Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA EY’EKKUMI N’OMUSANVU

Enkizo ey’Okusaba

Enkizo ey’Okusaba

“Oyo eyakola eggulu n’ensi” mwetegefu okuwuliriza essaala zaffe.—Zabbuli 115:15

1, 2. Lwaki tusaanidde okutwala okusaba ng’enkizo ey’ekitalo, era lwaki twetaaga okumanya Bayibuli ky’eyigiriza ku kusaba?

ENSI ntono nnyo bw’ogigeraageranya ku butonde bwonna. Yakuwa bw’atunuulira ensi, abantu bonna abagiriko baba ng’ettondo ly’amazzi mu kalobo. (Zabbuli 115:15; Isaaya 40:15) Kyokka Bayibuli egamba nti: “Yakuwa ali kumpi n’abo bonna abamukoowoola, abo bonna abamukoowoola mu mazima. Awa abo abamutya bye baagala; awulira okuwanjaga kwabwe n’abanunula.” (Zabbuli 145:18, 19) Nga tulina enkizo ya kitalo nnyo! Yakuwa, Omutonzi w’ebintu byonna, ayagala tube n’enkolagana ey’oku lusegere naye era awuliriza essaala zaffe. Mazima ddala, okusaba nkizo era kirabo kya muwendo Yakuwa ky’awadde buli muntu.

2 Naye Yakuwa okusobola okuwuliriza essaala zaffe, tulina okumusaba nga bw’ayagala. Ekyo tuyinza kukikola tutya? Ka tulabe Bayibuli ky’eyigiriza ku kusaba.

LWAKI TUSAANIDDE OKUSABA YAKUWA?

3. Lwaki osaanidde okusaba Yakuwa?

3 Yakuwa ayagala oyogere naye. Ekyo tukimanyira ku ki? Osabibwa okusoma Abafiripi 4:6, 7Ekyawandiikibwa ekyo kikyoleka bulungi nti Omufuzi w’obutonde bwonna akufaako era ayagala omubuulire ebizibu byo.

4. Okusaba Yakuwa obutayosa kinyweza kitya enkolagana yo naye?

4 Okusaba kutuyamba okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. Ab’omukwano gye bakoma okunyumya ku bintu ebibakwatako oba ebibeeraliikiriza, omukwano gwabwe gye gukoma okweyongera okunywera. Bwe kityo, n’okusaba Yakuwa kinyweza enkolagana yo naye. Okuyitira mu Bayibuli, Yakuwa akubuulira ebimukwatako awamu n’ebyo by’anaakola mu biseera eby’omu maaso. Naawe osobola okumubuulira ebikuli ku mutima ng’omusaba obutayosa. Bw’onookola bw’otyo, enkolagana yo ne Yakuwa ejja kweyongera okunywera.—Yakobo 4:8.

BIKI BYE TUSAANIDDE OKUKOLA KATONDA OKUWULIRA ESSAALA ZAFFE?

5. Tumanya tutya nti Yakuwa tawuliriza ssaala zonna?

5 Yakuwa awuliriza essaala zonna? Nedda. Mu kiseera kya nnabbi Isaaya, Yakuwa yagamba Abayisirayiri nti: “Wadde nga musaba essaala nnyingi, siziwuliriza; emikono gyammwe gijjudde omusaayi.” (Isaaya 1:15) N’olwekyo, singa tukola ebintu ebibi, Yakuwa tajja kuwuliriza ssaala zaffe.

6. Lwaki kikulu nnyo okuba n’okukkiriza? Oyinza otya okulaga nti olina okukkiriza?

6 Bwe tuba twagala Yakuwa awulirize essaala zaffe, tusaanidde okuba n’okukkiriza. (Makko 11:24) Omutume Pawulo yagamba nti: “Awatali kukkiriza tekisoboka kusanyusa Katonda, kubanga oyo atuukirira Katonda ateekwa okukkiriza nti gyali era nti y’awa empeera abo abafuba okumunoonya.” (Abebbulaniya 11:6) Naye okugamba obugambi nti tulina okukkiriza tekimala. Tusaanidde okukiraga nti tulina okukkiriza nga buli lunaku tukola Yakuwa by’ayagala.—Soma Yakobo 2:26.

7. (a) Bwe tuba tusaba Yakuwa, lwaki tusaanidde okuba abeetoowaze n’okulaga nti tumussaamu ekitiibwa? (b) Bwe tuba tusaba Yakuwa, tuyinza tutya okulaga nti tuli beesimbu?

