Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA EY’OMWENDA

Enkomerero Eri Kumpi?

Enkomerero Eri Kumpi?

1. Tusobola tutya okumanya ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso?

WALI olabyeko amawulire ku ttivi ne weebuuza nti, ‘Ensi eno eraga wa?’ Ensi erimu ebintu ebinakuwaza bingi n’ebikolwa eby’obukambwe, era kino kireetedde abantu abamu okugamba nti enkomerero eteekwa okuba ng’eri kumpi. Olowooza ekyo kituufu? Waliwo engeri yonna gye tuyinza okumanyaamu ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso? Yee. Wadde ng’abantu tebasobola kutubuulira binaabaawo mu biseera eby’omu maaso, Yakuwa Katonda ye asobola. Okuyitira mu Bayibuli, atutegeeza ebikwata ku biseera eby’omu maaso.—Isaaya 46:10; Yakobo 4:14.

2, 3. Kiki abayigirizwa ba Yesu kye baali baagala okumanya, era Yesu yabaddamu atya?

2 Bayibuli bw’eba eyogera ku nkomerero, eba tetegeeza nkomerero ya nsi eno kwe tuli, wabula eba etegeeza nkomerero y’ebintu ebibi byonna. Yesu yayigiriza abantu nti Obwakabaka bwa Katonda bujja kufuga ensi eno. (Lukka 4:43) Abayigirizwa be baali baagala okumanya ddi Obwakabaka bwa Katonda lwe bwandizze, era baamubuuza nti: “Ebintu ebyo biribaawo ddi, era kabonero ki akaliraga okubeerawo kwo, n’amafundikira g’enteekateeka y’ebintu?” (Matayo 24:3) Yesu teyababuulira lunaku lwennyini lwe bwandizze, naye yababuulira ebyandibaddewo ng’enkomerero eneetera okutuuka. Ebyo Yesu bye yagamba nti byandibaddewo, bye biriwo kati.

3 Mu ssuula eno tugenda kulaba obukakafu obulaga nti enkomerero eneetera okutuuka. Naye twetaaga okusooka okumanya ebikwata ku lutalo olwaliwo mu ggulu. Ekyo kijja kutuyamba okumanya ensonga lwaki embeera mbi nnyo leero ku nsi.

OLUTALO MU GGULU

4, 5. (a) Kiki ekyaliwo mu ggulu amangu ddala nga Yesu yaakafuuka Kabaka? (b) Okusinziira ku Okubikkulirwa 12:12, kiki ekyandibaddewo nga Sitaani asuuliddwa ku nsi?

4 Mu Ssuula ey’omunaana twalaba nti Yesu yafuuka Kabaka mu ggulu mu 1914. (Danyeri 7:13, 14) Ekitabo ky’Okubikkulirwa kitutegeeza ebyaliwo. Kigamba nti: “Ne wabaawo olutalo mu ggulu: Mikayiri [ng’ono ye Yesu] ne bamalayika be ne balwana n’ogusota [ng’ono ye Sitaani], n’ogusota nagwo ne gubalwanyisa nga guli wamu ne bamalayika baagwo.” * Sitaani ne badayimooni baawangulwa era ne basuulibwa ku nsi. Lowooza ku ssanyu bamalayika lye baawulira! Ate bo abantu ku nsi bandibadde mu mbeera ki? Bayibuli egamba nti abantu bandibadde mu mbeera mbi nnyo. Lwaki? Kubanga Omulyolyomi alina obusungu bungi, olw’okuba ‘amanyi nti alina akaseera katono.’—Okubikkulirwa 12:7, 9, 12.

5 Omulyolyomi aleese ebizibu bingi nnyo ku nsi. Musunguwavu nnyo olw’okuba amanyi nti asigazza “akaseera katono” Katonda amuggyewo. Ka tulabe ebyo Yesu bye yagamba nti bye byandibaddewo mu nnaku ez’enkomerero.—Laba Ekyongerezeddwako Na. 24.

