Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 11

Okukkiriza kwa Ibulayimu Kugezesebwa

Okukkiriza kwa Ibulayimu Kugezesebwa

Ibulayimu yayigiriza omwana we Isaaka okwagala Yakuwa n’okumwesiga. Naye Isaaka bwe yali wa myaka nga 25, Yakuwa yagamba Ibulayimu okukola ekintu ekyali ekizibu ennyo. Kintu ki ekyo?

Katonda yagamba Ibulayimu nti: ‘Nkusaba otwale omwana wo omu yekka Isaaka omuweeyo nga ssaddaaka ku lusozi oluli mu kitundu ky’e Moliya.’ Ibulayimu yali tamanyi nsonga lwaki Yakuwa yali amugamba okukola ekintu ekyo. Wadde kyali kityo, yagondera Yakuwa.

Enkeera ku makya, Ibulayimu yatwala Isaaka awamu n’abaweereza be babiri ne batambula okugenda e Moliya. Nga wayise ennaku ssatu, baatandika okulengera ensozi z’e Moliya. Ibulayimu yagamba abaweereza be okubaako we basigala ye ne Isaaka bagende baweeyo ssaddaaka. Ibulayimu yatikka Isaaka enku ye n’akwata akambe ne beeyongerayo. Isaaka yabuuza taata we nti: ‘Ensolo gye tugenda okuwaayo eruwa?’ Ibulayimu yamuddamu nti: ‘Mwana wange, Yakuwa ajja kugituwa.’

Bwe baatuuka ku lusozi, baazimba ekyoto. Oluvannyuma, Ibulayimu yasiba Isaaka emikono n’amagulu n’amuteeka ku kyoto ekyo.

Ibulayimu yakwata akambe. Mu kiseera ekyo, malayika wa Yakuwa yayita Ibulayimu ng’asinziira mu ggulu n’amugamba nti: ‘Ibulayimu! Omulenzi tomukolako kabi! Kati nkirabye nti okkiririza mu Katonda kubanga obadde mwetegefu okuwaayo omwana wo.’ Awo Ibulayimu n’alaba endiga ensajja ng’amayembe gaayo gakwatidde mu biti. Amangu ago n’asumulula Isaaka era n’awaayo endiga eyo nga ssaddaaka.

Okuva olwo, Yakuwa yayita Ibulayimu mukwano gwe. Omanyi lwaki yamuyita mukwano gwe? Ibulayimu yakolanga ebyo byonna Yakuwa bye yamugambanga okukola, ne bwe yabanga tamanyi nsonga lwaki Yakuwa yali amugambye okubikola.

Yakuwa yaddamu okwogera ku kintu kye yasuubiza Ibulayimu. Yamugamba nti: ‘Nja kukuwa omukisa era abaana bo nja kubafuula bangi nnyo.’ Ekyo kyali kitegeeza nti okuyitira mu zzadde lya Ibulayimu, Yakuwa yandiwadde abantu bonna abalungi emikisa.

“Katonda yayagala nnyo ensi n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiririzaamu aleme okuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo.”​—Yokaana 3:16