Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 17

Musa Yasalawo Okuweereza Yakuwa

Musa Yasalawo Okuweereza Yakuwa

Bwe baali mu Misiri, abantu abaava mu Yakobo baamanyibwa ng’Abayisirayiri. Oluvannyuma lwa Yakobo ne Yusufu okufa, Falaawo omulala yatandika okufuga Misiri. Falaawo oyo yatya nti Abayisirayiri baali batandise okufuuka ab’amaanyi okusinga Abamisiri. Bwe kityo, Falaawo yafuula Abayisirayiri abaddu. Yabakaka okukuba bbulooka n’okukola emirimu egy’amaanyi mu nnimiro. Naye Abamisiri gye baakoma okukozesa Abayisirayiri emirimu egy’obuddu, Abayisirayiri gye baakoma okweyongera obungi. Ekyo kyanyiiza nnyo Falaawo era n’alagira nti abaana Abayisirayiri bonna ab’obulenzi abazaalibwa battibwe. Ekyo kiteekwa okuba nga kyeraliikiriza nnyo Abayisirayiri!

Waaliwo omukazi Omuyisirayiri ayitibwa Yokebedi eyazaala omwana ow’obulenzi eyali alabika obulungi ennyo. Okusobola okuwonyaawo omwana oyo, Yokebedi yamuteeka mu kibaya n’akikweka mu bisaalu ku Mugga Kiyira. Miriyamu, mwannyina w’omwana oyo, yasigala awo kumpi alabe ekinaatuuka ku mwana oyo.

Muwala wa Falaawo bwe yajja ku mugga okunaaba yalaba ekibaya ekyo. Mu kibaya ekyo yalabamu omwana ng’akaaba n’amusaasira. Miriyamu yamubuuza nti: ‘Ŋŋende nkuleetere omukazi asobola okukuyamba okulabirira omwana oyo?’ Muwala wa Falaawo bwe yakkiriza, Miriyamu yagenda n’ayita maama we Yokebedi. Muwala wa Falaawo yagamba Yokebedi nti: ‘Twala omwana ono omulabirire; nja kukusasula.’

Omwana oyo bwe yakulamu, Yokebedi yamutwala ewa muwala wa Falaawo, era muwala wa Falaawo yamutuuma Musa, n’amukuza ng’omwana we. Musa yakuzibwa ng’omulangira era yali asobola okufuna kyonna kye yali ayagala. Naye Musa teyeerabira Yakuwa. Yali akimanyi nti yali Muyisirayiri so si Mumisiri, era yasalawo okuweereza Yakuwa.

Musa bwe yali alina emyaka 40, yasalawo okuyamba Bayisirayiri banne. Bwe yalaba Omumisiri ng’akuba Omuyisirayiri, Musa yakuba Omumisiri n’amutta n’akweka omulambo gwe mu musenyu. Ekyo Falaawo bwe yakimanya, yagezaako okutta Musa. Naye Musa yaddukira mu nsi eyitibwa Midiyaani. Ng’ali eyo, Yakuwa yamulabirira.

“Olw’okukkiriza, Musa . . . yagaana okuyitibwa mutabani wa muwala wa Falaawo, n’alondawo okuyisibwa obubi ng’ali wamu n’abantu ba Katonda.”​—Abebbulaniya 11:24, 25