ENNAKU EZ’ENKOMERERO

6, 7. Ebigambo bya Yesu ebikwata ku ntalo n’enjala bituukiriziddwa bitya leero?

6 Entalo. Yesu yagamba nti: “Eggwanga lirirumba eggwanga, n’obwakabaka bulirumba obwakabaka.” (Matayo 24:7) Ekiseera kyaffe kye kisinze okufiiramu abantu mu ntalo. Alipoota emu eyafulumizibwa ekitongole ekyekenneenya ebintu ebibaawo mu nsi yalaga nti okuva mu 1914, abantu abasoba mu bukadde 100 be bafiiridde mu ntalo. Abantu abaafiira mu ntalo mu kyasa ky’amakumi abiri bakubisaamu emirundi esatu abo abaafiira mu ntalo zonna ezaaliwo mu byasa 19 ebyali biyiseewo. Tebeerezaamu obulumi n’ennaku obukadde n’obukadde bw’abantu bye bayiseemu olw’entalo!

7 Enjala. Yesu yagamba nti: “Walibaawo enjala.” (Matayo 24:7) Wadde nga waliwo emmere nnyingi nnyo leero okusinga bwe kyali kibadde, abantu bangi tebafuna mmere ebamala. Lwaki? Olw’okuba tebalina ssente zimala kugula mmere oba ettaka aw’okugirima. Abantu abasukka mu kawumbi ssente ze bakozesa okwebeezaawo teziwera na doola emu olunaku. Ekitongole eky’eby’obulamu eky’ensi yonna kigamba nti abaana bukadde na bukadde bafa buli mwaka olw’obutafuna mmere emala.

8, 9. Kiki ekiraga nti Yesu bye yayogera ku musisi n’endwadde bituukiridde?

8 Musisi. Yesu yagamba nti: “Walibaawo musisi ow’amaanyi.” (Lukka 21:11) Buli mwaka musisi ow’amaanyi aba asuubirwa okuyita. Okuva mu mwaka 1900, abantu abasukka mu bukadde bubiri be bafudde olwa musisi. Wadde nga leero waliwo ebyuma ebiyamba bannassayansi okukitegeera amangu nti musisi agenda kuyita, musisi akyata abantu bangi.

9 Endwadde. Yesu yagamba nti wandibaddewo ‘endwadde ez’amaanyi.’ Endwadde ez’akabi zandisaasaanye nnyo ne zitta abantu bangi. (Lukka 21:11) Wadde nga kati abasawo basobola okujjanjaba endwadde nnyingi, waliwo endwadde ze batasobola kuwonya. Mu butuufu, alipoota emu yakiraga nti endwadde gamba ng’ey’akafuba, eya kkolera, n’omusujja gw’ensiri, zitta abantu bukadde na bukadde buli mwaka. Waliyo n’endwadde endala empya nga 30 abasawo ze bazudde ate ng’ezimu ku zo tezirina na ddagala.

ENGERI ABANTU GYE BANDYEYISIZZAAMU MU NNAKU EZ’ENKOMERERO

10. Ebyo ebiri mu 2 Timoseewo 3:1-5 bituukirizibwa bitya leero?

10 Mu 2 Timoseewo 3:1-5, Bayibuli egamba nti: “Mu nnaku ez’enkomerero, ebiseera biriba bizibu nnyo.” Omutume Pawulo yayogera ku ngeri abantu bangi gye bandibadde beeyisaamu mu nnaku ez’enkomerero. Yagamba nti abantu bandibadde . . .

