Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 19

Ebibonyoobonyo Ebisatu Ebyasooka

Ebibonyoobonyo Ebisatu Ebyasooka

Abayisirayiri baabakozesa emirimu egy’amaanyi ennyo mu Misiri. Yakuwa yatuma Musa ne Alooni eri Falaawo bamugambe nti: ‘Leka abantu bange bagende mu ddungu bansinze.’ Falaawo yabaddamu nti: ‘Yakuwa y’ani oyo okundagira. Sijja kuleka Bayisirayiri kugenda.’ Falaawo yeeyongera okukozesa Abayisirayiri emirimu egy’amaanyi ennyo. Naye Yakuwa yali agenda kuyigiriza Falaawo essomo. Omanyi engeri gye yakikolamu? Yakuwa yaleeta Ebibonyoobonyo Kkumi ku Misiri. Yakuwa yagamba Musa nti: ‘Falaawo agaanye okumpuliriza. Ku makya ajja kuba ku Mugga Kiyira. Ojja kugendayo omugambe nti olw’okuba agaanye okuleka abantu bange okugenda, amazzi g’Omugga Kiyira gonna gagenda kufuuka omusaayi.’ Musa yakola ekyo Yakuwa kye yamugamba n’agenda eri Falaawo. Falaawo yalaba Alooni ng’akuba omuggo ku Mugga Kiyira era amazzi g’omugga ogwo ne gafuuka omusaayi. Amazzi g’Omugga Kiyira gaatandika okuwunya ekivundu, ebyennyanja ne bifa, era abantu baali tebakyayinza kunywa mazzi ga mu mugga ogwo. Wadde kyali kityo, Falaawo yagaana okuleka Abayisirayiri okugenda.

Oluvannyuma lw’ennaku musanvu, Yakuwa yaddamu okutuma Musa eri Falaawo amugambe nti: ‘Bw’otooleke bantu bange kugenda, ensi ya Misiri yonna ejja kujjula ebikere.’ Alooni yawanika omuggo gwe, ebikere ne bitandika okubuna mu nsi ya Misiri. Ebikere byayingira mu mayumba g’abantu, ne bigenda ku bitanda byabwe, ne ku masowaani gaabwe. Buli wamu waaliwo ebikere. Falaawo yagamba Musa asabe Yakuwa akomye ekibonyoobonyo ekyo. Falaawo yagamba nti ekibonyoobonyo ekyo bwe kyandikomye yandibadde aleka Abayisirayiri bagende. Yakuwa yakomya ekibonyoobonyo ekyo, era Abamisiri ne bakuŋŋaanya entuumu n’entuumu z’ebikere ebifu. Ensi ya Misiri yatandika okuwunya ekivundu. Naye era Falaawo yagaana okuleka Abayisirayiri okugenda.

Oluvannyuma Yakuwa yagamba Musa nti: ‘Alooni akube omuggo gwe ku ttaka enfuufu efuuke obutugu, obuwuka obutono obuluma.’ Amangu ago obutugu bwabuna buli wamu. Abamu ku bantu ba Falaawo baamugamba nti: ‘Ekibonyoobonyo kino kivudde eri Katonda.’ Kyokka era Falaawo teyaleka Bayisirayiri kugenda.

“Ndibamanyisa amaanyi gange n’obuyinza bwange, era balimanya nti erinnya lyange nze Yakuwa.”​—Yeremiya 16:21