutalo wakati w’Obwakabaka bwa Katonda ne gavumenti eziriwo ku nsi. Obwakabaka bwa Katonda bwe bujja okuwangula bube nga ye gavumenti yokka efuga ensi yonna. Ebyo bwe binaamala okubaawo, abantu bajja kufugibwa gavumenti esingayo obulungi.

18. Olutalo olunaabaawo wakati w’Obwakabaka bwa Katonda ne gavumenti z’abantu luyitibwa lutya?

18 Kiki ekinaabaawo ng’olutalo wakati w’Obwakabaka bwa Katonda ne gavumenti z’abantu terunnabaawo? Badayimooni bajja kulimbalimba “bakabaka b’ensi yonna, okubakuŋŋaanya awamu balwane olutalo olujja okubaawo ku lunaku olukulu olwa Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna.” Gavumenti z’abantu zijja kulwanyisa Obwakabaka bwa Katonda. Olutalo olwo olunaasembayo luyitibwa Amagedoni.—Okubikkulirwa 16:14, 16; laba Ekyongerezeddwako Na. 10.

19, 20. Lwaki twetaaga Obwakabaka bwa Katonda?

19 Lwaki twetaaga Obwakabaka bwa Katonda? Lwa nsonga nga ssatu. Ensonga esooka eri nti tuli boonoonyi, era ekyo kye kituviirako okulwala n’okufa. Naye Bayibuli egamba nti bwe tunaaba tufugibwa Obwakabaka bwa Katonda tujja kubeerawo emirembe gyonna. Mu butuufu, Yokaana 3:16 wagamba nti: “Katonda yayagala nnyo ensi n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiririzaamu aleme okuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo.”

20 Ensonga ey’okubiri lwaki twetaaga Obwakabaka bwa Katonda eri nti twetooloddwa abantu ababi ennyo. Abantu bangi babbi, balimba, era bagwenyufu. Ffe tetusobola kubaggyawo, naye Katonda ajja kubaggyawo. Abantu abakola ebintu ebibi bajja kuzikirizibwa ku Amagedoni. (Soma Zabbuli 37:10.) Ensonga ey’okusatu lwaki twetaaga Obwakabaka bwa Katonda eri nti gavumenti z’abantu tezifuga bulungi; abafuzi baazo bakambwe, era si benkanya. Tezifaayo kuyamba bantu kukola Katonda by’ayagala. Bayibuli egamba nti ‘omuntu abadde n’obuyinza ku munne n’amuyisa bubi.’—Omubuulizi 8:9.

21. Obwakabaka bwa Katonda bunaasobozesa butya ebyo Katonda by’ayagala okukolebwa ku nsi?

21 Olutalo Amagedoni bwe lunaggwa, Obwakabaka bwa Katonda bujja kusobozesa Katonda by’ayagala okukolebwa ku nsi. Ng’ekyokulabirako, bujja kuggyawo Sitaani ne badayimooni. (Okubikkulirwa 20:1-3) N’ekinaavaamu, abantu bajja kuba tebakyalwala wadde okufa. Ekinunulo kijja kusobozesa abantu bonna abeesigwa okubeera abalamu emirembe gyonna mu Lusuku lwa Katonda. (Okubikkulirwa 22:1-3) Obwakabaka bwa Katonda bujja kutukuza erinnya lya Katonda. Ekyo kitegeeza ki? Kitegeeza nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bunaaba bufuga ensi, abantu bonna bajja kuwa erinnya lya Yakuwa ekitiibwa.—Laba Ekyongerezeddwako Na. 21.

YESU YAFUUKA DDI KABAKA?

22. Tumanya tutya nti Yesu teyafuuka Kabaka ng’ali wano ku nsi oba amangu ddala nga yaakazuukizibwa?

22 Yesu yayigiriza abayigirizwa be okusaba nti: “Obwakabaka bwo bujje.” N’olwekyo, kyeyoleka kaati nti gavumenti ya Katonda yali ya kujja mu biseera bya mu maaso. Yakuwa yali alina okusooka okussaawo gavumenti eyo era n’okufuula Yesu Kabaka. Yesu yafuulibwa Kabaka amangu ddala nga yaakaddayo mu ggulu? Nedda, yali alina okusooka okulinda. Oluvannyuma lw’ekiseera nga Yesu amaze okuzuukizibwa, Peetero ne Pawulo baakiraga bulungi nti obunnabbi obuli mu Zabbuli 110:1 bwali bukwata ku Yesu. Mu bunnabbi obwo Yakuwa agamba nti: “Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, okutuusa lwe ndifuula abalabe bo ng’entebe y’ebigere byo.” (Ebikolwa 2:32-35; Abebbulaniya 10:12, 13) Yesu yandirindiridde kumala bbanga ki Yakuwa alyoke amufuule Kabaka?

Obwakabaka bwa Katonda bujja kusobozesa Katonda by’ayagala okukolebwa ku nsi

23. (a) Yesu yatandika ddi okufuga nga Kabaka? (b) Kiki kye tujja okulaba mu ssuula eddako?

23 Ng’omwaka 1914 tegunnatuuka, waaliwo Abakristaayo abatonotono abeesimbu abaali baamala edda okukitegeera nti omwaka ogwo gwandibadde mukulu nnyo mu kutuukirizibwa kw’obunnabbi bwa Bayibuli. Ebibaddewo mu nsi okuva mu 1914 biraga nti baali batuufu. Yesu yatandika okufuga nga Kabaka mu mwaka ogwo. (Zabbuli 110:2) Amangu ddala nga Yesu yaakafuuka Kabaka, Sitaani yasuulibwa ku nsi, era kati “alina akaseera katono.” (Okubikkulirwa 12:12) Mu ssuula eddako, tujja kulaba ebintu ebirala ebiraga nti tuli mu kaseera ako. Ate era tujja kulaba nti mu kiseera ekitali kya wala, Obwakabaka bwa Katonda bujja kusobozesa Katonda by’ayagala okukolebwa ku nsi.—Laba Ekyongerezeddwako Na. 22.