7 Bwe tuba tusaba Yakuwa tusaanidde okuba abeetoowaze era tusaanidde okulaga nti tumussaamu ekitiibwa. Lwaki? Singa tubadde ba kwogera ne kabaka oba pulezidenti, twandibadde twogera naye mu ngeri eraga nti tumussaamu ekitiibwa. Yakuwa ye Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna, n’olwekyo, bwe tuba twogera naye tusaanidde okuba abeetoowaze ennyo era tusaanidde okulaga nti tumussaamu nnyo ekitiibwa. (Olubereyeberye 17:1; Zabbuli 138:6) Ate era tusaanidde okuba abeesimbu ne tubuulira Yakuwa ebituli ku mutima, mu kifo ky’okukozesa ebigambo bye bimu buli kiseera nga tumusaba.—Matayo 6:7, 8.

8. Bwe tubaako ekintu kye tusabye Yakuwa, kiki kye tulina okukola?

8 Ekintu ekirala kye tulina okukola, kwe kufuba okukolera ku ebyo bye tuba tusabye. Ng’ekyokulabirako, bwe tusaba Yakuwa okutuwa bye twetaaga, tetusaanidde kusuubira nti Yakuwa ajja kutuwa buli kimu kye twetaaga nga tetulina kye tukozeewo. Tuba tulina okukola ennyo era n’obutanyooma emirimu egimu. (Matayo 6:11; 2 Abassessalonika 3:10) Ate bwe tusaba Yakuwa atuyambe okulekayo omuze omubi, tusaanidde okwewala embeera yonna eyinza okutuleetera okukemebwa okwenyigira mu muze ogwo. (Abakkolosaayi 3:5) Kati ka tulabe ebibuuzo ebikwata ku kusaba abantu bye batera okwebuuza.

EBIBUUZO EBIKWATA KU KUSABA ABANTU BYE BATERA OKWEBUUZA

9. Tusaanidde kusaba ani, era Yokaana 14:6 watuyigiriza ki ku kusaba?

9 Tusaanidde kusaba ani? Yesu yayigiriza abagoberezi be okusabanga “Kitaffe ali mu ggulu.” (Matayo 6:9) Ate era yagamba nti: “Nze kkubo, n’amazima, n’obulamu. Tewali ajja eri Kitange okuggyako ng’ayitidde mu nze.” (Yokaana 14:6) N’olwekyo, tusaanidde kusaba Yakuwa yekka nga tuyitira mu Yesu. Lwaki kikulu okusaba Yakuwa nga tuyitira mu Yesu? Yakuwa bw’aba ow’okuwulira essaala zaffe, tulina okulaga nti tussa ekitiibwa mu kifo ekikulu kye yawa Yesu. Nga bwe twayiga, Yesu yajja ku nsi okutulokola okuva mu kibi n’okufa. (Yokaana 3:16; Abaruumi 5:12) Ate era Yakuwa yalonda Yesu okuba Kabona Asinga Obukulu era Omulamuzi.—Yokaana 5:22; Abebbulaniya 6:20.

Osobola okusaba ekiseera kyonna

10. Waliwo engeri yonna ey’enjawulo gye tulina okubaamu nga tusaba? Nnyonnyola.

10 Waliwo engeri yonna ey’enjawulo gye tulina okubaamu nga tusaba? Yakuwa tatugamba nti tulina kufukamira, kutuula, oba kuyimirira nga tumusaba. Bayibuli eraga nti tusobola okusaba Yakuwa mu ngeri yonna eraga nti tumussaamu ekitiibwa. (1 Ebyomumirembe 17:16; Nekkemiya 8:6; Danyeri 6:10; Makko 11:25) Yakuwa ky’atwala ng’ekikulu ennyo nga tumusaba kyekyo ekiri mu mutima gwaffe, so si eky’okuba nti tufukamidde oba tuyimiridde. Tusobola okusaba mu ddoboozi eriwulikika oba mu kasirise wonna we tuba tuli era tusobola okusaba ekiseera kyonna ka bube misana oba kiro. Bwe tuba tusaba Yakuwa, tuba bakakafu nti ajja kuwulira essaala zaffe ne bwe tuba nga tusabye mu kasirise.—Nekkemiya 2:1-6.

