Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA EY’EKKUMI N’ETTAANO

Engeri Entuufu ey’Okusinzaamu Katonda

Engeri Entuufu ey’Okusinzaamu Katonda

1. Ani alina okutubuulira engeri entuufu gye tusaanidde okusinzaamu Katonda?

AMADIINI agasinga obungi gagamba nti gayigiriza amazima agakwata ku Katonda. Naye tekisoboka kuba nti gonna gayigiriza mazima, kubanga bye gayigiriza ku Katonda n’engeri gye tusaanidde okumusinzaamu byawukana. Kati olwo tuyinza tutya okumanya engeri entuufu ey’okusinzaamu Katonda? Yakuwa yekka y’alina okutubuulira engeri gye tusaanidde okumusinzaamu.

2. Oyinza otya okumanya engeri entuufu ey’okusinzaamu Katonda?

2 Yakuwa yatuwa Bayibuli tusobole okumanya engeri entuufu ey’okumusinzaamu. N’olwekyo, weeyongere okuyiga Bayibuli. Bw’onookola bw’otyo, Yakuwa ajja kukuyamba okuganyulwa mu ebyo by’akuyigiriza kubanga akufaako.—Isaaya 48:17.

3. Kiki Katonda ky’ayagala tukole?

3 Abantu abamu bagamba nti amadiini gonna gasiimibwa Katonda, naye ekyo Yesu si kye yayigiriza. Yagamba nti: “Si buli muntu aŋŋamba nti, ‘Mukama wange, Mukama wange,’ y’aliyingira mu Bwakabaka obw’omu ggulu, wabula oyo akola Kitange ali mu ggulu by’ayagala.” N’olwekyo, tulina okumanya Katonda by’ayagala era ne tubikola. Kino kikulu nnyo kubanga abo abatagondera Katonda, Yesu yabayita “abajeemu.”—Matayo 7:21-23.

4. Kiki Yesu kye yayogera ku abo abaagala okukola Katonda by’ayagala?

4 Yesu yagamba nti abo abaagala okukola Katonda by’ayagala, tekijja kubabeerera kyangu. Yagamba nti: “Muyingire mu mulyango omufunda, kubanga omulyango oguyingira mu kuzikirira mugazi n’ekkubo erituukayo ddene, era bangi abaliyitamu; naye omulyango oguyingira mu bulamu mufunda n’ekkubo erituukayo lya kanyigo, n’abo abaliraba batono.” (Matayo 7:13, 14) Ekkubo ery’akanyigo, oba engeri entuufu ey’okusinzaamu Katonda, lituusa omuntu mu bulamu obutaggwaawo. Ate lyo ekkubo eddene, oba engeri enkyamu ey’okusinzaamu Katonda, litwala omuntu mu kuzikirira. Naye Yakuwa tayagala muntu yenna kuzikirira. Eyo ye nsonga lwaki awa buli muntu akakisa okuyiga ebimukwatako.—2 Peetero 3:9.

ENGERI ENTUUFU EY’OKUSINZAAMU KATONDA

5. Oyinza otya okutegeera abo abasinza Katonda mu ngeri entuufu?

5 Yesu yagamba nti tusobola okutegeera abo abasinza Katonda mu ngeri entuufu. Tusobola okubategeerera ku ebyo bye bakkiririzaamu n’ebyo bye bakola. Yagamba nti: “Mulibategeerera ku bibala byabwe.” Era yagattako nti: “Buli muti omulungi gubala ebibala ebirungi.” (Matayo 7:16, 17) Kino tekitegeeza nti abo abasinza Katonda mu ngeri entuufu batuukiridde, naye bafuba okukola ekituufu. Kati ka twetegereze ebintu ebisobola okutuyamba okutegeera abo abasinza Katonda mu ngeri entuufu.

6, 7. Lwaki byonna ebiyigirizibwa mu ddiini ey’amazima birina okuba nga byesigamiziddwa ku Bayibuli? Abaweereza ba Katonda bakoppa batya Yesu?

