Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA EY’EKKUMI

Ebikwata ku Bamalayika ne Badayimooni

Ebikwata ku Bamalayika ne Badayimooni

1. Lwaki twetaaga okumanya ebikwata ku bamalayika?

YAKUWA ayagala tumanye ebikwata ku bamalayika. Mu Bayibuli, bamalayika bayitibwa “abaana ba Katonda.” (Yobu 38:7) Bamalayika bakola mirimu ki? Baayambanga batya abantu mu biseera eby’edda, era bayinza kutuyamba batya leero?—Laba Ekyongerezeddwako Na. 8.

2. Bamalayika bajjawo batya, era bali bameka?

2 Bamalayika bajjawo batya? Abakkolosaayi 1:16 wagamba nti Yakuwa bwe yamala okutonda Yesu, “ebintu ebirala byonna byatondebwa mu ggulu ne ku nsi.” Mu bintu ebyo ebirala ebyatondebwa mwe muli ne bamalayika. Bamalayika bali bameka? Bayibuli eraga nti waliwo bamalayika bukadde na bukadde.—Zabbuli 103:20; Okubikkulirwa 5:11.

3. Yobu 38:4-7 watutegeeza ki ku bamalayika?

3 Ate era Bayibuli eraga nti bamalayika Yakuwa yabatonda nga tannaba kutonda nsi. Bamalayika baawulira batya ng’ensi etondeddwa? Ekitabo kya Yobu kiraga nti baasanyuka nnyo. Mu kiseera ekyo bamalayika bonna baali baweereza Yakuwa Katonda.—Yobu 38:4-7.

BAMALAYIKA BAYAMBA ABANTU BA KATONDA

4. Tumanya tutya nti bamalayika bafaayo nnyo ku bantu?

4 Okuva edda n’edda, bamalayika babaddenga bafaayo nnyo ku bantu era nga baagala nnyo okumanya ebikwata ku kigendererwa kya Katonda eri ensi n’abantu. (Engero 8:30, 31; 1 Peetero 1:11, 12) Bateekwa okuba nga baanakuwala nnyo Adamu ne Kaawa bwe baajeemera Katonda. Ate era bateekwa okuba nga banakuwala nnyo leero bwe balaba ng’abantu abasinga obungi tebagondera Yakuwa. Naye bwe wabaawo omuntu eyeenenya n’adda eri Katonda, bamalayika basanyuka nnyo. (Lukka 15:10) Bamalayika bafaayo nnyo ku bantu abaweereza Katonda. Yakuwa akozesa bamalayika okuyamba abaweereza be abali ku nsi n’okubakuuma. (Abebbulaniya 1:7, 14) Ka tulabeyo ebyokulabirako.

“Katonda wange yatumye malayika we n’aziba emimwa gy’empologoma.”—Danyeri 6:22

5. Bamalayika baayamba batya abaweereza ba Katonda mu biseera eby’edda?

5 Yakuwa yatuma bamalayika babiri okuyamba Lutti n’ab’omu maka ge okudduka mu Sodomu ne Ggomola, ebibuga ebyali bigenda okuzikirizibwa. (Olubereberye 19:15, 16) Nga wayiseewo emyaka mingi, nnabbi Danyeri yasuulibwa mu kinnya ky’empologoma, naye teyatuukibwako kabi konna, kubanga ‘Katonda yatuma malayika we n’aziba emimwa gy’empologoma.’ (Danyeri 6:22) Mu kyasa ekyasooka, omutume Peetero bwe yali mu kkomera, Yakuwa yatuma malayika n’amuggyayo. (Ebikolwa 12:6-11) Ate era bamalayika baayamba Yesu ng’ali ku nsi. Ng’ekyokulabirako, bwe yamala okubatizibwa, ‘bamalayika baamuweereza.’ (Makko 1:13) Yesu bwe yali anaatera okuttibwa, malayika ‘yamuzzaamu amaanyi.’—Lukka 22:43.

6. (a) Tumanya tutya nti bamalayika bayamba abantu ba Katonda leero? (b) Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu?