11. Ebimu ku bintu bye tuyinza okusaba Yakuwa bye biruwa?

11 Bintu ki bye tuyinza okusaba Yakuwa? Tusobola okusaba ekintu kyonna ekituukagana n’ebyo by’ayagala. Bayibuli egamba nti: “Bwe tusaba ekintu kyonna ekituukagana n’ebyo by’ayagala, atuwulira.” (1 Yokaana 5:14) Tusobola okusaba ebintu ebitukwatako ffe kinnoomu? Yee, tusobola. Bwe tuba tusaba Yakuwa tuba ng’aboogera ne mukwano gwaffe ow’oku lusegere. Tusobola okutegeeza Yakuwa ekintu kyonna ekituli ku mutima. (Zabbuli 62:8) Era tusobola okumusaba atuwe omwoyo gwe omutukuvu gutuyambe okukola ekituufu. (Lukka 11:13) Ate era tusobola okusaba Yakuwa atuwe amagezi tusobole okusalawo obulungi, era n’okumusaba okutuwa amaanyi tusobole okugumira ebizibu. (Yakobo 1:5) Tusaanidde okusaba Yakuwa atusonyiwe ebibi byaffe. (Abeefeso 1:3, 7) Ate era tusaanidde okusabira abalala, nga mw’otwalidde ab’omu maka gaffe ne bakkiriza bannaffe.—Ebikolwa 12:5; Abakkolosaayi 4:12.

12. Biki bye tusaanidde okukulembeza mu ssaala zaffe?

12 Biki bye tusaanidde okukulembeza mu ssaala zaffe? Tusaanidde okukulembeza Yakuwa n’ebyo by’ayagala. Ate era tusaanidde okumwebaza okuviira ddala ku ntobo y’emitima gyaffe olw’ebyo byonna by’atukolera. (1 Ebyomumirembe 29:10-13) Essaala Yesu gye yayigiriza abagoberezi be etuyamba okutegeera obulungi ensonga eyo. (Soma Matayo 6:9-13.) Yagamba tusooke tusabe nti erinnya lya Katonda litukuzibwe. Ate era yatugamba tusabe Obwakabaka bwa Katonda bujje ne by’ayagala bikolebwe mu nsi yonna. Yesu yalaga nti bwe tumala okusaba ebintu ebyo ebikulu ennyo, awo tuba tusobola okusaba bye twetaaga. Bwe tukulembeza Yakuwa n’ebyo by’ayagala mu ssaala zaffe, kiba kiraga ekyo kye tusinga okutwala ng’ekikulu.

13. Essaala zaffe zisaanidde kuba mpanvu kwenkana wa?

13 Essaala zaffe zisaanidde kuba mpanvu kwenkana wa? Bayibuli tetubuulira. Essaala zaffe zisobola okuba ennyimpi oba empanvu, okusinziira ku mbeera. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okusaba essaala ennyimpi nga tugenda okulya, naye tuyinza okusaba essaala empanvu bwe tuba twebaza Yakuwa oba nga tumutegeeza ebitweraliikiriza. (1 Samwiri 1:12, 15) Tetusaanidde kusaba ssaala mpanvu olw’okwagala okweraga obwerazi, ng’abantu abamu mu kiseera kya Yesu bwe baakolanga. (Lukka 20:46, 47) Essaala ng’ezo tezisanyusa Yakuwa. Yakuwa ky’ayagala kwe kuba nti tumusaba okuviira ddala ku ntobo y’omutima gwaffe.

14. Tusaanidde kusaba mirundi emeka, era ekyo kiraga ki ku Yakuwa?

14 Tusaanidde kusaba mirundi emeka? Yakuwa ayagala tumusabe obutayosa. Bayibuli etukubiriza ‘okunyiikirira okusaba,’ ‘n’okusabanga obutayosa.’ (Matayo 26:41; Abaruumi 12:12; 1 Abassessalonika 5:17) Yakuwa mwetegefu okutuwuliriza buli kiseera. Tusobola okumwebaza buli lunaku olw’okwagala kw’atulaga n’olw’ebyo by’atuwa. Ate era tusobola okumusaba okutuwa obulagirizi, okutuwa amaanyi, n’okutubudaabuda. Bwe tuba nga ddala tusiima enkizo gye tulina ey’okusaba Yakuwa, tujja kukozesa buli kakisa ke tufuna okumusaba.