6 Bye bayigiriza birina okuba nga biva mu Bayibuli. Bayibuli egamba nti: “Buli Kyawandiikibwa kyaluŋŋamizibwa Katonda, era kigasa mu kuyigiriza, mu kunenya, mu kutereeza ebintu, ne mu kukangavvula mu butuukirivu, omuntu wa Katonda abenga n’obusobozi, era ng’alina byonna bye yeetaaga okusobola okukola buli mulimu omulungi.” (2 Timoseewo 3:16, 17) Omutume Pawulo yagamba Abakristaayo nti: “Bwe mwafuna ekigambo kya Katonda kye mwawulira okuva gye tuli, temwakikkiriza ng’ekigambo ky’abantu, naye mwakikkiriza ng’ekigambo kya Katonda, nga bwe kiri ddala.” (1 Abassessalonika 2:13) Ebintu byonna ebiyigirizibwa mu ddiini ey’amazima biba birina okuba nga byesigamiziddwa ku Kigambo kya Katonda, Bayibuli, so si ku ndowooza z’abantu, oba ku bulombolombo, oba ku kintu ekirala.

7 Buli kintu kyonna Yesu kye yayigirizanga kyabanga kyesigamiziddwa ku Kigambo kya Katonda. (Soma Yokaana 17:17.) Emirundi mingi yajulizanga Ebyawandiikibwa. (Matayo 4:4, 7, 10) Abaweereza ba Katonda ab’amazima bakoppa Yesu era byonna bye bayigiriza byesigamiziddwa ku Bayibuli.

8. Yesu yatuyigiriza ki ku bikwata ku kusinza Yakuwa?

8 Basinza Yakuwa yekka. Zabbuli 83:18 wagamba nti: “Erinnya lyo, ggwe Yakuwa, ggwe wekka Asingayo Okuba Waggulu, afuga ensi yonna.” Yesu yali ayagala abantu bamanye Katonda ow’amazima, era yabayigiriza erinnya lye. (Soma Yokaana 17:6.) Yesu yagamba nti: “Yakuwa Katonda wo gw’olina okusinza, era ye yekka gw’olina okuweereza.” (Matayo 4:10) N’olwekyo, abaweereza ba Katonda bakoppa Yesu mu nsonga eyo. Basinza Yakuwa yekka, bakozesa erinnya lye, era bayigiriza abalala erinnya lya Katonda n’ebyo by’ajja okukolera abantu.

9, 10. Abagoberezi ba Yesu ab’amazima balagaŋŋana batya okwagala?

9 Balagaŋŋana okwagala okwa nnamaddala. Yesu yagamba abayigirizwa be nti balina okwagalana. (Soma Yokaana 13:35.) Balaga baganda baabwe bonna okwagala, ka babe ba ggwanga ki, era ka babe bagagga oba baavu. Okwagala ng’okwo kubasobozesa okuba obumu. (Abakkolosaayi 3:14) N’olwekyo, tebeenyigira mu ntalo oba okutta bantu abalala. Bayibuli egamba nti: “Abaana ba Katonda n’abaana b’Omulyolyomi balabikira ku kino: Omuntu yenna atakola bya butuukirivu taba mwana wa Katonda, era n’oyo atayagala muganda we.” Era egattako nti: “Tusaanidde okwagalana; tetusaanidde kuba nga Kayini eyali omwana w’omubi n’atta muganda we.”—1 Yokaana 3:10-12; 4:20, 21.

10 Bakozesa ebiseera byabwe, amaanyi gabwe, n’ebintu byabwe okuyambagana n’okuzziŋŋanamu amaanyi. (Abebbulaniya 10:24, 25) Bafuba ‘okukolera bonna ebirungi.’—Abaggalatiya 6:10.

