Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 22

Ekyamagero ku Nnyanja Emmyufu

Ekyamagero ku Nnyanja Emmyufu

Falaawo olwawulira nti Abayisirayiri baali bavudde mu Misiri, yakyusa ekirowoozo n’ayagala abakomyewo. Yalagira abasirikale be nti: ‘Muteeketeeke amagaali g’olutalo tugende tubawondere! Tetulina kubaleka kugenda.’ Falaawo n’abasajja be baatandika okuwondera Abayisirayiri.

Yakuwa yakulemberamu abantu be ng’akozesa ekire emisana ate ekiro yakozesanga muliro. Yabakulemberamu n’abatuusa ku nnyanja emmyufu n’abagamba basiisire awo.

Abayisirayiri baalengera Falaawo n’amagye ge nga babawondera. Mu maaso g’Abayisirayiri waaliyo ennyanja ate ng’emabega waabwe eriyo amagye g’Abamisiri. Abayisirayiri baakaabirira Musa ne bamugamba nti: ‘Tugenda kufa! Lwaki watuggya e Misiri?’ Naye Musa yabagamba nti: ‘Temutya. Mugenda kulaba engeri Yakuwa gy’agenda okutununulamu.’ Musa yali yeesiga nnyo Yakuwa.

Yakuwa yagamba Abayisirayiri batandike okutambula. Ekiro ekyo Yakuwa yaggya ekire mu maaso g’Abayisirayiri n’akiteeka emabega, wakati w’Abayisirayiri n’Abamisiri. Ku ludda lw’Abamisiri waaliyo nzikiza, naye ku ludda lw’Abayisirayiri waaliyo kitangaala.

Yakuwa yagamba Musa agolole omukono gwe ku nnyanja. Bwe yagugolola, Yakuwa yaleeta embuyaga ey’amaanyi n’ekunta ekiro kyonna. Amazzi g’ennyanja geeyawulamu ne wajjawo ekkubo wakati mu nnyanja. Abayisirayiri baayita wakati mu nnyanja ku ttaka ekkalu ng’erudda n’erudda eriyo amazzi, ne bagguka emitala.

Amagye ga Falaawo gaawondera Abayisirayiri mu nnyanja. Naye Yakuwa yatabulatabula amagye ago. Amagaali gaabwe gaatandika okuvaako emipiira era abasirikale ne bagamba nti: ‘Tudduke tuve wano, kubanga Yakuwa alwanirira Abayisirayiri.’

Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: ‘Golola omukono gwo ku nnyanja.’ Amangu ago amazzi agaali geeyawuddemu gaddawo ne gabuutikira amagye ga Falaawo. Falaawo n’abasajja be bonna baafa. Tewali n’omu yawonawo.

Abayisirayiri bwe baamala okusomoka ennyanja, baatendereza Katonda nga bayimba nti: “Muyimbire Yakuwa kubanga agulumiziddwa nnyo. Asudde mu nnyanja embalaasi n’omwebagazi waayo.” Abantu baayimba ng’eno abakazi bwe bazina era nga bwe bakuba obugoma. Bonna baali basanyufu nnyo kubanga Yakuwa yali abanunudde.

“Ka tubeere bagumu tugambe nti: ‘Yakuwa ye muyambi wange; siityenga. Omuntu ayinza kunkola ki?’”​—Abebbulaniya 13:6