Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA EY’EKKUMI N’OMWENDA

Sigala ng’Olina Enkolagana ey’Oku Lusegere ne Yakuwa

Sigala ng’Olina Enkolagana ey’Oku Lusegere ne Yakuwa

1, 2. Wa we tuyinza kufuna obuddukiro leero?

KUBA akafaananyi ng’oli mu luguudo otambula era nga kibuyaga ow’amaanyi akunta. Ebire bitandika okukwata era n’eggulu litandika okumyansa n’okubwatuka. Wayitawo akaseera katono enkuba n’etandika okutonnya. Otandika okunoonya aw’okweggama. Ng’osanyuka nnyo bw’ofuna aw’okweggama awalungi!

2 N’embeera gye tulimu leero efaananako bw’etyo. Embeera y’ensi yeeyongera kwonooneka. Oyinza okwebuuza nti, ‘Wa we nnyinza okufuna obuddukiro?’ Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Ndigamba Yakuwa nti: ‘Ggwe kiddukiro kyange era ekigo kyange, ggwe Katonda wange gwe nneesiga.’” (Zabbuli 91:2) Awatali kubuusabuusa, Yakuwa asobola okutuyamba okwaŋŋanga ebizibu bye twolekagana nabyo leero, era atusuubiza n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi.

3. Kiki kye twetaaga okukola Yakuwa bw’aba ow’okutuyamba mu biseera ebizibu?

3 Yakuwa ayinza atya okuba ekiddukiro kyaffe? Asobola okutuyamba okuvvuunuka oba okugumira ekizibu kyonna kye tuba nakyo, era wa maanyi nnyo okusinga omuntu yenna ayinza okwagala okututuusaako akabi. Ne bwe tutuukibwako ekintu ekibi kati, tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kuggyawo ebizibu byonna mu biseera eby’omu maaso. Bayibuli etukubiriza “okwekuumira mu kwagala kwa Katonda.” (Yuda 21) Naye Yakuwa bw’aba ow’okutuyamba mu biseera ebizibu, tulina okusigala nga tulina enkolagana ey’oku lusegere naye. Ekyo tuyinza kukikola tutya?

LAGA NTI OSIIMA OKWAGALA KATONDA KW’ATULAGA

4, 5. Yakuwa akiraze atya nti atwagala nnyo?

4 Okusobola okusigala nga tulina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, tulina okutegeera engeri gy’alazeemu nti atwagala nnyo. Lowooza ku ebyo byonna Yakuwa by’atukoledde. Yatuwa ensi erabika obulungi era n’agiteekamu ebimera n’ebisolo ebirabika obulungi. Ate era yatuwa emmere ewooma n’amazzi ag’okunywa amayonjo. Okuyitira mu Bayibuli, Yakuwa atuyambye okutegeera erinnya lye n’engeri ze ennungi ennyo. N’ekisingira ddala obukulu, yakiraga nti atwagala nnyo bwe yatuma ku nsi Omwana we, Yesu, gw’ayagala ennyo atufiirire. (Yokaana 3:16) Era olw’okuba Yesu yatufiirira, kati tulina essuubi nti mu biseera eby’omu maaso tujja kufuna obulamu obutaggwaawo.

5 Yakuwa yateekawo Obwakabaka bwa Masiya, ng’eno ye gavumenti ey’omu ggulu ejja okuggyawo okubonaabona kwonna mu kiseera ekitali kya wala. Obwakabaka obwo bujja kufuula ensi yonna olusuku lwa Katonda, abantu mwe bajja okubeera emirembe gyonna nga basanyufu era nga bali mu mirembe. (Zabbuli 37:29) Engeri endala Yakuwa gy’alazeemu nti atwagala nnyo kwe kutuyigiriza engeri esingayo obulungi ey’okutambuzaamu obulamu bwaffe. Ate era ayagala tumusabe, era mwetegefu okuwuliriza essaala zaffe. Mazima ddala, Yakuwa akiraze nti atwagala nnyo.

