Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIBUUZO 4

Kiki Kye Nsaanidde Okukola nga Nsobezza?

Kiki Kye Nsaanidde Okukola nga Nsobezza?

LWAKI KIKULU?

Bw’okkiriza ensobi zo kikufuula omuntu ow’obuvunaanyizibwa era eyeesigika.

KIKI KYE WANDIKOZE?

Lowooza ku mbeera eno: Tim bw’aba azannya ne mikwano gye, akasuka omupiira ne gwasa endabirwamu y’emmotoka ya muliraanwa waabwe.

Singa ggwe obadde Tim, kiki kye wandikoze?

LOWOOZA KU KINO!

OSOBOLA OKUKOLA EKIMU KU BINO EBISATU:

  1. Okudduka.

  2. Okunenya omuntu omulala.

  3. Okubuulira muliraanwa ky’okoze, era n’omugamba nti ogenda kusasula ky’oyonoonye.

Oyinza okwagala okudduka. Naye waliwo ensonga nnyingi lwaki wandibadde okkiriza ensobi zo, ka kibe nti oyasizza ndabirwamu oba ng’okoze ensobi endala yonna.

ENSONGA SSATU LWAKI WANDIKKIRIZZA ENSOBI ZO

  1. Kye kituufu okukola.

    Bayibuli egamba nti: “Twagala okubeera abeesigwa mu bintu byonna.”Abebbulaniya 13:18.

  2. Abo abakkiriza ensobi zaabwe batera okusonyiyibwa.

    Bayibuli egamba nti: “Oyo abikka ku bibi bye ebintu tebijja kumugendera bulungi, naye buli ayatula ebibi bye n’abireka ajja kusaasirwa.”Engero 28:13.

  3. N’ekisinga obukulu, kisanyusa Katonda.

    Bayibuli egamba nti: “Yakuwa akyayira ddala omuntu omukuusa, naye abagolokofu abafuula mikwano gye egy’oku lusegere.”Engero 3:32.

Lumu Karina ow’emyaka 20 yali avuga emmotoka endiima abapoliisi ne bamuwa ekibawula naye n’akikweka taata we. Kyokka ekiseera kyatuuka taata we n’akimanya. Karina agamba nti: “Nga wayise omwaka nga gumu, taata wange yalaba ekibaluwa ekyo nga kiriko erinnya lyange, era kyandeetera ebizibu bingi!”

Eky’okuyiga: Karina agamba nti, “Bw’okweka ensobi zo, oba oyongera bizibu ku bizibu. Era oluvannyuma omala n’ozisasulira!”

YIGIRA KU NSOBI ZO

Bayibuli egamba nti: “Emirundi mingi ffenna tusobya.” (Yakobo 3:2) Nga bwe tulabye, bwe tukkiriza ensobi zaffe kiraga nti tuli beetoowaze era nti tuli bakulu mu birowoozo. Ate kikulu okukkiriza ensobi zaffe amangu ddala nga twakazikola.

Ekirala, tusaanidde okuyigira ku nsobi zaffe. Omuwala ayitibwa Vera agamba nti: “Buli nsobi gye nkola nfuba okubaako kye njiyigirako nneme kuddamu kugikola.” Oyinza otya okuyigira ku nsobi zo?

Weeyazika eggaali ya taata wo naye n’eyonooneka. Kiki kye wandikoze?

  • Osirika busirisi ng’osuubira nti taata wo tajja kukimanya.

  • Obuulira taata wo ekyabaddewo.

  • Obuulira taata wo ekyabaddewo naye n’obaako omulala gwe weekwasa.

Ogwa ekigezo olw’okuba tewafaayo kusoma bitabo. Kiki kye wandikoze?

  • Weekwasa nti ekigezo kibadde kizibu.

  • Okkiriza nti obuzibu bwavudde ku ggwe.

  • Ogamba nti omusomesa akuwalana.

Bw’omalira ebirowoozo byo ku nsobi ze wakola emabega oba ng’omuntu avuga emmotoka ng’atunudde mu kalabirwamu akalaba eby’emabega mu kifo ky’okutunula gy’alaga

Kati fumiitiriza ku mbeera ezo ebbiri ezoogeddwako era weeteeke mu bigere bya (1) taata wo oba (2) omusomesa wo. Kiki taata wo n’omusomesa wo kye bandirowoozezza singa okkiririzaawo ensobi yo? Kiki kye bandirowoozezza singa ogezaako okukweka ensobi yo?

Kati lowooza ku nsobi emu gye wakola omwaka oguwedde era oddemu ebibuuzo bino wammanga.

Nsobi ki gye wakola? Era kiki kye wakolawo oluvannyuma?

  • Nnagikweka.

  • Nnagissa ku muntu mulala.

  • Nnagikkiririzaawo.

Bwe kiba nti tewakkiriza nsobi yo, oluvannyuma wawulira otya?

  • Nnawulira bulungi olw’okuba tewali yagimanyaako.

  • Omutima gwannumiriza kubanga nnali soogedde mazima.

Ngeri ki ennungi gye wandikuttemu embeera eyo?

Kiki kye wayigira ku nsobi eyo?

OLOWOOZA OTYA?

Lwaki abantu abamu batya okukkiriza ensobi zaabwe?

Abalala banaakutwala batya singa buli kiseera ogezaako okukweka ensobi zo; ate banaakutwala batya singa okkiriza ensobi zo?Lukka 16:10.