11. Lwaki tulina okukkiririza mu Yesu?

11 Bagondera Yesu kubanga bakimanyi nti obulokozi babufuna okuyitira mu Yesu. Bayibuli egamba nti: “Tewali mulokozi mulala wabula ye, kubanga tewali linnya ddala wansi w’eggulu eriweereddwa abantu mwe tuyinza okufunira obulokozi.” (Ebikolwa 4:12) Mu Ssuula ey’okutaano ey’akatabo kano, twalaba nti Yakuwa yasindika Yesu okuwaayo obulamu bwe ng’ekinunulo ku lw’abantu abawulize. (Matayo 20:28) Ate era Katonda yalonda Yesu okufuga ensi nga Kabaka. Eyo ye nsonga lwaki Bayibuli egamba nti tulina okugondera Yesu bwe tuba twagala okufuna obulamu obutaggwaawo.—Soma Yokaana 3:36.

12. Lwaki abagoberezi ba Yesu ab’amazima tebeenyigira mu bya bufuzi?

12 Tebeenyigira mu bya bufuzi. Yesu teyeenyigiranga mu bya bufuzi. Bwe yali ng’awozesebwa, yagamba omufuzi Omuruumi ayitibwa Piraato nti: “Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno.” (Soma Yokaana 18:36.) Okufaananako Yesu, abagoberezi be ab’amazima bawagira Bwakabaka bwa Katonda obw’omu ggulu bwokka. Eyo ye nsonga lwaki tebeenyigira mu bya bufuzi. Kyokka Bayibuli ebalagira okugondera “ab’obuyinza,” oba gavumenti. (Abaruumi 13:1) Bagondera amateeka ga gavumenti. Naye singa etteeka lya gavumenti liba likontana n’amateeka ga Katonda, bakoppa abatume abaagamba nti: “Tuteekwa kugondera Katonda so si bantu.”—Ebikolwa 5:29; Makko 12:17.

13. Abagoberezi ba Yesu ab’amazima babuulira ki abantu ku Bwakabaka bwa Katonda?

13 Babuulira abantu nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obujja okumalawo ebizibu ebiri mu nsi. Yesu yagamba nti ‘amawulire amalungi ag’Obwakabaka’ galina okubuulirwa mu nsi yonna. (Soma Matayo 24:14.) Tewali gavumenti y’abantu esobola kutukolera ebyo Obwakabaka bwa Katonda bye bunaatukolera. (Zabbuli 146:3) Yesu yagamba tusabe Katonda nti: “Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.” (Matayo 6:10) Bayibuli egamba nti Obwakabaka bwa Katonda bujja kuzikiriza gavumenti z’abantu zonna, era nti “bwo bwokka bwe bulibeerawo emirembe n’emirembe.”—Danyeri 2:44.

14. Olowooza baani abasinza Katonda mu ngeri entuufu?

14 Oluvannyuma lw’okuyiga ebintu ebyo, weebuuze: ‘Baani abayigiriza ebintu ebyesigamiziddwa ku Bayibuli? Baani abategeeza abantu abalala erinnya lya Katonda? Baani abalagaŋŋana okwagala okwa nnamaddala era abakkiriza nti obulokozi tubufuna kuyitira mu Yesu? Baani abateenyigira mu bya bufuzi? Baani ababuulira abalala nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obusobola okugonjoolera ddala ebizibu by’abantu?’ Abajulirwa ba Yakuwa be bokka abakola ebintu ebyo.—Isaaya 43:10-12.

ONOOKOLA KI?

15. Kiki kye tulina okukola bwe tuba twagala okusinza Katonda mu ngeri emusanyusa?

15 Okukkiriza obukkiriza nti Katonda gyali tekimala. Ne badayimooni bakkiriza nti Katonda gyali, naye tebamugondera. (Yakobo 2:19) Bwe tuba twagala okusinza Katonda mu ngeri emusanyusa, tetulina kukoma ku kukkiriza bukkiriza nti gyali, naye era tulina n’okukola by’ayagala.