6 Ennaku zino, bamalayika tebakyalabikira bantu. Naye Katonda akyabakozesa okuyamba abaweereza be. Bayibuli egamba nti: “Malayika wa Yakuwa asiisira okwetooloola abo bonna abatya Katonda, era abanunula.” (Zabbuli 34:7) Lwaki twetaaga obukuumi? Olw’okuba tulina abalabe ab’amaanyi abaagala okututuusaako akabi. Abalabe abo be baani? Baava wa? Bagezaako batya okututuusaako akabi? Okusobola okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo, ka tulabe ekyaliwo nga Adamu ne Kaawa baakamala okutondebwa.

ABALABE BAFFE ABATALABIKA

7. Kiki Sitaani ky’aleetedde abantu abasinga obungi okukola?

7 Twalaba mu Ssuula ey’okusatu nti waliwo malayika eyajeemera Katonda ng’ayagala okuba omufuzi. Bayibuli emuyita Sitaani Omulyolyomi. (Okubikkulirwa 12:9) Ate era Sitaani yali ayagala n’abalala bajeemere Katonda. Yasobola okulimbalimba Kaawa, era okuva olwo azze alimbalimba abantu abasinga obungi. Kyokka abantu abamu gamba nga, Abbeeri, Enoka, ne Nuuwa, baasigala nga beesigwa eri Yakuwa.—Abebbulaniya 11:4, 5, 7.

8. (a) Bamalayika abamu baafuuka batya badayimooni? (b) Badayimooni baakola ki baleme okuzikirizibwa mu Mataba?

8 Mu kiseera kya Nuuwa, bamalayika abamu baajeemera Katonda ne bava mu ggulu ne batandika okubeera ku nsi ng’abantu. Baalina kigendererwa ki? Bayibuli egamba nti baali baagala kuwasa abawala b’abantu. (Soma Olubereberye 6:2.) Naye ekyo kyali kikyamu. (Yuda 6) Okufaananako bamalayika abo ababi, abantu abasinga obungi baayonooneka era ne batandika okwenyigira mu bikolwa eby’obukambwe. Eyo ye nsonga lwaki Yakuwa yasalawo okuleeta Amataba azikirize abantu ababi, naye n’awonyawo abaweereza be abeesigwa. (Olubereberye 7:17, 23) Bamalayika ababi baddayo mu ggulu baleme okuzikirizibwa. Bamalayika abo ababi Bayibuli ebayita badayimooni. Baasalawo okwegatta ku Sitaani Omulyolyomi, era yafuuka mufuzi waabwe.—Matayo 9:34.

9. (a) Kiki ekyatuuka ku badayimooni bwe baddayo mu ggulu? (b) Kiki kye tugenda okulaba?

9 Olw’okuba badayimooni baali bajeemye, Yakuwa teyabakkiriza kuddamu kwegatta ku bamalayika be abeesigwa. (2 Peetero 2:4) Badayimooni tebakyasobola kwefuula bantu, naye ‘bakyalimbalimba ensi yonna.’ (Okubikkulirwa 12:9; 1 Yokaana 5:19) Ka tulabe engeri gye babuzaabuzaamu abantu.—Soma 2 Abakkolinso 2:11.

ENGERI BADAYIMOONI GYE BABUZAABUZAAMU ABANTU

10. Badayimooni babuzaabuza batya abantu?

10 Badayimooni babuzaabuza abantu mu ngeri nnyingi. Ng’ekyokulabirako, abantu abamu bakolagana ne badayimooni butereevu oba okuyitira mu bantu abalala, gamba ng’abalubaale oba abasamize. Kino kiyitibwa obusamize. Naye Bayibuli etugamba okwewalira ddala ekintu kyonna ekirina akakwate ne badayimooni. (Abaggalatiya 5:19-21) Lwaki? Ng’omuyizzi bw’akozesa omutego okukwasa ensolo, ne badayimooni bakozesa obukodyo obw’enjawulo okusobola okukwasa abantu.—Laba Ekyongerezeddwako Na. 26.

