Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 2

Katonda Yatonda Omusajja n’Omukazi Abaasooka

Katonda Yatonda Omusajja n’Omukazi Abaasooka

Yakuwa yasimba olusuku mu kifo ekiyitibwa Edeni. Olusuku olwo lwalimu ebimuli bingi, emiti, n’ensolo. Oluvannyuma Katonda yakola omuntu eyasooka, Adamu, okuva mu nfuufu, n’afuuwa omuka mu nnyindo ze. Omanyi ekyaddirira? Omuntu yafuuka omulamu! Yakuwa yawa Adamu omulimu gw’okulabirira olusuku, era yamugamba n’okutuuma ensolo zonna amannya.

Yakuwa yawa Adamu etteeka ekkulu ennyo. Yamugamba nti: ‘Osobola okulya ku bibala by’emiti gyonna, okuggyako omuti gumu gwokka. Bw’onoolya ku bibala by’omuti ogwo, ojja kufa.’

Oluvannyuma Yakuwa yagamba nti: ‘Ŋŋenda kukolera Adamu omuyambi.’ Yakuwa yaleetera Adamu otulo tungi, n’amuggyamu olubiriizi lumu n’alukolamu omukazi. Omukazi oyo yali ayitibwa Kaawa. Adamu ne Kaawa be bafumbo abaasooka. Adamu yawulira atya ng’afunye omukyala? Yasanyuka nnyo era n’agamba nti: ‘Laba Yakuwa ky’akoze okuva mu lubiriizi lwange! Kati nfunye omuntu alinga nze.’

Yakuwa yagamba Adamu ne Kaawa okuzaala abaana bajjuze ensi. Yali ayagala bakolere wamu bafuule ensi yonna olusuku olulabika obulungi, ng’olusuku Edeni. Naye ekyo tekyasoboka. Lwaki? Tujja kumanya ebisingawo mu ssuula eddako.

“Oyo eyabatonda ku lubereberye yatonda omusajja n’omukazi.”​—Matayo 19:4