16. Lwaki tusaanidde okwekutula ku madiini ag’obulimba?

16 Okusobola okusinza Katonda mu ngeri emusanyusa, tuba tulina okwekutula ku madiini gonna ag’obulimba. Nnabbi Isaaya yagamba nti: “Mukifulumemu, mwekuume nga muli balongoofu.” (Isaaya 52:11; 2 Abakkolinso 6:17) Eyo ye nsonga lwaki tulina okwewala ekintu kyonna ekirina akakwate n’okusinza okw’obulimba.

17, 18. “Babulooni Ekinene” kye ki, era lwaki tulina okukivaamu mu bwangu?

17 Tuyinza tutya okutegeera amadiini ag’obulimba? Eddiini yonna eyigiriza abantu okusinza Katonda mu ngeri ekontana n’Ekigambo kye eba ya bulimba. Amadiini gonna ag’obulimba Bayibuli egayita “Babulooni Ekinene.” (Okubikkulirwa 17:5) Lwaki? Oluvannyuma lw’Amataba g’omu kiseera kya Nuuwa, enjigiriza nnyingi ez’obulimba zaatandikibwawo mu kibuga Babulooni. Enjigiriza ezo ez’obulimba zaasaasaana mu nsi yonna. Ng’ekyokulabirako, abantu abaabeeranga mu Babulooni baasinzanga katonda alimu bakatonda basatu. Ne leero waliwo amadiini mangi agayigiriza nti Katonda Tiriniti, oba nti alimu bakatonda basatu. Kyokka Bayibuli eyigiriza nti waliwo Katonda omu yekka ow’amazima, Yakuwa, era nti Yesu Mwana we. (Yokaana 17:3) Ate era abantu abaabeeranga mu Babulooni baali bakkiriza nti omuntu bw’afa, waliwo ekintu ekimuvaamu ne kisigala nga kiramu era nti ekintu ekyo kisobola okubonyaabonyezebwa mu muliro ogutazikira. Naye ekyo si kituufu.—Laba Ekyongerezeddwako Na. 14, 17, ne 18.

18 Katonda yagamba nti mu kiseera ekitali kya wala amadiini gonna ag’obulimba gajja kuzikirizibwa. (Okubikkulirwa 18:8) Omanyi ensonga lwaki olina okuva mu eddiini ey’obulimba mu bwangu ddala? Yakuwa Katonda ayagala ogiveemu mu bwangu nga amadiini ag’obulimba tegannazikirizibwa.—Okubikkulirwa 18:4.

Bw’onoosalawo okuweereza Yakuwa, ojja kuba weegasse ku bantu ba Yakuwa

19. Bw’onoosalawo okuweereza Yakuwa, onooganyulwa otya?

19 Bw’onoosalawo okuva mu ddiini ey’obulimba n’oweereza Yakuwa, abamu ku mikwano gyo oba ab’eŋŋanda zo bayinza obutategeera bulungi lwaki osazeewo bw’otyo, era bayinza n’okukuyigganya. Naye Yakuwa tajja kukwabulira. Ate era ojja kuba weegasse ku bukadde n’obukadde bw’abantu abalagaŋŋana okwagala okwa nnamaddala era abalina essuubi ery’okubeera mu nsi ya Katonda empya emirembe gyonna. (Makko 10:28-30) Oboolyawo abamu ku mikwano gyo oba ab’eŋŋanda zo abatayagala oweereze Yakuwa oluvannyuma bayinza nabo okusalawo okutandika okuyiga Bayibuli.

20. Lwaki kikulu nnyo okusinza Yakuwa mu ngeri entuufu?

20 Mu kiseera ekitali kya wala, Katonda ajja kuggyawo ebintu ebibi byonna era Obwakabaka bwe bujja kuba nga bufuga ensi yonna. (2 Peetero 3:9, 13) Obulamu bujja kuba bulungi nnyo mu kiseera ekyo! Buli muntu ajja kuba asinza Yakuwa nga Yakuwa bw’ayagala tumusinze. N’olwekyo, kikulu nnyo okubaako ky’okolawo kati osobole okusinza Yakuwa mu ngeri entuufu.