6. Olw’okuba Yakuwa akiraze nti akwagala nnyo, kiki ky’osaanidde okukola?

6 Olw’okuba Yakuwa akiraze nti akwagala nnyo, kiki ky’osaanidde okukola? Mulage nti osiima byonna by’akukoledde. Kya nnaku nti leero abantu bangi tebasiima. Bwe kityo bwe kyali ne mu kiseera Yesu we yabeerera ku nsi. Lumu Yesu yawonya abagenge kkumi, naye omu yekka ye yamwebaza. (Lukka 17:12-17) Naffe twagala okuba ng’omusajja oyo eyeebaza Yesu. Bulijjo twagala tulage nti tusiima ebyo Yakuwa by’atukoledde.

7. Yakuwa tusaanidde kumwagala kwenkana wa?

7 Ate era tusaanidde okulaga Yakuwa nti tumwagala. Yesu yagamba abayigirizwa be nti balina okwagala Yakuwa n’omutima gwabwe gwonna, n’obulamu bwabwe bwonna, era n’amagezi gaabwe gonna. (Soma Matayo 22:37.) Ekyo kitegeeza ki?

8, 9. Tuyinza tutya okulaga Yakuwa nti tumwagala?

8 Kimala okugamba obugambi nti twagala Yakuwa? Nedda. Bwe tuba nga ddala twagala Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna, n’obulamu bwaffe bwonna, era n’amagezi gaffe gonna, tujja kukiraga mu bikolwa. (Matayo 7:16-20) Bayibuli ekiraga bulungi nti bwe tuba twagala Katonda, tujja kukwata ebiragiro bye. Olowooza ekyo kizibu nnyo? Si kizibu kubanga ‘ebiragiro bya Yakuwa tebizitowa.’—Soma 1 Yokaana 5:3.

9 Bwe tugondera Yakuwa, tuba basanyufu era tuba n’obulamu obweyagaza. (Isaaya 48:17, 18) Naye kiki ekinaatuyamba okusigala nga tulina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa? Ka tulabe.

WEEYONGERE OKUNYWEZA ENKOLAGANA YO NE YAKUWA

10. Lwaki osaanidde okweyongera okuyiga ebikwata ku Yakuwa?

10 Wafuuka otya mukwano gwa Yakuwa? Okuyiga Bayibuli kwakusobozesa okweyongera okumanya ebikwata ku Yakuwa, bw’otyo n’ofuuka mukwano gwe. Omukwano guno guyinza okugeraageranyizibwa ku muliro gw’otandyagadde guzikire. Ng’omuliro bwe gwetaaga okuseesebwamu okusobola okusigala nga gwaka, naawe weetaaga okweyongera okuyiga ebikwata ku Yakuwa okusobola okunyweza enkolagana gy’olina naye.—Engero 2:1-5.

Ng’omuliro bwe gwetaaga okuseesebwamu okusobola okusigala nga gwaka, naawe weetaaga okubaako ky’okolawo okwagala kw’olina eri Yakuwa kuleme kuwola

11. Ebyo by’onooyiga mu Bayibuli binaakukwatako bitya?

11 Bw’oneeyongera okuyiga Bayibuli, ojja kuyiga ebintu ebijja okukukwatako ennyo. Weetegereze engeri abayigirizwa ba Yesu babiri gye baakwatibwako nga Yesu abannyonnyola obunnabbi bwa Bayibuli. Baagamba nti: “Emitima gyaffe tegyakwatiddwako nnyo bwe yabadde ng’ayogera naffe mu kkubo era ng’atunnyonnyola Ebyawandiikibwa?”—Lukka 24:32.

12, 13. (a) Kiki ekiyinza okutuuka ku kwagala kwe tulina eri Katonda? (b) Kiki kye tusaanidde okukola okwagala kwe tulina eri Katonda kuleme kuwola?

12 Ng’abayigirizwa abo bwe baakwatibwako ennyo nga bategedde Ebyawandiikibwa, naawe oyinza okuba nga wakwatibwako nnyo bwe watandika okuyiga Bayibuli. Kino kyakuyamba okumanya Yakuwa n’okumwagala. Okwagala okwo tewandyagadde kuwole.—Matayo 24:12.