  • beeyagala bokka

  • baagala nnyo ssente

  • tebagondera bazadde baabwe

  • si beesigwa

  • tebaagala ba luganda

  • tebeefuga

  • bakambwe

  • baagala eby’amasanyu okusinga Katonda

  • bawa ekifaananyi nti beemalidde ku Katonda naye nga bye bakola tebiraga nti bamwemaliddeko

11. Okusinziira ku Zabbuli 92:7, kiki ekinaatuuka ku bantu ababi?

11 Abantu bangi beeyisa bwe batyo mu kitundu ky’olimu? Okwetooloola ensi yonna, abantu bangi bwe batyo bwe beeyisa. Naye Katonda anaatera okubaako ky’akolawo. Agamba nti: ‘Ababi bwe bameruka ng’omuddo, n’abakozi b’ebibi ne baala, ekyo kiba bwe kityo balyoke bazikirizibwe.’—Zabbuli 92:7.

AMAWULIRE AMALUNGI MU NNAKU EZ’ENKOMERERO

12, 13. Biki Yakuwa by’atuyambye okutegeera mu nnaku zino ez’enkomerero?

12 Bayibuli egamba nti ng’oggyeeko obulumi n’okubonaabona ebyandibaddewo mu nsi mu nnaku ez’enkomerero, wandibaddewo n’ebintu ebirungi.

“Amawulire gano amalungi ag’Obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna.”Matayo 24:14

13 Okutegeera Bayibuli. Nnabbi Danyeri alina bye yawandiika ebikwata ku nnaku ez’enkomerero. Yagamba nti: “Okumanya okutuufu kulyeyongera.” (Danyeri 12:4) Katonda yandiyambye abantu be okweyongera okutegeera obulungi Bayibuli. Ekyo Yakuwa ky’azze akola naddala okuva mu 1914. Ng’ekyokulabirako, atuyambye okutegeera amazima agakwata ku linnya lye, ku kigendererwa kye yalina okutonda ensi, ku kinunulo, ku mbeera y’abafu, ne ku kuzuukira. Kati tukimanyi bulungi nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obusobola okugonjoola ebizibu byaffe byonna. Ate era tumanyi ekisobola okutuyamba okuba abasanyufu ne bye tusaanidde okukola okusobola okusanyusa Katonda. Naye abaweereza ba Katonda bakozeewo ki bwe bategedde ebintu ebyo? Obunnabbi obulala butuyamba okufuna eky’okuddamu.—Laba Ekyongerezeddwako Na. 21 ne 25.

14. Amawulire amalungi ag’Obwakabaka gabuulirwa mu nsi mmeka, era baani abagabuulira?

14 Omulimu gw’okubuulira mu nsi yonna. Bwe yali ayogera ku nnaku ez’enkomerero, Yesu yagamba nti: “Amawulire gano amalungi ag’Obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna.” (Matayo 24:3, 14) Amawulire amalungi ag’Obwakabaka kati gabuulirwa mu nsi ezisukka mu 230, era gabuulirwa mu nnimi ezisukka mu 700. Mu butuufu, Abajulirwa ba Yakuwa okuva mu “buli ggwanga n’ebika” bayigiriza abantu mu nsi yonna ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda awamu n’ebyo bye bunaakolera abantu. (Okubikkulirwa 7:9) Ekyo bakikola awatali kusasuza bantu ssente. Wadde ng’abantu bangi tebabaagala era nga babayigganya nga Yesu bwe yalagula, tewali kiyinza kubalemesa kubuulira.—Lukka 21:17.

GGWE ONOOKOLA KI?

15. (a) Okikkiriza nti tuli mu nnaku ez’enkomerero, era lwaki oddamu bw’otyo? (b) Kiki ekinaatuuka ku abo abatagondera Yakuwa, ate abo abamugondera balina ssuubi ki?

