Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 9

Bafuna Omwana!

Bafuna Omwana!

Ibulayimu ne Saala baali bamaze emyaka mingi nga bafumbo. Baali balese obulamu obweyagaza bwe baalimu mu Uli era nga kati babeera mu weema. Naye Saala teyeemulugunya kubanga yali yeesiga Yakuwa.

Saala yali ayagala nnyo okufuna omwana era yatuuka n’okugamba Ibulayimu nti: ‘Singa ozaala mu muweereza wange Agali omwana, omwana oyo ajja kuba ng’omwana wange ddala.’ Ekiseera kyatuuka Agali n’azaala omwana. Omwana ono yali ayitibwa Isimayiri.

Nga wayise emyaka mingi, Ibulayimu ne Saala baafuna abagenyi basatu. Ibulayimu yalina emyaka 99 ate nga Saala alina emyaka 89. Ibulayimu yayaniriza abagenyi abo n’abagamba okutuula wansi w’omuti abawe eby’okulya. Abagenyi abo baali baani? Baali bamalayika! Baagamba Ibulayimu nti: ‘Omwaka ogujja mu kiseera nga kino, ggwe ne mukyala wo mujja kuba mulina omwana ow’obulenzi.’ Saala yali munda mu weema ng’awuliriza. Saala yaseka n’agamba nti: ‘Nze akaddiye bwe nti nsobola okuzaala omwana?’

Omwaka ogwaddako, Saala yazaala omwana, nga malayika wa Yakuwa bwe yali asuubizza. Omwana oyo Ibulayimu yamutuuma Isaaka, ekitegeeza, “Enseko.”

Isaaka bwe yali wa myaka ng’etaano, Saala yalaba Isimayiri ng’ayiikiriza Isaaka. Saala yali tayagala mwana we atuukibweko kabi, era yagamba Ibulayimu agobe Agali ne Isimayiri. Mu kusooka, ekyo Ibulayimu yali tayagala kukikola. Naye Yakuwa yagamba Ibulayimu nti: ‘Wuliriza Saala ky’agamba. Nja kulabirira Isimayiri. Naye ebisuubizo byange bigenda kutuukirira okuyitira mu Isaaka.’

“Olw’okukkiriza, Saala naye yaweebwa amaanyi n’afuna olubuto, . . . kubanga yakitwala nti Oyo eyamusuubiza mwesigwa.”​—Abebbulaniya 11:11