Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 21

Ekibonyoobonyo eky’Ekkumi

Ekibonyoobonyo eky’Ekkumi

Musa yagamba Falaawo nti yali tagenda kukomawo mu maaso ge. Naye bwe yali tannagenda, yagamba Falaawo nti: ‘Ekiro mu ttumbi, abaana ababereberye bonna mu Misiri bajja kufa. K’abe mutabani wa Falaawo oba mutabani w’omuddu, bonna bajja kufa.’

Yakuwa yagamba Abayisirayiri okulya ekijjulo eky’enjawulo. Yabagamba nti: ‘Mutte endiga oba embuzi ey’omwaka gumu era muteeke ogumu ku musaayi gwayo ku miryango gy’ennyumba zammwe. Mwokye ennyama mugiriire wamu n’emigaati egitaliimu kizimbulukusa. Mulye nga mwambadde engoye zammwe n’engatto zammwe era nga mweteeseteese okugenda. Ekiro kya leero ŋŋenda kubanunula.’ Ekyo nga kiteekwa okuba nga kyasanyusa nnyo Abayisirayiri.

Ekiro mu ttumbi, malayika wa Yakuwa yagenda ku mayumba gonna ag’omu Misiri. Yatta abaana babereberye mu mayumba gonna agataaliko musaayi ku mulyango. Naye malayika yayita ku mayumba agaaliko omusaayi. Amaka g’Abamisiri gonna, ka gabe ga bagagga oba ga baavu, gaafaamu omwana. Naye tewali mwana n’omu ku baana b’Abayisirayiri eyafa.

Ne mutabani wa Falaawo yafa. Ekyo Falaawo kyamuyitirirako. Amangu ddala Falaawo yayita Musa ne Alooni n’abagamba nti: ‘Musituke mugende. Mugende musinze Katonda wammwe. N’ebisolo byammwe mubitwale!’

Ekiro ng’omwezi gwaka, Abayisirayiri baatambula okuva mu Misiri. Baatambula nga bategekeddwa bulungi okusinziira ku bika byabwe. Baali abasajja nga 600,000 awamu n’abakazi n’abaana bangi. Waliwo n’abantu abalala bangi abaagenda nabo basobole okusinza Yakuwa. Abayisirayiri baali tebakyali baddu!

Okusobola okujjukira engeri Yakuwa gye yabanunulamu, ekijjulo ekyo eky’enjawulo baalinanga okukirya buli mwaka. Ekijjulo ekyo kyali kiyitibwa Okuyitako.

“Nkulese ng’okyali mulamu, nsobole okukukozesa okulaga amaanyi gange, era erinnya lyange lisobole okulangirirwa mu nsi yonna.” ​—Abaruumi 9:17