Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 13

Emirembe Giddawo Wakati wa Yakobo ne Esawu

Emirembe Giddawo Wakati wa Yakobo ne Esawu

Yakuwa yasuubiza nti yandikuumye Yakobo nga bwe yakuuma Ibulayimu ne Isaaka. Yakobo yagenda n’abeera mu Kalani, n’awasa, n’azaala abaana bangi, era n’afuna eby’obugagga bingi.

Ekiseera kyatuuka Yakuwa n’agamba Yakobo nti: ‘Ddayo mu nsi gye wava.’ Bwe kityo Yakobo n’ab’omu maka ge baatandika okutambula olugendo oluwanvu okugenda mu nsi eyo. Bwe baali mu kkubo nga bagenda, waliwo abantu abajja ne basisinkana Yakobo ne bamugamba nti: ‘Muganda wo Esawu ajja era ali wamu n’abasajja 400!’ Yakobo yatya ng’alowooza nti Esawu yali ayagala kumutuusaako akabi awamu n’ab’omu maka ge. Yakobo yasaba Yakuwa n’amugamba nti: ‘Nkwegayiridde, nnyamba muganda wange aleme kunkolako kabi.’ Olunaku olwaddirira, Yakobo yasindikira Esawu endiga, embuzi, ente, eŋŋamira, n’endogoyi ng’ekirabo.

Ku olwo ekiro, Yakobo bwe yali yekka, yalaba malayika! Malayika yatandika okumeggana ne Yakobo. Yameggana naye okutuusiza ddala ku makya. Wadde nga Yakobo yalumizibwa, teyalekera awo kumeggana ne malayika. Malayika yamugamba nti: ‘Ndeka ŋŋende.’ Naye Yakobo yamugamba nti: ‘Nedda sijja kukuleka okutuusa ng’ompadde omukisa.’

Kyaddaaki malayika oyo yawa Yakobo omukisa. Ekyo kyalaga Yakobo nti Yakuwa yali tagenda kukkiriza Esawu kumutuusaako kabi.

Enkeera ku makya, Yakobo bwe yatunula mu maaso gye baali balaga, yalengera Esawu n’abasajja 400. Yakobo yakulemberamu ab’omu maka ge, n’avunnama ku ttaka emirundi musanvu nga bw’agenda asemberera muganda we. Esawu yadduka n’agwa muganda we Yakobo mu kifuba. Ab’oluganda abo ababiri baatulika ne bakaaba era ne bazzaawo emirembe wakati waabwe. Olowooza Yakuwa yawulira atya bwe yalaba engeri Yakobo gye yakwatamu embeera eyo?

Oluvannyuma Esawu ne Yakobo buli omu yagenda ewuwe. Yakobo yalina abaana ab’obulenzi 12. Amannya g’abaana abo ge gano: Lewubeeni, Simiyoni, Leevi, Yuda, Ddaani, Nafutaali, Gaadi, Aseri, Isakaali, Zebbulooni, Yusufu ne Benyamini. Oluvannyuma Yakuwa yakozesa Yusufu okununula abantu be. Omanyi ekyo engeri gye yakikolamu? Ka tulabe.

“Mweyongere okwagala abalabe bammwe era n’okusabira abo ababayigganya, mulyoke mubeere abaana ba Kitammwe ali mu ggulu.”​—Matayo 5:44, 45