Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 3

Adamu ne Kaawa Baajeemera Katonda

Adamu ne Kaawa Baajeemera Katonda

Lumu Kaawa bwe yali yekka, omusota gwayogera naye. Gwamugamba nti: ‘Kituufu nti Katonda yabagaana okulya ku miti gyonna egy’omu lusuku?’ Kaawa yaguddamu nti: ‘Tusobola okulya ku miti gyonna egy’omu lusuku, okuggyako omuti gumu gwokka. Singa tulya ku bibala by’omuti ogwo tujja kufa.’ Omusota gwamugamba nti: ‘Bwe munaagulyako temujja kufa, wabula mujja kuba nga Katonda.’ Ekyo kyali kituufu? Nedda, obwo bwali bulimba. Naye Kaawa yakkiriza ebyo omusota bye gwamugamba. Kaawa bwe yeeyongera okutunuulira ebibala by’omuti ogwo, yawulira ng’ayagala kubiryako. Yalya ku kibala ky’omuti ogwo n’awaako ne ku Adamu. Adamu yali akimanyi nti bwe bandijeemedde Katonda, bandifudde. Wadde kyali kityo, Adamu yalya ku kibala ekyo.

Ku lunaku olwo lwennyini akawungeezi, Yakuwa yayogera ne Adamu ne Kaawa. Yababuuza ensonga lwaki baali bamujeemedde. Kaawa yeekwasa musota ate ye Adamu ne yeekwasa Kaawa. Olw’okuba Adamu ne Kaawa baajeemera Yakuwa, Yakuwa yabagoba mu lusuku. Okusobola okukakasa nti tebaddayo mu lusuku, Yakuwa yateeka bamalayika n’ekitala ekyaka omuliro mu kkubo erigenda mu lusuku.

Ate era Yakuwa yagamba nti n’oyo eyalimba Kaawa yali wa kubonerezebwa. Omusota si gwe gwayogera ne Kaawa. Yakuwa teyatonda misota nga gyogera. Malayika omu omubi ye yayogera ng’ayitira mu musota ogwo. Ekyo yakikola okubuzaabuza Kaawa. Malayika oyo ayitibwa Sitaani Omulyolyomi. Mu biseera eby’omu maaso, Yakuwa ajja kuzikiriza Sitaani aleme kuddamu kulimbalimba bantu kukola bintu bibi.

“Omulyolyomi . . . okuva ku lubereberye mussi, era teyanywerera mu mazima kubanga amazima tegaamuliimu.”​—Yokaana 8:44