11. Obulaguzi kye ki, era lwaki tusaanidde okubwewala?

11 Akamu ku bukodyo badayimooni bwe bakozesa bwe bulaguzi. Obulaguzi kwe kukozesa amaanyi agatali ga bulijjo okumanya ebinaabaawo mu maaso oba ebitamanyiddwa. Ng’ekyokulabirako, abantu abamu bagezaako okumanya ebitamanyiddwa oba ebinaabaawo mu maaso nga batunula mu bibatu, oba nga bakozesa emmunyeenye, oba ebirooto. Abantu bangi balowooza nti ebintu ebyo tebiriimu kabi konna, naye ekyo si kituufu. Ebintu ebyo bya kabi nnyo. Bayibuli eraga nti abalaguzi bakolagana ne badayimooni. Ng’ekyokulabirako, Ebikolwa 16:16-18 woogera ku “dayimooni eragula” eyasobozesanga omuwala ‘okulagula.’ Omutume Pawulo bwe yagoba dayimooni eyo, omuwala oyo yali takyasobola kulagula.

12. (a) Lwaki kya kabi nnyo okugezaako okwogera n’abafu? (b) Lwaki abaweereza ba Katonda tebeenyigira mu bulombolombo obulina akakwate n’abafu?

12 Waliwo akakodyo akalala badayimooni ke bakozesa okubuzaabuza abantu. Baagala tulowooze nti tusobola okwogera n’abantu abaafa, era nti abafu bakyali balamu era baliko we bali, era nti basobola okwogera naffe oba okututuusaako akabi. Ng’ekyokulabirako, omuntu eyafiirwa mukwano gwe oba omu ku b’eŋŋanda ze ayinza okugenda okwebuuza ku mulubaale. Omulubaale ayinza okubuulira omuntu oyo ebikwata ku muntu we eyafa oba ayinza n’okwogera mu ddoboozi ly’omuntu oyo. (1 Samwiri 28:3-19) Obulombolombo bungi obukolebwa ng’omuntu afudde bwesigamiziddwa ku njigiriza egamba nti abafu bakyali balamu era nti baliko gye bali. Obulombolombo obwo buzingiramu okwabya ennyimbe, emikolo egy’okujjukira abafu, okusaddaakira abafu, obulombolombo obukolebwa ku bannamwandu ne bamulekwa, n’okukuma ekyoto mu luggya. Abakristaayo bwe bagaana okwenyigira mu bulombolombo obwo, ab’eŋŋanda zaabwe oba ab’oku kyalo bayinza okubavumirira oba okulekera awo okukolagana nabo. Naye Abakristaayo ab’amazima bakimanyi nti omuntu bw’afa aba afiiridde ddala era aba taliiko gy’alaze. Tetusobola kwogera na bafu era tebasobola kututuusaako kabi. (Zabbuli 115:17) Kikulu nnyo okuba omwegendereza. Togezangako kwogera na bafu oba na badayimooni oba okwenyigira mu bulombolombo obwo bwe tulabye.—Soma Ekyamateeka 18:10, 11; Isaaya 8:19.

13. Kiki abantu bangi abaali batya ennyo badayimooni kye baalekera awo okukola?

13 Ng’oggyeeko okuba nti badayimooni babuzaabuza abantu, babatiisatiisa n’okubatiisatiisa. Sitaani ne badayimooni bakimanyi nti wasigaddeyo “akaseera katono” Katonda abaggyewo, era eyo ye nsonga lwaki bakambwe nnyo n’okusinga bwe kyali kibadde. (Okubikkulirwa 12:12, 17) Kyokka, abantu bangi abaali batya ennyo badayimooni kati tebakyabatya. Kiki ekyabayamba okulekera awo okutya badayimooni?

ZIYIZA BADAYIMOONI ERA BEEKUTULEKO

14. Okufaananako Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka, kiki kye twetaaga okukola okusobola okwekutula ku badayimooni?

14 Bayibuli etubuulira engeri gye tuyinza okuziyizaamu badayimooni n’okubeekutulako. Ng’ekyokulabirako, abamu ku bantu abaali mu kibuga ky’Efeso baali bakolagana ne badayimooni nga tebannayiga mazima. Kiki kye baakola okubeekutulako? Bayibuli egamba nti: “Bangi ku abo abaakolanga eby’obufumu baaleeta ebitabo byabwe ne babyokera mu maaso g’abantu bonna.” (Ebikolwa 19:19) Olw’okuba baali baagala okufuuka Abakristaayo, baayokya ebitabo byabwe byonna bye baakozesanga mu by’obusamize. Ne mu kiseera kino, abo abaagala okuweereza Yakuwa kibeetaagisa okweggyako buli kintu kyonna ekirina akakwate ne badayimooni. Bino biyinza okuba ebitabo, magaziini, firimu, emizannyo, ebipande, n’ennyimba, ebireetera omuntu okulowooza nti okwenyigira mu by’obusamize oba okukolagana ne badayimooni tekiriimu kabi konna era kisanyusa. Ate era bizingiramu yirizi oba ebintu ebirala abantu bye bambala okubakuuma obutatuukibwako kabi.—1 Abakkolinso 10:21.

