Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 12

Yakobo Yafuna Obusika

Yakobo Yafuna Obusika

Isaaka yalina emyaka 40 we yawasiza Lebbeeka. Isaaka yali ayagala nnyo Lebbeeka. Ekiseera bwe kyayitawo, baazaala abaana ab’obulenzi babiri abalongo.

Omulongo omukulu yali ayitibwa Esawu ate omuto yali ayitibwa Yakobo. Esawu yali ayagala nnyo okubeera ku ttale era yali amanyi okuyigga. Naye Yakobo ye yali ayagala nnyo okubeera awaka.

Mu biseera ebyo, omusajja bwe yafanga, omwana we ow’obulenzi asinga obukulu ye yaweebwanga ekitundu ekisinga obunene eky’ettaka ne ssente ezisinga obungi. Ebyo bye byali biyitibwa obusika. Kyokka mu maka ga Isaaka obusika bwali buzingiramu n’ebintu Yakuwa bye yasuubiza Ibulayimu. Ebyo Yakuwa bye yasuubiza Ibulayimu, Esawu yali tabitwala ng’ebikulu naye ye Yakobo yali akimanyi nti byali bikulu nnyo.

Lumu Esawu yakomawo awaka ng’akooye nnyo ng’ava okuyigga. Yawunyirwa akawoowo k’emmere Yakobo gye yali afumba, n’agamba Yakobo nti: ‘Enjala enzita! Mpa ku mmere eyo!’ Yakobo yamuddamu nti: ‘Okukuwa ku mmere eno, sooka onkakase nti obusika bwo obumpadde.’ Esawu yamuddamu nti: ‘Obusika bungasa ki! Butwale. Enjala yannumye dda, mpa emmere ndye.’ Olowooza ekyo Esawu kye yakola kyali kya magezi? Nedda. Esawu yawaayo ekintu eky’omuwendo ennyo olw’essowaani y’emmere emu.

Isaaka bwe yali ng’akaddiye nnyo, ekiseera kyali kituuse awe mutabani we asinga obukulu omukisa. Naye Lebbeeka yayamba Yakobo, eyali omuto ku Esawu, okufuna omukisa ogwo. Esawu bwe yakimanya nti Yakobo gwe bawadde omukisa ogwo, yanyiiga nnyo era n’ayagala okumutta. Isaaka ne Lebbeeka balina kye baakolawo okuwonya Yakobo okuttibwa. Baamugamba nti: ‘Genda obeere ne kojja wo Labbaani okutuusa Esawu lw’alikkakkana.’ Yakobo yawuliriza bazadde be n’agenda.

“Kigasa ki omuntu okufuna ensi yonna naye n’afiirwa obulamu bwe? Kiki ddala omuntu ky’ayinza okuwaayo okununula obulamu bwe?”​—Makko 8:36, 37