Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 7

Omunaala gw’e Babeeri

Omunaala gw’e Babeeri

Oluvannyuma lw’amataba, batabani ba Nuuwa ne bakyala baabwe baazaala abaana bangi. Abaana abo nabo baazaala, abantu ne beeyongera obungi ne basaasaanira mu bitundu by’ensi eby’enjawulo nga Yakuwa bwe yali abagambye.

Naye abantu abamu tebaagondera Yakuwa. Baagamba nti: ‘Ka tuzimbe ekibuga tusigale wano. Ka tuzimbe omunaala omuwanvu ennyo ogutuuka ku ggulu, tumanyibwe nnyo.’

Yakuwa teyasanyukira ekyo abantu abo kye baali bakola era yasalawo okubalemesa. Omanyi kye yakola? Yabaleetera okutandika okwogera ennimi ez’enjawulo. Olw’okuba buli omu yali takyategeera munne ky’agamba, baalekera awo okuzimba omunaala. Ekibuga kye baali bazimba kyatandika okuyitibwa Babeeri, ekitegeeza, “okutabulwatabulwa.” Abantu baasaasaana okuva mu kibuga ekyo ne bagenda mu bitundu by’ensi eby’enjawulo. Kyokka yonna yonna gye baagenda beeyongera okukola ebintu ebibi. Naye waaliwo abantu abaali baagala Yakuwa? Ekyo tujja kukiraba mu ssomo eriddako.

“Buli eyeegulumiza alitoowazibwa, naye buli eyeetoowaza aligulumizibwa.”​—Lukka 18:14