Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 16

Yobu Yali Ani?

Yobu Yali Ani?

Mu nsi ya Uzzi, waaliyo omusajja eyali asinza Yakuwa. Omusajja oyo yali ayitibwa Yobu. Yali mugagga nnyo era ng’alina abantu bangi mu maka ge. Yali wa kisa era yayambanga abantu abaavu, abakazi abaali bafiiriddwaako abaami baabwe, n’abaana abataalina bazadde baabwe. Naye ekyo kitegeeza nti Yobu teyandifunye kizibu kyonna olw’okuba yali akola ebirungi?

Sitaani yali yeetegereza Yobu wadde ng’ekyo Yobu yali takimanyi. Yakuwa yagamba Sitaani nti: ‘Olabye omuweereza wange Yobu? Tewali n’omu ku nsi alinga ye. Ampuliriza era akola ebintu ebirungi.’ Sitaani yaddamu Yakuwa nti: ‘Yobu akugondera kubanga omukuuma era omuwa emikisa. Omuwadde ettaka n’ebisolo bingi. Ebintu ebyo byonna bimuggyeeko olabe obanga taalekere awo kukusinza.’ Yakuwa yaddamu Sitaani nti: ‘Osobola okugezesa Yobu, naye tomutta.’ Lwaki Yakuwa yakkiriza Sitaani okugezesa Yobu? Yakuwa yali mukakafu nti Yobu yandisigadde nga mwesigwa gy’ali.

Sitaani yaleetera Yobu ebizibu bingi okumugezesa. Yasooka n’asindika abantu abayitibwa Abaseba ne babba ente za Yobu zonna n’endogoyi. Oluvannyuma, omuliro gwasaanyaawo endiga za Yobu zonna. Abantu abalala abayitibwa Abakaludaaya bajja ne babba eŋŋamira ze zonna. Abaweereza be abaali balabirira ebisolo ebyo battibwa. Yobu yali akyali awo ne bamuleetera amawulire amalala amabi ennyo. Abaana be bwe baali ku kabaga, ennyumba gye baalimu yabagwira bonna ne bafa. Ebintu ebyo byanakuwaza nnyo Yobu naye teyalekera awo kusinza Yakuwa.

Sitaani yeeyongera okubonyaabonya Yobu. Yalwaza Yobu amayute ku mubiri gwe gwonna, era Yobu yali mu bulumi bwa maanyi. Yobu yali tamanyi nsonga lwaki yali afuna ebizibu ebyo byonna. Wadde kyali kityo, Yobu yeeyongera okusinza Yakuwa. Ebyo byonna Katonda yabiraba era yasanyukira nnyo Yobu.

Oluvannyuma, Sitaani yasindika abasajja basatu okugezesa Yobu. Baamugamba nti: ‘Kirabika olina ekibi kye wakola naye n’okikweka. Kati Katonda akubonereza.’ Yobu yabaddamu nti: ‘Sirina kibi kye nnakola.’ Kyokka Yobu yatandika okulowooza nti Yakuwa ye yali amuleetera ebizibu ebyo, era n’agamba nti Katonda teyali mwenkanya.

Waaliwo omuvubuka eyali ayitibwa Eriku eyali awo ng’awuliriza abasajja abo bye baali boogera. Bwe baamala okwogera, naye n’atandika okwogera. Yabagamba nti: ‘Byonna bye mwogedde bikyamu. Ffenna Yakuwa atusinga amagezi. Tasobola kukola kintu kyonna kibi. Alaba buli kimu era ayamba abantu nga bafunye ebizibu.’

Oluvannyuma Yakuwa yayogera ne Yobu n’amugamba nti: ‘Wali ludda wa bwe nnali nkola eggulu n’ensi? Lwaki ogamba nti siri mwenkanya? Oyogera naye tomanyi nsonga lwaki ebintu ebimu bibaawo.’ Yobu yakkiriza ensobi ye n’agamba nti: ‘Ndi mukyamu. Mbadde mpulira ebikukwatako, naye kati nkutegeera bulungi. Tewali ky’otosobola kukola. Nsonyiwa olw’ebyo bye njogedde.’

Yobu bwe yamala okugezesebwa, Yakuwa yamuwonya era n’amuwa ebintu bingi okusinga bye yalina mu kusooka. Yobu yawangaala nnyo era yali musanyufu. Yakuwa yawa Yobu emikisa olw’okuba Yobu yamuwuliriza ne mu mbeera enzibu ennyo. Naawe onooba nga Yobu, ne weeyongera okusinza Yakuwa, embeera k’ebe nzibu etya?

“Mwawulira ku bugumiikiriza bwa Yobu era mwalaba Yakuwa bye yamukolera oluvannyuma.”​—Yakobo 5:11