Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA EY’EKKUMI N’OMUKAAGA

Salawo Okusinza Katonda mu Ngeri Entuufu

Salawo Okusinza Katonda mu Ngeri Entuufu

1, 2. Kibuuzo ki ky’osaanidde okwebuuza, era lwaki kikulu okukyebuuza?

EKISEERA ky’omaze ng’oyiga Bayibuli, olina okuba ng’okirabye nti abantu bangi abagamba nti basinza Katonda bayigiriza era bakola ebintu Katonda by’atayagala. (2 Abakkolinso 6:17) Eyo ye nsonga lwaki Yakuwa atugamba okuva mu madiini ag’obulimba oba “Babulooni Ekinene.” (Okubikkulirwa 18:2, 4) Kiki ky’onookola? Buli omu ku ffe alina okusalawo ku nsonga eno, era asaanidde okwebuuza nti, ‘Njagala okusinza Katonda nga bw’ayagala, oba njagala kweyongera kumusinza nga bwe mbadde musinza?’

2 Bw’oba ng’omaze okuva mu ddiini ey’obulimba, ekyo kirungi. Naye wayinza okuba nga wakyaliwo enjigiriza n’obulombolombo eby’amadiini ag’obulimba by’okyakkiririzaamu. Ka twetegereze ezimu ku njigiriza ezo n’obumu ku bulombolombo obwo, era tulabe ensonga lwaki kikulu nnyo okubikyawa nga Yakuwa bw’abikyawa.

OKUSINZA EBIFAANANYI NE BAJJAJJA ABAAFA

3. (a) Lwaki abantu abamu kiyinza okubazibuwalira okulekera awo okukozesa ebifaananyi nga basinza Katonda? (b) Bayibuli eyogera ki ku ky’okukozesa ebifaananyi nga tusinza Katonda?

3 Abantu abamu bamaze emyaka mingi nga bakozesa ebifaananyi okusinza Katonda, ate abalala balina amasabo mu maka gaabwe. Bw’oba ng’obadde n’ebintu ebyo okumala ebbanga ddene, oyinza okuba ng’owulira nti kikukaluubirira okubyeggyako oba nti tosobola kusinza Katonda nga tobirina. Naye kijjukire nti Yakuwa y’alina okutubuulira engeri gye tusaanidde okumusinzaamu. Bayibuli etutegeeza nti Yakuwa tayagala tukozese bifaananyi nga tumusinza.—Soma Okuva 20:4, 5; Zabbuli 115:4-8; Isaaya 42:8; 1 Yokaana 5:21.

4. (a) Lwaki tetusaanidde kusinza bajjajja abaafa? (b) Lwaki Yakuwa yagaana abantu be okwogera n’abafu?

4 Abantu abamu bamala ebiseera bingi n’amaanyi mangi nga bagezaako okusanyusa bajjajjaabwe abaafa. Abamu babasinza n’okubasinza. Naye twalaba nti abantu bwe bafa baba tebasobola kutuyamba wadde okututuusaako akabi. Baba tebakyali balamu era nga tebaliiko we bali. Mu butuufu, kya kabi nnyo okugezaako okwogera n’abantu abaafa kubanga obubaka bwonna obulabika ng’obuva gye bali, buba buva eri badayimooni. Eyo ye nsonga lwaki Yakuwa yagaana Abayisirayiri okwogera n’abantu abaafa oba okwenyigira mu ngeri endala yonna ey’obusamize.—Ekyamateeka 18:10-12; laba Ekyongerezeddwako Na. 26 ne 31.

5. Kiki ekinaakuyamba okulekera awo okukozesa ebifaananyi ng’osinza Katonda oba okulekera awo okusinza bajjajja abaafa?

5 Kiki ekisobola okukuyamba okulekera awo okukozesa ebifaananyi ng’osinza Katonda oba okulekera awo okusinza bajjajja abaafa? Weetaaga okusoma Bayibuli n’okufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gy’atwalamu ebintu ebyo. Abitwala nga bya ‘muzizo.’ (Ekyamateeka 27:15) Saba Yakuwa buli lunaku akuyambe okuba n’endowooza ng’eyiye era akuyambe okumusinza mu ngeri gy’ayagala. (Isaaya 55:9) Ba mukakafu nti Yakuwa ajja kukuwa amaanyi ge weetaaga okusobola okwekutula ku bintu byonna ebirina akakwate n’okusinza okw’obulimba.

