Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 8

Ibulayimu ne Saala Baagondera Katonda

Ibulayimu ne Saala Baagondera Katonda

Okumpi ne Babeeri waaliwo ekibuga ekiyitibwa Uli, era abantu b’omu Uli baali tebasinza Yakuwa. Baali basinza bakatonda bangi ab’obulimba. Naye mu Uli mwalimu omusajja eyali asinza Yakuwa. Omusajja oyo yali ayitibwa Ibulayimu.

Yakuwa yagamba Ibulayimu nti: ‘Vva mu nsi yo oleke ab’eŋŋanda zo ogende mu nsi gye nnaakulaga.’ Era Katonda yamusuubiza nti: ‘Ojja kufuuka eggwanga ddene, era okuyitira mu ggwe nja kukolera abantu bangi mu nsi yonna ebirungi.’

Ibulayimu yali tamanyi wa Yakuwa gye yali amugamba okugenda, naye yeesiga Yakuwa. Bwe kityo, Ibulayimu, mukyala we Saala, taata we Teera, ne Lutti omwana wa muganda we, baapakira ebintu byabwe ne bagenda.

Ibulayimu n’ab’omu maka ge we baatuukira mu nsi Yakuwa gye yali abagambye okugenda, Ibulayimu yalina emyaka 75. Ensi eyo yali eyitibwa Kanani. Nga bali eyo, Katonda yasuubiza Ibulayimu nti: ‘Ensi eno yonna gy’olaba nja kugiwa abaana bo.’ Naye Ibulayimu ne Saala baali bakaddiye ate nga tebalina baana. Kati Yakuwa yandisobodde atya okutuukiriza ekisuubizo ekyo?

“Olw’okukkiriza, Ibulayimu . . . yalaga obuwulize n’agenda mu kifo kye yali agenda okufuna ng’obusika; yagenda wadde nga yali tamanyi gy’alaga.”​—Abebbulaniya 11:8