Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 4

Obusungu Bwamuleetera Okutta

Obusungu Bwamuleetera Okutta

Adamu ne Kaawa bwe baava mu lusuku Edeni, baazaala abaana bangi. Omwana gwe baasooka okuzaala yali ayitibwa Kayini era yali mulimi. Omwana gwe baddako okuzaala yali ayitibwa Abbeeri era yali mulunzi wa ndiga.

Lumu Kayini ne Abbeeri baawaayo ebiweebwayo eri Yakuwa. Ekiweebwayo kye ki? Kiba kirabo eky’enjawulo omuntu ky’awaayo eri Katonda. Yakuwa yasanyukira ekiweebwayo Abbeeri kye yawaayo naye ekya Kayini teyakisanyukira. Ekyo kyanyiiza nnyo Kayini. Yakuwa yalabula Kayini nti obusungu bwali buyinza okumuviirako okukola ekintu ekibi. Naye Kayini teyawuliriza.

Mu kifo ky’ekyo, Kayini yagamba Abbeeri nti: ‘Jjangu tugende ffembi ku ttale.’ Bwe baali eyo bokka, Kayini yatta muganda we Abbeeri. Kiki Yakuwa kye yakolawo? Yakuwa yabonereza Kayini n’amugoba okuva awaali abantu be. Kayini yali tagenda kuddamu kuba kumpi na bantu be abo.

Ekyo kituyigiriza ki? Ebintu bwe biba tebigenda nga bwe twagala, tuyinza okusunguwala. Naye singa tusunguwala oba singa wabaawo akiraba nti tusunguwadde era n’atulabula, tulina okufuba okufuga obusungu bwaffe tuleme kukola kintu kibi.

Olw’okuba Abbeeri yali ayagala Yakuwa, yakola ebirungi, era Yakuwa akyamujjukira. Yakuwa ajja kumuzuukiza abeere ku nsi eneeba efuuliddwa ekifo ekirabika obulungi.

‘Sooka ogende otabagane ne muganda wo, oluvannyuma oddeyo oweeyo ekirabo kyo.’​—Matayo 5:24