15. Lwaki tusaanidde okugamba nti “amiina” nga tukomekkereza okusaba?

15 Lwaki tusaanidde okugamba nti “amiina” nga tukomekkereza okusaba? Ekigambo “amiina” kitegeeza, “mazima ddala” oba, “kibeere bwe kityo.” Bwe tugamba nti “amiina” kiba kiraga nti byonna bye twogedde mu ssaala tubitegeeza. (Zabbuli 41:13) Ate era Bayibuli eraga nti kiba kirungi okugamba nti “amiina,” mu kasirise oba mu ddoboozi eriwulikika, okukiraga nti tukkiriziganya n’ebyo oyo aba atukulembedde mu kusaba by’aba ayogedde.—1 Ebyomumirembe 16:36; 1 Abakkolinso 14:16.

ENGERI KATONDA GY’ADDAMU ESSAALA ZAFFE

16. Yakuwa addamu essaala zaffe? Nnyonnyola.

16 Yakuwa addamu essaala zaffe? Yee, aziddamu. Bayibuli emuyita Oyo “awulira okusaba.” (Zabbuli 65:2) Yakuwa awuliriza essaala z’obukadde n’obukadde bw’abantu abamusaba mu bwesimbu, era aziddamu mu ngeri ez’enjawulo.

17. Yakuwa akozesa atya bamalayika n’abaweereza be abali ku nsi okuddamu essaala zaffe?

17 Yakuwa akozesa bamalayika n’abaweereza be abali ku nsi okuddamu essaala zaffe. (Abebbulaniya 1:13, 14) Waliwo ebyokulabirako bingi eby’abantu abaasaba Katonda abayambe okutegeera Bayibuli, era waayitawo ekiseera kitono omu ku Bajulirwa ba Yakuwa n’abakyalira. Bayibuli eraga nti bamalayika beenyigira mu mulimu gw’okulangirira “amawulire amalungi” mu nsi yonna. (Soma Okubikkulirwa 14:6.) Ate era, bangi ku ffe twali tusabyeko Yakuwa atuyambe okuvvuunuka ekizibu kye twalina, Yakuwa n’akozesa Mukristaayo munnaffe okutuyamba.—Engero 12:25; Yakobo 2:16.

Yakuwa asobola okuddamu essaala zaffe ng’akozesa Mukristaayo munnaffe okutuyamba

18. Yakuwa akozesa atya omwoyo gwe omutukuvu ne Bayibuli okuddamu essaala zaffe?

18 Yakuwa era addamu essaala zaffe ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu. Bwe tusaba Yakuwa atuyambe okwaŋŋanga ekizibu, ayinza okukozesa omwoyo gwe omutukuvu okutuwa obulagirizi n’amaanyi bye twetaaga okukyaŋŋanga. (2 Abakkolinso 4:7) Ate era Yakuwa akozesa Bayibuli okuddamu essaala zaffe n’okutuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Bwe tusoma Bayibuli, tuyinza okufuna ebyawandiikibwa ebiyinza okutuyamba. Ate era bwe tuba mu nkuŋŋaana, Yakuwa ayinza okuleetera ow’oluganda okwogera ekintu ekinaatuyamba okuvvuunuka ekizibu kye tuba tulina, oba ayinza okuleetera omukadde mu kibiina okukozesa Bayibuli okutuyamba.—Abaggalatiya 6:1.

19. Lwaki oluusi tuyinza okulowooza nti Yakuwa tazzeemu ssaala zaffe?

19 Emirundi egimu tuyinza okwebuuza nti, ‘Lwaki Yakuwa aluddewo okuddamu essaala zange?’ Naye tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa amanyi ekiseera ekituufu n’engeri entuufu ey’okuddamu essaala zaffe. Amanyi bulungi bye twetaaga. Kiyinza okuba nga kitwetaagisa okweyongera okusaba okumala ekiseera okulaga nti bye tusaba tubyetaagira ddala era n’okumulaga nti tulina okukkiriza okwa nnamaddala. (Lukka 11:5-10) Oluusi Yakuwa addamu essaala zaffe mu ngeri gye tuba tutasuubira. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okumusaba atuyambe okuvvuunuka ekizibu ekimu, naye mu kifo ky’okuggyawo ekizibu ekyo, n’atuwa amaanyi okukigumira.—Soma Abafiripi 4:13.

20. Lwaki tusaanidde okunyiikirira okusaba Yakuwa?

20 Nga tulina enkizo ya kitalo nnyo okusaba Yakuwa! Tuli bakakafu nti ajja kuwuliriza essaala zaffe. (Zabbuli 145:18) Gye tukoma okusaba Yakuwa okuviira ddala ku mutima, n’enkolagana yaffe naye gy’ekoma okunywera.