TUSAANIDDE OKUKUZA SSEKUKKULU?

6. Lwaki abantu baatandika okukuza amazaalibwa ga Yesu nga Ddesemba 25?

6 Ssekukkulu lwe lumu ku nnaku ezisinga okukuzibwa mu nsi yonna, era abantu abasinga obungi balowooza nti baba bakuza mazaalibwa ga Yesu. Kyokka, Ssekukkulu erina akakwate n’okusinza okw’obulimba. Ekitabo ekimu kigamba nti Abaruumi abakaafiiri baakuzanga amazaalibwa g’enjuba nga Ddesemba 25. Abakulu b’amadiini baali baagala okusikiriza abakaafiiri abalala bafuuke Abakristaayo, n’olwekyo, baasalawo okutandika okukuza amazaalibwa ga Yesu nga Ddesemba 25, wadde nga Yesu teyazaalibwa ku lunaku olwo. (Lukka 2:8-12) Abayigirizwa ba Yesu tebaakuzanga Ssekukkulu. Ekitabo ekimu kigamba nti oluvannyuma lw’emyaka nga 200 nga Yesu amaze okuzaalibwa, “tewali muntu n’omu yali amanyi lunaku lwennyini Yesu lwe yazaalibwako, era abantu batono nnyo abaali bafaayo okulumanya.” (Sacred Origins of Profound Things) Abantu baatandika okukuza Ssekukkulu nga wayiseewo emyaka mingi nnyo nga Yesu avudde ku nsi.

7. Lwaki Abakristaayo ab’amazima tebakuza Ssekukkulu?

7 Abantu bangi bakimanyi nti Ssekukkulu n’ebintu ebitera okukolebwa ku lunaku olwo, gamba ng’ebinyumu n’okugaba ebirabo, byasibuka mu bakaafiiri. Ng’ekyokulabirako, olw’akakwate Ssekukkulu k’erina n’obukaafiiri, waliwo ekiseera okugikuza lwe kwawerebwa mu Bungereza ne mu bitundu bya Amerika ebimu. Omuntu yenna eyagikuzanga yaweebwanga ekibonerezo. Kyokka oluvannyuma lw’ekiseera, abantu baddamu okukuza Ssekukkulu. Lwaki Abakristaayo ab’amazima tebakuza Ssekukkulu? Olw’okuba baagala okusanyusa Katonda mu buli kimu kye bakola.

TUSAANIDDE OKUKUZA AMAZAALIBWA GAFFE?

8, 9. Lwaki Abakristaayo abaasooka tebaakuzanga mazaalibwa gaabwe?

8 Olunaku olulala abantu bangi lwe bakuza ge mazaalibwa gaabwe. Abakristaayo basaanidde okukuza amazaalibwa gaabwe? Bayibuli eyogera ku bantu babiri bokka abaakuza amazaalibwa gaabwe, era abantu abo baali tebasinza Yakuwa. (Olubereberye 40:20; Makko 6:21) Abantu baakuzanga amazaalibwa gaabwe nga bawa bakatonda ab’obulimba ekitiibwa. Eyo ye nsonga lwaki Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka “baatwalanga okukuza amazaalibwa g’omuntu yenna ng’omukolo ogw’ekikaafiiri.”—The World Book Encyclopedia.

9 Abaruumi n’Abayonaani ab’edda baalina endowooza nti waliwo kitonde eky’omwoyo ekyabeerangawo ng’omuntu azaalibwa, era nti ekitonde ekyo kyamukuumanga obulamu bwe bwonna. Ekitabo ekiyitibwa The Lore of Birthdays kigamba nti: “Ekitonde ekyo kyabanga kirina oluganda ku katonda eyazaalibwa ku lunaku olwo lwennyini omuntu oyo kwe yabanga azaaliddwa.”

10. Lwaki Abakristaayo tebasaanidde kukuza mazaalibwa gaabwe?

10 Olowooza ennaku ng’ezo ezirina akakwate n’eddiini ez’obulimba zisanyusa Yakuwa? (Isaaya 65:11, 12) Nedda, tezimusanyusa. Eyo ye nsonga lwaki tetukuza mazaalibwa gaffe oba olunaku olulala lwonna olulina akakwate n’eddiini ez’obulimba.

DDALA KIKULU OKUFAAYO KU NSIBUKO Y’ENNAKU EZIKUZIBWA?