15 Okikkiriza nti tuli mu nnaku ez’enkomerero? Waliwo obunnabbi bungi obukwata ku nnaku ez’enkomerero obutuukiridde. Mu kiseera ekitali kya wala, Yakuwa ajja kulagira abaweereza be balekere awo okubuulira amawulire amalungi, era “enkomerero” ejja kuba etuuse. (Matayo 24:14) Enkomerero kye ki? Ye Amagedoni, ekiseera Katonda lw’ajja okuggyawo ebintu ebibi byonna. Yakuwa ajja kukozesa Yesu ne bamalayika be ab’amaanyi okuzikiriza abo abagaanye okumugondera n’okugondera Omwana we. (2 Abassessalonika 1:6-9) Oluvannyuma lw’ekyo, Sitaani ne badayimooni bajja kuba tebakyasobola kubuzaabuza bantu. Abo bonna abagondera Katonda era abawagira Obwakabaka bwe bajja kulaba ebyo byonna Katonda bye yasuubiza nga bituukirizibwa.—Okubikkulirwa 20:1-3; 21:3-5.

16. Okuva bwe kiri nti enkomerero eneetera okutuuka, kiki ky’olina okukola?

16 Ensi eno efugibwa Sitaani eneetera okuzikirizibwa. N’olwekyo, kikulu okwebuuza nti, ‘Kiki kye nnina okukola kati?’ Yakuwa ayagala otegeere bulungi ebiri mu Bayibuli. Okuyiga Bayibuli kitwale nga kikulu nnyo. (Yokaana 17:3) Abajulirwa ba Yakuwa baba n’enkuŋŋaana buli wiiki eziyamba abantu okutegeera obulungi Bayibuli. Fuba okubangawo mu nkuŋŋaana ezo obutayosa. (Soma Abebbulaniya 10:24, 25.) Bw’omanya nti waliwo we weetaaga okukola enkyukakyuka, tolonzalonza kuzikola. Bw’onookola enkyukakyuka ezeetaagisa, enkolagana yo ne Yakuwa ejja kweyongera okunywera.—Yakobo 4:8.

17. Lwaki abantu abasinga obungi kijja kubeewuunyisa nnyo okulaba enkomerero ng’etuuse?

17 Omutume Pawulo yagamba nti okuzikirizibwa kw’abantu ababi kujja kubaawo mu kiseera abantu abasinga obungi we batakusuubirira; kujja kuba “ng’omubbi bw’ajja ekiro.” (1 Abassessalonika 5:2) Yesu yagamba nti abantu bangi tebandifuddeyo ku bukakafu obulaga nti tuli mu nnaku ez’enkomerero. Yagamba nti: “Ng’ennaku za Nuuwa bwe zaali, n’okubeerawo kw’Omwana w’omuntu [oba, ennaku ez’enkomerero] bwe kutyo bwe kuliba. Kubanga mu nnaku ezo ng’Amataba tegannajja, abantu baali balya, nga banywa, nga bawasa, era nga bafumbirwa, okutuusa ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato, era ne batafaayo okutuusa Amataba lwe gajja ne gabasaanyaawo bonna. N’okubeerawo kw’Omwana w’omuntu bwe kutyo bwe kuliba.”—Matayo 24:37-39.

18. Kulabula ki Yesu kwe yatuwa?

18 Yesu yatulabula obuteemalira ku “kulya n’okunywa n’okweraliikirira eby’obulamu.” Yagamba nti enkomerero ejja kugwa bugwi “ng’ekyambika.” Ate era yagamba nti ejja “kutuuka ku abo bonna abali ku nsi.” Yayongerako nti: “Kale mutunulenga, nga musabanga ekiseera kyonna musobole okuyita mu bintu ebyo byonna ebijja okubaawo, era musobole n’okuyimirira mu maaso g’Omwana w’omuntu.” (Lukka 21:34-36) Lwaki kikulu nnyo okukolera ku kulabula okwo? Kubanga ensi ya Sitaani eneetera okuzikirizibwa. Abo bokka abasiimibwa Yakuwa ne Yesu be bajja okuwonawo babeere mu nsi empya emirembe gyonna.—Yokaana 3:16; 2 Peetero 3:13.

^ lup. 4 Mikayiri linnya lya Yesu Kristo eddala. Okumanya ebisingawo, laba Ekyongerezeddwako Na. 23.