15. Kiki ekirala ekinaatuyamba okuziyiza Sitaani ne badayimooni?

15 Nga wayiseewo emyaka egiwera oluvannyuma lw’Abakristaayo ab’omu Efeso okwokya ebitabo byabwe ebikwata ku by’obusamize, omutume Pawulo yagamba nti baali ‘bakyameggana n’emyoyo emibi.’ (Abeefeso 6:12) Wadde nga baali bamaze okwokya ebitabo byabwe, badayimooni baali bakyagezaako okubatuusaako akabi. Kati olwo kiki ekirala kye baalina okukola? Pawulo yabagamba nti: “Mukwate engabo ennene ey’okukkiriza ejja okubasobozesa okuzikiza [oba, okuziyiza] obusaale bwonna obw’omuliro obw’omubi.” (Abeefeso 6:16) Ng’engabo bw’eyamba omusirikale ali mu lutalo obutatuukibwako kabi, n’okukkiriza kwaffe kujja kutuyamba obutatuukibwako kabi mu by’omwoyo. Bwe tuba n’okukkiriza okw’amaanyi nti Yakuwa ajja kutukuuma, tuba tujja kusobola okuziyiza Sitaani ne badayimooni.—Matayo 17:20.

16. Kiki ekinaatuyamba okunyweza okukkiriza kwe tulina mu Yakuwa?

16 Kiki ekinaatuyamba okunyweza okukkiriza kwe tulina mu Yakuwa? Tulina okusoma Bayibuli buli lunaku era n’okwongera okwesiga Yakuwa nti ajja kutukuuma. Bwe tuba nga twesiga nnyo Yakuwa, Sitaani ne badayimooni tebajja kututuusaako kabi.—1 Yokaana 5:5.

17. Kiki ekirala kye tulina okukola okusobola okuziyiza badayimooni?

17 Kiki ekirala Abakristaayo ab’omu Efeso kye baali beetaaga okukola? Ekibuga kye baalimu kyali kijjudde eby’obusamize. N’olwekyo, Pawulo yabagamba nti: “Mweyongere okusaba buli kiseera.” (Abeefeso 6:18) Baalina okusaba Yakuwa buli kiseera okubakuuma. Naffe tuli mu nsi ejjudde eby’obusamize. N’olwekyo naffe twetaaga okusaba Yakuwa atukuume, era twetaaga n’okukozesa erinnya lye nga tusaba. (Soma Engero 18:10.) Bwe tunaanyiikirira okusaba Yakuwa atulokole okuva eri Sitaani, Yakuwa ajja kuddamu essaala zaffe.—Zabbuli 145:19; Matayo 6:13.

18, 19. (a) Lwaki tuyinza okuba abakakafu nti tusobola okuwangula Sitaani ne badayimooni? (b) Kibuuzo ki ekijja okuddibwamu mu ssuula eddako?

18 Bwe tweggyako ebintu byonna ebirina akakwate ne badayimooni era ne twesiga Yakuwa nti ajja kutukuuma, tusobola okuziyiza Sitaani ne badayimooni. Tetulina kubatya. (Soma Yakobo 4:7, 8.) Yakuwa wa maanyi nnyo okusinga badayimooni. Yababonereza mu kiseera kya Nuuwa, era ajja kubazikiriza mu biseera eby’omu maaso. (Yuda 6) Ate era kijjukire nti tetuli ffekka mu kulwanyisa badayimooni. Yakuwa akozesa bamalayika be okutukuuma. (2 Bassekabaka 6:15-17) Tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kutuyamba okuwangula Sitaani ne badayimooni.—1 Peetero 5:6, 7; 2 Peetero 2:9.

19 Naye bwe kiba nti Sitaani ne badayimooni baleetera abantu okubonaabona kungi, lwaki Katonda tannaba kubazikiriza? Ekibuuzo ekyo kijja kuddibwamu mu ssuula eddako.