Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 10

Mujjukire Mukazi wa Lutti

Mujjukire Mukazi wa Lutti

Lutti yali abeera ne Ibulayimu, muganda wa taata we, mu nsi ya Kanani. Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, Ibulayimu ne Lutti baafuna ebisolo bingi nnyo ne kiba nti ekitundu kye baali babeeramu kyali tekikyabamala. Ibulayimu yagamba Lutti nti: ‘Tetukyasobola kubeera wamu. Nkusaba olondewo gy’onoogenda. Bw’onoogenda ku luuyi olwa kkono, nze nga ŋŋenda ku lwa ddyo; bw’onoogenda ku luuyi olwa ddyo, nze nga ŋŋenda ku lwa kkono.’ Ibulayimu yali teyeerowoozaako yekka.

Lutti yalaba ekitundu ekyali kirabika obulungi ennyo ekyali okumpi n’ekibuga ekyali kiyitibwa Sodomu. Kyalimu amazzi mangi n’omuddo omulungi. Bw’atyo yalonda ekifo ekyo era ye n’ab’omu maka ge ne bagenda okubeera eyo.

Abantu b’omu Sodomu n’ab’omu kibuga Ggomola ekyali kiriraanyewo baali babi nnyo, era Yakuwa yasalawo okuzikiriza ebibuga ebyo. Naye Katonda yali ayagala okuwonyaawo Lutti n’ab’omu maka ge. Bwe kityo yatuma bamalayika babiri okugamba Lutti n’ab’omu maka ge nti: ‘Mwanguwe muve mu kibuga kino! Yakuwa agenda kukizikiriza.’

Naye Lutti yalwawo okuva mu kibuga. Olw’okuba yali yeekunya, malayika yamukwata ku mukono awamu ne mukyala we ne bawala be ababiri n’abafulumya mu kibuga, n’abagamba nti: ‘Mudduke muleme okufa era temutunula mabega. Bwe munaatunula emabega mujja kufa!’

Bwe baatuuka mu kibuga Zowaali, Yakuwa yatonnyesa omuliro n’amayinja agookya ku Sodomu ne ku Ggomola. Ebibuga ebyo ebibiri byasaanyizibwawo. Mukyala wa Lutti bwe yajeemera Yakuwa n’atunula emabega, yafuuka empagi y’omunnyo! Naye ye Lutti ne bawala be baawonawo kubanga baagondera Yakuwa. Kiteekwa okuba nga kyabanakuwaza nnyo okuba nti mukyala wa Lutti teyagondera Yakuwa. Naye era kyabasanyusa nnyo okuba nti baagondera Yakuwa.

“Mujjukire mukazi wa Lutti.”​—Lukka 17:32