13 Bw’omala okufuuka mukwano gwa Katonda, oba olina okufuba ennyo okunyweza omukwano ogwo. Olina okweyongera okuyiga ebimukwatako n’ebikwata ku Yesu, era n’okufumiitiriza ku ebyo by’oyiga ne ku ngeri gy’oyinza okubikolerako mu bulamu bwo. (Yokaana 17:3) Bw’oba osoma Bayibuli, weebuuze: ‘Kino kinjigiriza ki ku Yakuwa Katonda? Lwaki nsaanidde okumwagala n’omutima gwange gwonna n’obulamu bwange bwonna?’—1 Timoseewo 4:15.

14. Okusaba kutuyamba kutya okunyweza omukwano gwaffe ne Yakuwa?

14 Bw’oba olina mukwano gwo ow’oku lusegere, oyogera naye obutayosa, era ekyo kyongera okunyweza omukwano gwammwe. Mu ngeri y’emu, bwe tusaba Yakuwa obutayosa, kyongera okunyweza omukwano gwaffe. (Soma 1 Abassessalonika 5:17.) Okusaba kirabo kya muwendo okuva eri Kitaffe ow’omu ggulu. Bulijjo tusaanidde okwogera naye nga bye twogera biviira ddala ku mutima. (Zabbuli 62:8) Tetusaanidde kusaba nga tuddiŋŋana ebigambo bye twakwata obukusu, wabula tusaanidde okutegeeza Yakuwa ebyo ebituli ku mutima. Mu butuufu, bwe tuneeyongera okuyiga Bayibuli n’okusaba okuviira ddala ku mitima gyaffe, omukwano gwaffe ne Yakuwa gujja kusigala nga munywevu.

OKUBUULIRAKO ABALALA EBIKWATA KU YAKUWA

15, 16. Otwala otya omulimu gw’okubuulira?

15 Ate era bwe tuba twagala okusigala nga tulina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, tulina okubuulira abalala ebikwata ku nzikiriza yaffe. Okubuulirako abalala ebikwata ku Yakuwa nkizo ya kitalo nnyo. (Lukka 1:74) Ate era buvunaanyizibwa Yesu bwe yawa Abakristaayo bonna ab’amazima. Buli omu ku ffe asaanidde okubuulira amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Ekyo okikola?—Matayo 24:14; 28:19, 20.

16 Pawulo yatwala omulimu gw’okubuulira ng’ekintu eky’omuwendo ennyo; yaguyita ‘kya bugagga.’ (2 Abakkolinso 4:7) Okubuulira abalala ebikwata ku Yakuwa n’ekigendererwa kye gwe mulimu ogusingirayo ddala obukulu gw’osobola okukola. Y’emu ku ngeri gy’oyinza okuweerezaamu Yakuwa, era asiima nnyo ebyo by’omukolera. (Abebbulaniya 6:10) Ate era okubuulira kukuganyula ggwe kennyini awamu n’abo b’obuulira, kubanga kukuyamba ggwe n’abo b’obuulira okufuna enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa n’okuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo. (Soma 1 Abakkolinso 15:58.) Waliwo omulimu omulala ogusobola okukuleetera essanyu n’obumativu ng’ogwo?

17. Lwaki omulimu gw’okubuulira gwetaaga okukolebwa mu bwangu?

17 Omulimu gw’okubuulira gwetaaga okukolebwa mu bwangu. N’olwekyo, tusaanidde ‘okubuulira ekigambo n’obunyiikivu.’ (2 Timoseewo 4:2) Abantu beetaaga okuwulira ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Bayibuli egamba nti: “Olunaku lwa Yakuwa olukulu luli kumpi okutuuka! Luli kumpi okutuuka era lwanguwa nnyo!” Enkomerero ‘tejja kulwa!’ (Zeffaniya 1:14; Kaabakuuku 2:3) Tewali kubuusabuusa nti mu bbanga eritali lya wala, Yakuwa ajja kuzikiriza ensi ya Sitaani. Naye ng’ekyo tekinnabaawo, abantu beetaaga okulabulwa basobole okusalawo obanga banaaweereza Yakuwa.

18. Lwaki tusaanidde okusinza Yakuwa nga tuli wamu ne Bakristaayo bannaffe?

18 Yakuwa ayagala tumusinze nga tuli wamu ne Bakristaayo bannaffe. Bayibuli egamba nti: “Ka buli omu ku ffe alowoozenga ku munne, okumukubiriza okwagala n’okukola ebikolwa ebirungi, nga tetulekaayo kukuŋŋaananga wamu ng’abamu bwe bakola, naye nga tuzziŋŋanamu amaanyi, naddala nga bwe mulaba nti olunaku lusembedde.” (Abebbulaniya 10:24, 25) Tusaanidde okufuba okubangawo mu nkuŋŋaana zonna. Bwe tubaawo mu nkuŋŋaana tuzziŋŋanamu amaanyi.

