Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 6

Abantu Munaana Be Baawonawo

Abantu Munaana Be Baawonawo

Nuuwa n’ab’omu maka ge baayingira mu lyato awamu n’ensolo. Yakuwa yaggalawo oluggi lw’eryato era enkuba n’etandika okutonnya. Enkuba yatonnya nnyo amazzi ne gaba mangi, eryato ne litandika okuseeyeeya. Ensi yonna yabuutikirwa amazzi. Abantu bonna abataayingira mu lyato baafa. Naye Nuuwa n’ab’omu maka ge tebaafa kubanga bo baali mu lyato. Nga bateekwa okuba nga baasanyuka nnyo olw’okugondera Yakuwa!

Enkuba yatonnya okumala ennaku 40 emisana n’ekiro, oluvannyuma n’ekya. Mpolampola amazzi gaatandika okukendeera. Ekiseera kyatuuka eryato ne lituula ku lusozi. Naye amazzi gaali gakyali mangi ku nsi, era Nuuwa n’ab’omu maka baamala ekiseera nga bakyali mu lyato.

Amazzi gaagenda gakendeera okutuusa lwe gaakalira. Nuuwa n’ab’omu maka ge baamala ebbanga erisukka mu mwaka nga bali mu lyato. Oluvannyuma Yakuwa yabagamba okufuluma eryato. Bwe baafuluma mu lyato baalinga abali mu nsi empya. Baasiima nnyo Yakuwa olw’okubawonyaawo era ekyo baakiraga nga bawaayo ekiweebwayo eri Yakuwa.

Yakuwa yasiima ekiweebwayo ekyo. Yasuubiza obutaddamu kuzikiriza bintu byonna ku nsi ng’akozesa amataba. Yassa musoke ku ggulu okuba akabonero akakakasa ekyo kye yasuubiza. Oyo ye musoke eyasooka okulabika ku ggulu. Wali olabye ku musoke?

Oluvannyuma Yakuwa yagamba Nuuwa n’ab’omu maka ge bazaale abaana bajjuze ensi.

‘Nuuwa yayingira mu lyato, naye abantu ne batafaayo okutuusa Amataba lwe gajja ne gabasaanyaawo bonna.’​—Matayo 24:38, 39