11. Lwaki abantu abamu bakuza ennaku enkulu? Kiki ky’osaanidde okukulembeza mu bulamu bwo?

11 Wadde ng’abantu abamu bakimanyi nti Ssekukkulu n’ennaku endala ezikuzibwa zaasibuka mu bukaafiiri, basigala bazikuza. Bakitwala nti ennaku ezo zibasobozesa okubeerako awamu n’ab’eŋŋanda zaabwe. Naawe bw’otyo bw’okitwala? Si kikyamu okwagala okubeerako awamu n’ab’eŋŋanda zaffe. Yakuwa ye yatandikawo amaka era ayagala tubeere n’enkolagana ennungi n’ab’eŋŋanda zaffe. (Abeefeso 3:14, 15) Kyokka, okubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa kye tulina okukulembeza mu bulamu bwaffe mu kifo ky’okusanyusa ab’eŋŋanda zaffe nga tukuza ennaku ezisibuka mu ddiini ez’obulimba. Eyo ye nsonga lwaki omutume Pawulo yagamba nti: “Mufubenga okumanya ebyo ebikkirizibwa Mukama waffe.”—Abeefeso 5:10.

12. Kiki ekiviirako ennaku ezikuzibwa okuba nga tezisanyusa Yakuwa?

12 Abantu bangi balowooza nti si kikulu okufaayo ku nsibuko y’ennaku ezikuzibwa, naye Yakuwa si bw’atyo bw’akitwala. Ennaku ezikuzibwa ezisibuka mu ddiini ez’obulimba oba ezigulumiza abantu oba obubonero bw’eggwanga tezimusanyusa. Ng’ekyokulabirako, Abamisiri baakolanga emikolo mingi okusanyusa bakatonda baabwe ab’obulimba. Abayisirayiri bwe baava e Misiri, baakoppa ogumu ku mikolo egyo egy’ekikaafiiri ne baguyita “embaga ya Yakuwa.” Naye Yakuwa yababonereza olw’okukola bwe batyo. (Okuva 32:2-10) Nnabbi Isaaya yagamba nti, tetulina ‘kukwata ku kintu kyonna kitali kirongoofu!’—Soma Isaaya 52:11.

KOZESA AMAGEZI NG’ONNYONNYOLA ABALALA

13. Bibuuzo ki by’oyinza okwebuuza ng’osazeewo okulekera awo okukuza ennaku enkulu?

13 Bw’osalawo okulekera awo okukuza ennaku enkulu oyinza okutandika okwebuuza ebibuuzo bingi. Ng’ekyokulabirako, oyinza okwebuuza nti: Kiki kye nnyinza okukola singa abo be nkola nabo bambuuza ensonga lwaki sikuza Ssekukkulu? Kiki kye nnyinza okukola singa wabaawo ampa ekirabo kya Ssekukkulu? Kiki kye nnyinza okukola singa wabaawo olunaku olukulu mukyala wange oba mwami wange lw’ansuubira okukuza? Kiki kye nnyinza okukola abaana bange baleme kuwulira bubi olw’okuba tetukuza nnaku nkulu oba amazaalibwa gaabwe?

14, 15. Kiki ky’oyinza okukola singa omuntu akwagaliza olunaku olukulu olulungi oba akuwa ekirabo?

14 Kikulu nnyo okukozesa amagezi ng’osalawo eky’okwogera oba eky’okukola mu buli mbeera. Ng’ekyokulabirako, singa omuntu akwagaliza olunaku olukulu olulungi, tosirika busirisi. Oyinza okumugamba nti, “Weebale.” Naye bw’aba ayagala okumanya ebisingawo, oyinza okusalawo okumunnyonnyola ensonga lwaki tokuza lunaku olwo. Bw’oba oyogera naye, fuba okwoleka ekisa, kozesa amagezi, era laga nti omussaamu ekitiibwa. Bayibuli egamba nti: “Ebigambo byammwe bulijjo bibeerenga bya kisa, era nga binoze omunnyo, musobole okumanya engeri gye musaanidde okuddamu buli muntu.” (Abakkolosaayi 4:6) Oyinza okumugamba nti oyagala nnyo okusanyukirako awamu n’abalala n’okugaba ebirabo, naye nti ekyo tokikola ku nnaku ezo enkulu.