19. Kiki ekinaatuyamba okwagala baganda baffe ne bannyinaffe Abakristaayo?

19 Bw’onoogenda mu nkuŋŋaana, ojja kusangayo abantu abalungi abajja okukuyamba okusinza Yakuwa mu ngeri entuufu. Ojja kusangayo ab’oluganda ab’enjawulo abafuba, nga ggwe, okukola Yakuwa by’ayagala. Ate era nabo tebatuukiridde nga ggwe, era bakola ensobi. N’olwekyo, bwe basobya, basonyiwe. (Soma Abakkolosaayi 3:13.) Bulijjo singa kulowooza ku ngeri ennungi baganda bo ne bannyoko Abakristaayo ze balina, kubanga ekyo kijja kukuyamba okubaagala n’okwongera okunyweza enkolagana yo ne Yakuwa.

OBULAMU OBWA NNAMADDALA

20, 21. “Obulamu obwa nnamaddala” bwe buluwa?

20 Yakuwa ayagala mikwano gye bonna okuba n’obulamu obusingayo obulungi. Bayibuli eyigiriza nti obulamu bwe tujja okufuna mu biseera eby’omu maaso bujja kuba bwa njawulo nnyo ku bulamu bwe tulina kati.

Yakuwa ayagala ofune “obulamu obwa nnamaddala.” Onoobufuna?

21 Mu biseera eby’omu maaso, tetujja kuwangaala myaka 70 oba 80 gyokka, wabula tujja kubeerawo emirembe gyonna. Tujja kunyumirwa “obulamu obutaggwaawo” nga tuli balamu bulungi, nga tuli mu mirembe, era nga tuli basanyufu mu lusuku lwa Katonda olulabika obulungi. Obwo bwe bulamu Bayibuli bw’eyita “obulamu obwa nnamaddala.” Yakuwa asuubiza okutuwa obulamu obwo obwa nnamaddala, naye tulina okukola kyonna ekisoboka kati ‘okubunyweza.’—1 Timoseewo 6:12, 19.

22. (a) Tuyinza tutya “okunyweza obulamu obwa nnamaddala”? (b) Lwaki tewali kye tuyinza kukola kitugwanyiza bulamu butaggwaawo?

22 Tuyinza tutya “okunyweza obulamu obwa nnamaddala”? Tusobola okubunyweza nga ‘tukola ebirungi’ era ‘nga tuba bagagga mu bikolwa ebirungi.’ (1 Timoseewo 6:18) Kino kitegeeza nti tulina okukolera ku ebyo bye tuyiga mu Bayibuli. Kyokka, okufuna obulamu obwa nnamaddala tekijja kusinziira ku kufuba kwaffe. Tewali kye tuyinza kukola kitugwanyiza kufuna bulamu butaggwaawo. Obulamu obutaggwaawo kirabo Yakuwa ky’awa abaweereza be abeesigwa ku bwereere, era kye kimu ku bintu ebiraga ‘ekisa kye eky’ensusso.’ (Abaruumi 5:15) Kitaffe ow’omu ggulu ayagala nnyo okuwa abaweereza be abeesigwa ekirabo kino.

23. Lwaki weetaaga okusalawo obulungi kati?

23 Kati weebuuze, ‘Nsinza Katonda mu ngeri entuufu?’ Singa okiraba nti waliwo enkyukakyuka z’olina okukola, zikole mu bwangu. Bwe twesiga Yakuwa era ne tufuba okumugondera, Yakuwa ajja kuba kiddukiro kyaffe. Ajja kukuuma abaweereza be abeesigwa mu nnaku zino ez’enkomerero y’ensi ya Sitaani embi. Ate era Yakuwa ajja kutusobozesa okubeera mu Lusuku lwe emirembe gyonna, nga bwe yasuubiza. Awatali kubuusabuusa, osobola okufuna obulamu obwa nnamaddala singa osalawo bulungi kati!