15 Kiki ky’osaanidde okukola singa omuntu akuwa ekirabo ku lunaku olukulu? Bayibuli tetuwa lukalala lw’amateeka ku nsonga eyo, naye egamba nti tulina okukuuma omuntu waffe ow’omunda nga mulungi. (1 Timoseewo 1:18, 19) Kiyinzika okuba nti omuntu akuwa ekirabo takimanyi nti tokuza lunaku olwo. Oba ayinza okukugamba nti, “Nkimanyi nti tokuza lunaku luno, naye njagala okukuwa ekirabo kino.” Mu mbeera ezo zombi, oyinza okukkiriza ekirabo ekyo oba okukigaana. Naye ka kibe ki ky’osalawo okukola, kakasa nti osigaza omuntu ow’omunda omulungi. Tetwagala kukola kintu kyonna ekiyinza okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa.

AB’OMU MAKA GO

Abo abaweereza Yakuwa baba basanyufu

16. Kiki ky’osaanidde okukola singa ab’omu maka go baba baagala okukuza olunaku olukulu?

16 Kiki ky’osaanidde okukola singa ab’omu maka go baba baagala okukuza olunaku olukulu? Tosaanidde kuwakana nabo. Kijjukire nti balina eddembe okusalawo kye baagala okukola. Ba wa kisa era ssa ekitiibwa mu ekyo kye basazeewo nga naawe bw’oyagala basse ekitiibwa mu by’oba osazeewo. (Soma Matayo 7:12.) Naye watya singa ab’omu maka go baba baagala osanyukireko wamu nabo ku lunaku olukulu, kiki kye wandikoze? Nga tonnasalawo kya kukola, sooka osabe Yakuwa akuyambe okusalawo obulungi. Fumiitiriza bulungi ku nsonga eyo, era ginoonyerezeeko ng’okozesa ebitabo ebinnyonnyola Bayibuli. Kijjukire nti kikulu nnyo okusalawo mu ngeri esanyusa Yakuwa.

17. Kiki ky’oyinza okukola okuyamba abaana bo obutasaalirwa nga balaba abalala bakuza ennaku enkulu?

17 Kiki ky’oyinza okukola okuyamba abaana bo obutasaalirwa nga balaba abalala bakuza ennaku enkulu? Buli luvannyuma lw’ekiseera, oyinza okubaako ekintu ekibasanyusa ky’obakolera. Ate era oyinza n’okubawa ebirabo. Ekimu ku birabo ebisingayo obulungi ky’oyinza okuwa abaana bo kwe kufissaawo ekiseera n’obeerako wamu nabo era n’okubalaga okwagala.

WEEREZA KATONDA MU NGERI ENTUUFU

18. Lwaki kikulu nnyo okubeerawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo?

18 Okusobola okusanyusa Yakuwa, olina okuva mu ddiini ey’obulimba gy’olimu n’okwesamba obulombolombo n’ennaku enkulu ebirina akakwate nayo. Ate era olina okukola ebyo abo abali mu ddiini ey’amazima bye bakola. Bye biruwa? Ekimu ku byo kwe kubeerangawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo obutayosa. (Soma Abebbulaniya 10:24, 25.) Enkuŋŋaana nkulu nnyo mu kusinza okw’amazima. (Zabbuli 22:22; 122:1) Tuzziŋŋanamu amaanyi bwe tukuŋŋaana awamu ne bannaffe.—Abaruumi 1:12.

19. Lwaki kikulu nnyo okubuulirako abalala amazima g’oyize mu Bayibuli?

19 Ekintu ekirala ky’olina okukola kwe kubuulirako abalala ebyo by’oyize mu Bayibuli. Abantu bangi banakuwavu nnyo olw’ebintu ebibi ebigenda mu maaso mu nsi. Oboolyawo naawe omanyiiyo abantu abanakuwavu olw’ebyo ebigenda mu maaso mu nsi. Babuulire ku bintu ebirungi ebijja okubaawo mu biseera eby’omu maaso. Bw’onoofuba okubeerawo mu nkuŋŋaana n’okubuulira abalala ku mazima g’oyize mu Bayibuli, mpolampola ojja kuwulira nga tokyayagala kubeera na kakwate konna na ddiini za bulimba. Ba mukakafu nti ojja kufuna essanyu lingi era nti Yakuwa ajja kukuwa emikisa mingi bw’onoosalawo okumusinza mu ngeri entuufu.—Malaki 3:10.